Augusto Nuwagaba
Augustus Nuwagaba ye mumyuka wa Gavana wa Bbanka Enkulu eya Uganda era omuwi w'amagezi mu nsi yonna ku nkyukakyuka mu bye'enfuna .Mukugu mu kutondawo obugagga mu Afirika. Alina ddiguli ey'okubiri ey'enzirukanya ya zi bbizinensi ( MBA) mu kuteekesa mu nkola amateeka agafuga obungi n'ebbula lya sente mu ggwanga (monetary policy) ku nvuganya ya zi bbanka z'obusuubuzi mu kusikiriza n'okweereza ba kasitoma . Nuwagaba akoze nnyo mu kwekenneenya n'okusoma embeera y'ebyensimbi eya zi gavumenti mu Aifrika, okwekenneenya enkola y’ebyensimbi n’okwekenneenya enkola z’emisolo. Akola nga addukanya kampuni ya REEV consult International Limited kampuni ey'obwananyini eyeebuuzibwako ewandiisiddwa mu mateeka mu Uganda.Yali yeebuuuzibwako ow'ekitongole kya African Peer Review Mechanism wansi wa NEPAD, yali mmemba wa African Regional Panel of Experts on Development .Nuwagaba memba w'ekibinja kya bbanka y'ensi yonna ekyebuuzibwako ekyabaga enteekateeka y'afirika ey'ebikolwa (The African Plan of Action) . Yali mukulembeze wa ttiimu ya FINSCOPE - Financial penetration Project (2013). Yeeyakulemberamu ttiimu eyabaga ennaaambika y'okukwatamu ensimbi n'okutendeka ey'obukiiko bwa paalamenti obubanja embalilira , mmemba ku kakiiko akabalirizi k'ebitabo aka minisitule y'ebyensimbi ,okuteekateeka n’enkulaakulana y’ebyenfuna ey'eggwanga lya Uganda, omuwanguzi wa awaadi y’ensi yonna olw’ettoffaaali eddene lyatadde ku kibiina ky'ensi yonna. Okugattako, yali yeebuuzibwako mu kwekenneenya ekitundu ky'enteekateeka eky’enkulaakulana y’eggwanga lya Uganda (2010–2014). Yeebuuzibwako ku kuteekawo enteekateeka ey'enkulaakulana n'okusiga ensimbi ey’omukago gw'amawanga ag'obuvanjuba bwa Afirika (2016-2020) . Nuwagaba mwogezi wa bulijjo bulijjo ku mukolo gw’okuyingiza n'okulambika ababaka ba paalamenti ya Uganda ku buvunaanyizibwa n'emirimu gyabwe . [1]
Obuvo bwe n'obuyigirize
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa mu 1964 mu munisipaali y’e Kabale mu ttundutundu ly'obugwanjuba bwa Uganda, omwana ow’omukaaga mu maka agalimu baganda be musanvu. Kitaawe yafa nga Nuwagaba wa myaka ena, bwatyo yakuzibwa nnyina, eyafa nga Nuwagaba ali mu siniya yakubiri , ku myaka 16. [2]
Yasomera ku somero lya Kigezi High School okuva mu 1979 okutuuka mu 1985, naaweereza ng'akulira abayizi mu kiseera kye yamalayo. Mu 1986. yayingira yunivasite y'e Makerere mu bbabgulriro ly'embeera z'abantu, n’atikkirwa mu 1989. Oluvannyuma yatikkirwa mu bbanguliro ly'e London ery'ebyenfuna erya (London School of Economics) n’afuna ddiguli eyokubiri. Yaddayo ku yunivasite y'e Makerere n'asoma emisomo egimutuusa ku kuweebwa ddiguli eyokusatu (PhD-Doctor of Philosophy). Ekisaawe kyeyakenkukamu okufuna ddiguli ye eyokusatu kyali kya byanfuna, okukula okutaleka muntu yenna wabweeru n'okumalawo obwavu .
N'era alina ddiguli eyokubiri mu nzirukanya ya zi bizinensi gyeyafuna okuva mu ttendekero lya Eastern And Southern Africa Management Institute ng’essira yasinga kuliteeka ku mateeka agafuga obungi n'ebbula lya sente mu ggwanga n'okuvuganya kwa zi bbanka z'obusuubuzi mu kusikiriza n'okweereza ba kasitoma . [3]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Nuwagaba abadde mmemba w’abasomesa ku yunivasite y’e Makerere, okuva lwe yakomawo okuva mu diguli eyookubiri e London ku ntandikwa y’emyaka gya 2000.
