Jump to content

Atuheire Kipson, musambi wa mupiira

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Atuheire Kipson (yazaalibwa 8 Ogwomunaana August 1991) yali musambi wa mupiira gw'ensimbi eyasemba okuzannya ng'omuteebi mu bulamu bwe mu Liigi y'e Cambondia ey'okuntikko.[1] Yazaalibwa mu Uganda, naye yazannyira ttiimu y'eggwanga y'e Rwanda.

Bw'azannye ku ttiimu

[kyusa | kolera mu edit source]

Ennaku ze mu Rwanda ne Uganda

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaalibwa Kabale, mu bukiikakkono bwa Uganda, Kipson yagenda e Rwanda n'atandika okuzannya omupiira gw'ensimbi ku ttiimu ya A.S. Kigali mu 2008. wakati wa 2009 ne 2010, yassa omukono ku ndagaano okuvannyira ezimu ku ttiimu zi bbingwa eza Uganda SC Villa Kampala mu Liigi ya Uganda ey'okuntikko . Ng'ali ne SC Villa, yawangula Uganda Cup mu 2009. Kyali kikopo kye eky'omuzinzi kye yasooka okuwangula ng'azannya ogw'ensimbi olwo ne yeegatta ku ttiimu ya Armée Patriotique Rwandaise Football Club mu Rwanda nate. eno mu APR, yawangula Liigi ya Rwanda ey'okuntikko emirundi ebiri mu 2010 ne 20211.

Mu 2012, yeegatta ku Uganda Revenue Authority SC era baakwata kya kubiri mu Liigi y'eggwanga Uganda. Kipson era yazannyira ttiimu nga Rwanda Police FC ne Musanze F.C. bwe yali tannayabulira Africa.

Yagenda e Cambodia mu 2015 ne yeegatta ku Preah Khan Reach Svay Rieng FC, gye yawangula nayo ekikopo kya Hun Sen mu 2015. [2] Era yali mu ttiimu ya Svay Rieng mu ttiimu eyakwata eky'okubiri mu kikopo kya Hun Sen mu 2016 . Mu sizoni ya 2015 ne 2016 ne Svay Rieng, yateeba ggoolo 24.

Kipson era yatuuka ku buwanguzi n'ettutumu mu kiseera kye yamala mu kiraabu endala eya Cambodia Nagaworld FC . Yazannya emipiira 23 egya Liigi ya Cambondia ey'okuntikko n’ateeba ggoolo 28 mu 2017. Oluvannyuma yagenda mu ttiimu ya Malaysia UKM FC kyokka n’akomawo mu Nagaworld FC mu 2019. Kipson ne Nagaworld, yamalira ng’ekwata eky'okubiri mu 2017 Hun Sen Cup ne 2019 C-Liigi .

Nga 20 Ogwekkuminoogumu 2017, Kipson yateeba ggoolo ssatu omulundi gumu ogwasookera ddala mu Nagaworld FC nga battunka ne Asia Europe United mu Liigi ya C. [3] Ne Nagaworld mu sizoni ya 2019–2020, yateeba ggoolo 22 mu mipiira 23 egya liigi. Mu 2019 AFC Cup, Kipson yalabikira Nagaworld FC mu mipiira 6 egy’ekibinja-F. Mu mpaka ezo, yateeba ggoolo 2 mu mupiira gwe yazannya ne Yangon United FC . Yafuna ettutumu olw’obusobozi bwe obw’okuteeba ggoolo obutasalako mu kiraabu zombi eza Cambodia Nagaworld FC ne Svay Rieng FC wakati wa 2015 ne 2020.

