Augustine Kasujja
Augustine Kasujja (yazaalibwa 26 Ogwokuna 1946) Munnayuganda omusumba w'Eklezia Katolika akolera mu buweereza bw'abakungu mu Ntebe Entukuvu. Yaliko Omubaka wa Paapa mu Belgium ne Luxembourg okuva mu 2016 okutuuka mu 2021.
Ye Mufirika eyasooka okubeera n'ekitiibwa ky'Omubaka wa Paapa. [1] [2] [3]
Ebikwata ku bulamu bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Ye wookusatu mu maka agalimu abaana 11, yazaalibwa Katalina Nanseko ne Yozefu Naluswa e Mitala Maria, Disitulikiti y'eMpigi nga 26 ogwokuna 1946. [1]
Nga tannayingira Seminaaliyo Y'abato e Kisubi wakati wa 1960 ne 1965, yasomera mu masomero omwali Ssango ne Mitala Maria Primary Schools. Yasomera mu seminaliyo y'abakulu e Katigondo (1966–1967) ne mu Yunivasite ya Pontifical Urban e Roma (1967–1974). [1] Yatuuzibwa ku bu saseredooti mu ssaza ekkulu ery'eKampala nga 3 Ogwolubereberye 1973. [4]
Omulimu gw’obubaka
[kyusa | kolera mu edit source]Oluvannyuma lw’okufuna diguli ey’okusatu mu by’eddiini, era yayingira obuweereza bw’abakungu mu Ntebe Entukuvu mu 1979. Mu bifo bye yasindikibwamu mwalimu Argentina, Haiti, Bangladesh, Portugal, Peru, Trinidad ne Tobago, Algeria, Tunisia, ne Mauritius. [5] [6]
Paapa John Paul II yamulonda okuba Omusumba w’e Caesareae Numidia n’okubeera omubaka wa Paapa mu Tunisia ne Algeria nga 26 Ogwokutaano 1998. [7] Ye Mufirika omuddugavu eyasooka okubeera n’ekitiibwa ky’omubaka wa Paapa. [5] Yafuna okutikkibwa ku bw'episikoopi nga 22 Ogwomunaana mu Lutikko e Rubaga nga yatikkibwa Kalidinaali Emmanuel Wamala. [8]
Nga 22 Gwokuna 2004, Paapa John Paul yamuwa ekifo ky'omubaka wa Paapa ow'eMadagascar ne Seychelles era Omubaka wa Paapa e Comoros ne Réunion . [9] Nga 9 Ogwomukaaga 2004, ku buvunaanyizibwa obwo kwagattibwako obw'omubaka mu Mauritius. [10]
Nga 2 Ogwokubiri 2010, Paapa Benedict XVI yamulonda okuba Omubaka wa Paapa e Nigeria . [11] Paapa Francis, nga 13 Ogwekkumineebiri 2013, yayongera ku buvunaanyizibwa bwe omulimu gw’okutunuulira enkalakkalira mu kibiina kya Economic Community of Western African States (ECOWAS). [12]
Nga 12 Ogwekkumi 2016, Paapa Francis yamulonda okuba Omubaka wa Paapa e Belgium, [13] n'agattako ekifo ky'omubaka mu Luxembourg nga 7 Ogwekkumineebiri. [14] Ye yali atali Muzungu eyasooka okukwata ekifo ky'eBelgium. [15] Yayanjula ebiwandiiko bye eri kabaka ne grand duke nga 2 Ogwokubiri ne 2 Ogwokusatu. [16] [17]
Paapa Francis yakkiriza okulekulira kwe nga 31 Ogwomunaana 2021. [18]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- [self-published]
- 1 2 3 http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1301257/archbishop-kasujja-black-papal-ambassador
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-02-08. Retrieved 2025-08-01.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.independent.co.ug/apostolic-nuncio-kasujja-leaves-nigeria-belgium/
- ↑ https://www.kerknet.be/bisschoppenconferentie/artikel-persbericht/ugandese-aartsbisschop-kasujja-apostolische-nuntius
- 1 2 http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1301257/archbishop-kasujja-black-papal-ambassador
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-02-08. Retrieved 2025-08-01.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.vatican.va/archive/aas/documents/AAS-90-1998-ocr.pdf
- ↑ https://allafrica.com/stories/199808230030.html
- ↑ http://press.vatican.va/content/salastampa/it/bollettino/pubblico/2004/04/22/0196/00607.html
- ↑ https://press.vatican.va/content/salastampa/it/bollettino/pubblico/2004/06/09/0291/00945.html
- ↑ http://press.vatican.va/content/salastampa/it/bollettino/pubblico/2010/02/02/0067/00151.html
- ↑ http://press.vatican.va/content/salastampa/it/bollettino/pubblico/2013/12/13/0837/01881.html
- ↑ http://press.vatican.va/content/salastampa/en/bollettino/pubblico/2016/10/12/161012e.html
- ↑ http://press.vatican.va/content/salastampa/en/bollettino/pubblico/2016/12/07/161207e.html
- ↑ http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1440006/archbishop-kasujja-transferred-belgium
- ↑ https://www.monarchie.be/fr/agenda/lettres-de-creance-70
- ↑ http://www.monarchie.lu/fr/actualites/evenements/2017/03/02032017-creances/index.html
- ↑ https://press.vatican.va/content/salastampa/it/bollettino/pubblico/2021/08/31/0527/01139.html