Aweereza nga ssentebe w’ekibiina ekigatta abasomesa mu yunivasite y’e Makerere. [4] N'era aweereza nga eyeebuzibwako addukanya ku Reev Consult International Limited, kkampuni y’obwannannyini ekola obuweereza obw'okwebuuuzibwako eyawandiisibwa mu mateeka mu Uganda mu 2000 , eyassibwa mu Uganda mu 2000. Kkampuni eno ewa obuweereza obw'okwebuuzibwako, mu bisaawe by'okutunuulira ebirungi n'ebibi ebiyinza okuva mu nteekateeka ,pulojekiti oba okusalawo kwonna okuba kukoleddwa (Impact Assesment ), okuteekateeka, ku mateeka agafuga embeera z'abantu n'engeri gyegakosaamu obulamu bw'abantu, obuweereza bw'obukulembeze n'obuweereza bw'enkulaakulana z'ebitongole. Ekigendererwa kya kkampuni okutwaliza awamu kwe ku kukuza obusobozi bw'abantu n'ebitundu n’okukendeeza obwavu mu bitundu byebaweerezaamu. Okumala ebbanga eggwanvu, Reev Consult egabye obuweereza obw;okwebuuzibwako eri ebitongole by'ensi yonna omuli bbanka y'ensi yonna , Omukago gwa bulaaya, UNDP, USAID, DFID, UNFPA, DANIDA ; SNV, IDRC, gavumenti za Afrika, CSOs n’ebitongole by’obwannannyini. Abadde mwogezi omukulu ku mutendera gw’eggwanga n’ensi yonna (Uganda ng'ejaguza emyaka 50 egy'ameefuga, Dublin International conference,Okulungamya paalamenti ya Uganda ey'omwenda n'eyekkumi. [5]
Ebimukwatako ng'omuntu
[kyusa | kolera mu edit source]Augustus Nuwagaba abadde mufumbo ne Lillian Nuwagaba okuva mu 1997. Bombi bazadde b'abaana bana. Mukulisitaayo . Munna Lotale (He is Rotarian) ne lotale kiraabu y'e Muyenga disitulikiti y’e 9211 (Major Donor). [6] Yeeyali Pulezidenti wa kiraabu eno ow’omulundi ogwa 34 ng’aweereza mu mwaka gwa Rotary 2021-2022. [7]
Obuwandiisi
[kyusa | kolera mu edit source]Ebbanga ggwanvu, awandiise era n’ayambako banne okuwandiika ebitabo ebiwerako mu mpapula z’amawulire ez’enjawulo ez’ensi yonna;
- Dualism in Kampala: Ebizigo ebicaafu mu bwakabaka. Efulumiziddwa mu African Urban Economies. [8]
- Okwolekera Okukola ku nkulaakulana y’obukugu n’obuzibu bw’emirimu mu Uganda: Omulimu gw’enkolagana ya gavumenti ez’obwannannyini. [9]
- Okugenda mu bibuga n’obuzibu bw’obutonde mu kibuga kya Uganda: Ebikwata ku nzirukanya y’obutonde bw’ensi n’enkulaakulana ey’olubeerera. [10]
- Obuzibu bw’omuwendo gw’abantu mu mawanga agali mu bukiikaddyo bwa Sahara: Ani avunaanyizibwa? Okwekenenya okw'ekyokulabirako ku mitendera gy'omuwendo gw'abantu mu Uganda. [11]
- Enkosa Enteekateeka z'okutereeza ennongoosereza ennene ku nsimbi z'amayumba mu kibuga Kampala - Uganda: Ebikwata ku bifo eby'okusulamu eri Abaavu mu bibuga. [12]
- Ani Akula?: Okumalawo Obutali bwenkanya mu Uganda: Okunoonyereza ku bivuga obutali bwenkanya mu Uganda. [13]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- Namazzi, Elizabeth (29 April 2012). "Odd Jobs Made My Business - Prof. Nuwagaba". New Vision (Kampala). Retrieved 30 March 2015.
- Okuda, Ivan (29 January 2012). "Grinding Millet Is Still A Piece of Cake for Professor Nuwagaba". Daily Monitor (Kampala). Retrieved 30 March 2015.
- "Reev Consult International: Augustus Nuwagaba, BA, MSc, MBA, PhD - Managing Consultant". Reev Consult International. 2014. Archived from the original on 2 April 2015. Retrieved 30 March 2015.
- Natukunda, Carol (19 April 2006). "New Vision Publishes Free University Guide". New Vision (Kampala). Archived from the original on 2 April 2015. Retrieved 30 March 2015.
- "About Reev Consult International". Reev Consult International. 2014. Archived from the original on 2 April 2015. Retrieved 30 March 2015.
