Auru Anne

Auru Anne yazaalibwa nga 25 Ogwomunaana 1960 Munnayuganda, munnabyabufuzi. [1] Yali mubaka mu Paalamenti ey’omunaana n’ey’omwenda eya Uganda ng’akiikirira Disitulikiti y’e Moyo nga mu kusooka teyalina kibiina naye oluvanyuma yesimbawo ku kaadi y'ekibiina kya National Resistance Movement (NRM). [2] [3]
Emulimu egye egy’ebyobufuzi
[kyusa | kolera mu edit source]Aweerezza mu Paalamenti okumala ebisanja bibiri: Paalamenti ya Uganda ey’omunaana n’ey’omwenda. [4] Mu 2011, Auru Anne yavuganya ku ky'omubaka omukyala akiikirira Disitulikiti y'e Moyo nga talina kibiina era n'awangula. [5] Mu 2016, Auru Anne yavuganya ku kifo ky’omubaka omukyala akiikirira Disitulikiti y’e Moyo ku tikiti y’ekibiina ky’ebyobufuzi ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement (NRM) era nate n’awangula. [2] [5]
Yawangulwa Hon. Moriku Joyce Kaducu . [6] [7]
Ebimukwta eby'omunda
[kyusa | kolera mu edit source]Auru Anne yayitibwa Poliisi y’eggwanga lya Uganda olw'okulwanagana okwaliwo wakati w’aba Madi e Moyo n'aba Kuku mu Ssaza ly'e Kajo-Keji mu South Sudan okwaviirako okufiirwa abantu abawerera ddala 17, okubba ente, okwokya amayumba n’okunyaga ebyaliwo mu Gwomwenda 2014. [8] [9] [10]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://www.nira.go.ug/home
- 1 2 https://www.nrm.ug/
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-01-30. Retrieved 2025-09-20.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.parliament.go.ug/
- 1 2 https://www.ec.or.ug/
- ↑ https://visiblepolls.org/ug/2016-election/candidates/auru-anne-83/
- ↑ https://www.wilsoncenter.org/event/women-leaders-reflect-the-prospects-for-peace-northern-uganda
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/police-summon-two-mps-over-clashes-1658502
- ↑ https://petnahafricatours.com/the-madi-people/
- ↑ https://www.101lasttribes.com/tribes/kuku.html