Mu 10 Ogwokubiri 2020, Kipson yakola endagaano ne ttiimu ya Buyindi eya I-League Gokulam Kerala FC . Yasooka mu ttiimu ya Malabarians nga 12 Ogwokubiri nga battunka ne Chennai City . [4] Yalabikira mu mipiira gya liigi 5 gyokka gye bali era oluvannyuma ttiimu n’eyimbulwa. [5] [6] Ye ng’ali wamu n’abagwira abalala ab’e Gokulam Kerala yasibira mu Buyindi olw’omuggalo gw’eggwanga lyonna wakati mu ssenyiga wa Coronavirus okumala ennaku bbiri nga tannalinnya nnyonyi okugenda e Uganda. [7]

Yakomawo e Uganda

[kyusa | kolera mu edit source]

Kipson oluvannyuma lw’obuwanguzi bwe yafuna mu Cambodia n’ennaku z’ataafuna buwanguzi mu Buyindi olw’ekirwadde kya ssennyiga omukambwe (2020 I-League yasazibwamu), yakomawo mu Uganda okwegatta ku ttiimu ya Wakiso Giants FC . [8] Kipson lwe yasooka okuzannya yateebera Wakiso Giants bwe yali ewangula Mbarara City FC ne bafuna obuwanguzi bwabwe obwasooka mu Sizoni eyo. Eyali ssita wa SC Villa ye yateeba ggoolo y'obuwanguzi mu kitundu eky'okubiri Mbarara City yasubwa ppeneti. [9] [10]

Ku ttiimu y'eggwanga

[kyusa | kolera mu edit source]

Kipson yakiikirira ttiimu y'eggwanga lya Rwanda emirundi 5 mu 2010. Yasooka kuzannya nga 9 Ogwekkumi ne Benin mu mupiira gwe baawangula ggoolo 3-0 mu mpaka za Afrika eza 2012 . [11] Oluvannyuma yalabikira mu mupiira gw'omukwano ne Malawi .

Era yakiikirira Rwanda mu mpaka za CECAFA eza 2010 e Tanzania, [12] gye yazannyira emipiira esatu okutuusa Rwanda lwe yakubwa Tanzania ku Quarter-finals.

SC Villa Kampala

Armée Patriotique Rwandaise

Preah Khan Reach Svay Rieng

NagaWorld

Obulamu

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Atuheire%5FKipson
  2. ↑ "First Team - Svay Rieng Football Club". Svay Rieng FC official website. Archived from the original on 12 November 2016. Retrieved 17 February 2017.
  3. ↑ "Kipson nets three for Naga". khmertimeskh.com. 19 November 2017. Archived from the original on 21 April 2023. Retrieved 14 March 2021.
  4. ↑ "I-League: Marcus Joseph's solitary goal downs Chennai City". Sportstar.TheHindu. 12 February 2020. Archived from the original on 13 February 2020. Retrieved 14 March 2021.
  5. ↑ "I-League 2019-20: NEROCA FC Edge Past Gokulam Kerala". Outlook India. Archived from the original on 21 April 2023. Retrieved 14 March 2021.
  6. ↑ "Former APR striker Atuhaire signs for Ugandan side Wakiso Giants". New Times Rwanda. 12 January 2021. Archived from the original on 12 January 2021. Retrieved 14 March 2021.
  7. ↑ "Indian football: Foreign players of I-League clubs who are still in India". Goal.com. Archived from the original on 28 June 2021. Retrieved 14 March 2021.
  8. ↑ rwandan-striker-kipson-atuhaire-joins-wakiso-giants chimpreports.com.
  9. ↑ "Kipson Atuheire gets Wakiso Giants off the mark". kawowo.com. 12 February 2021. Archived from the original on 22 February 2021. Retrieved 14 March 2021.
  10. ↑ "Kipson Atuhaire". Scoreboard.com. Archived from the original on 21 April 2023. Retrieved 14 March 2021.
  11. ↑ Kipson Atuheire » Internationals worldfootball.net.
  12. ↑ Tanzania_Mainland_to_host_Cecafa_Cup supersport.com.
  13. ↑ "Hun Sen Cup 2015 Cambodia football". Archived from the original on 2 October 2017. Retrieved 14 March 2021.
  14. ↑ "cambodia-2017-hun-sen-cup-final". refereesfifa.blogspot.fr. 27 December 2017. Archived from the original on 6 January 2018. Retrieved 14 March 2021.
  15. ↑ "Hun Sen Cup 2017 Final stages". uk.soccerway.com. Archived from the original on 10 April 2022. Retrieved 14 March 2021.

Ebiyungo eby’ebweru

[kyusa | kolera mu edit source]