- Kareire, Pidson (2 February 2007). "The Nuwagaba's Marriage Has Survived On Love And Respect". New Vision (Kampala). Archived from the original on 2 April 2015. Retrieved 30 March 2015.
- "Presidents – Rotary Club of Muyenga" (in American English). Archived from the original on 2022-02-27. Retrieved 2022-02-27.
- Nuwagaba, Augustus (2005). Dualism in Kampala: Squalid Slums in a Royal Realm. Palgrave Macmillan. p. 151-165. doi:10.1057/9780230523012_6. ISBN 978-0-230-52301-2. Retrieved 27 February 2022.
- Nuwagaba, Augustus (2012). "Toward Addressing Skills Development and Employment Crisis in Uganda: The Role of Public Private Partnerships". Eastern Africa Social Science Research Review. 28 (1): 91-116. doi:10.1353/eas.2012.0004. S2CID 153425778. Retrieved 28 February 2022.
- Nuwagaba, Augustus (1996). "Urbanisation and Environmental Crisis in A Ugandan City: Implications for Environment Management and Sustainable Development". Eastern Africa Social Science Research Review. 12 (1): 15. Retrieved 28 February 2022.
- Nuwagaba, Augustus (1997). "Population Crisis in Sub-Saharan Africa: Who is Responsible? An Illustrative Analysis of Population Trends in Uganda". Eastern Africa Social Science Research Review. 13 (2): 75. Retrieved 28 February 2022.
- Nuwagaba, Augustus (2000). "The Impact of Macro-adjustment Programmes on Housing Investment in Kampala City - Uganda: Shelter Implications for the Urban Poor". Eastern Africa Social Science Research Review. 16 (1): 49. Retrieved 28 February 2022.
- "Who is growing? Ending inequality in Uganda". Oxfam International (in Lungereza). 2017-03-29. Retrieved 2022-02-28.
- ↑ Namazzi, Elizabeth (29 April 2012). "Odd Jobs Made My Business - Prof. Nuwagaba". Retrieved 30 March 2015.
- ↑ Okuda, Ivan (29 January 2012). "Grinding Millet Is Still A Piece of Cake for Professor Nuwagaba". Retrieved 30 March 2015.
- ↑ "Reev Consult International: Augustus Nuwagaba, BA, MSc, MBA, PhD - Managing Consultant". Reev Consult International. 2014. Archived from the original on 2 April 2015. Retrieved 30 March 2015.
- ↑ Natukunda, Carol (19 April 2006). "New Vision Publishes Free University Guide". Archived from the original on 2 April 2015. Retrieved 30 March 2015.
- ↑ "About Reev Consult International". Reev Consult International. 2014. Archived from the original on 2 April 2015. Retrieved 30 March 2015.
- ↑ Kareire, Pidson (2 February 2007). "The Nuwagaba's Marriage Has Survived On Love And Respect". Archived from the original on 2 April 2015. Retrieved 30 March 2015.
- ↑ "Presidents – Rotary Club of Muyenga" (in American English). Archived from the original on 2022-02-27. Retrieved 2022-02-27.
- ↑ Nuwagaba, Augustus (2005). Dualism in Kampala: Squalid Slums in a Royal Realm. Palgrave Macmillan. p. 151-165. doi:10.1057/9780230523012_6. ISBN 978-0-230-52301-2. Retrieved 27 February 2022.
- ↑ Nuwagaba, Augustus (2012). "Toward Addressing Skills Development and Employment Crisis in Uganda: The Role of Public Private Partnerships". Eastern Africa Social Science Research Review. 28 (1): 91-116. doi:10.1353/eas.2012.0004. S2CID 153425778. Retrieved 28 February 2022.
- ↑ Nuwagaba, Augustus (1996). "Urbanisation and Environmental Crisis in A Ugandan City: Implications for Environment Management and Sustainable Development". Eastern Africa Social Science Research Review. 12 (1): 15. Retrieved 28 February 2022.
- ↑ Nuwagaba, Augustus (1997). "Population Crisis in Sub-Saharan Africa: Who is Responsible? An Illustrative Analysis of Population Trends in Uganda". Eastern Africa Social Science Research Review. 13 (2): 75. Retrieved 28 February 2022.
- ↑ Nuwagaba, Augustus (2000). "The Impact of Macro-adjustment Programmes on Housing Investment in Kampala City - Uganda: Shelter Implications for the Urban Poor". Eastern Africa Social Science Research Review. 16 (1): 49. Retrieved 28 February 2022.
- ↑ "Who is growing? Ending inequality in Uganda". Oxfam International (in Lungereza). 2017-03-29. Retrieved 2022-02-28.