Jump to content

Avtar Singh Bhurji

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Avtar Singh Bhurji (15 Omwezi ogwekkumineebiri 1944 – 26 Omwezi ogusooka 2025) yali munnayuganda enzaalwa ya Buyindi omuzannyi w'omuzannyo gwa Hockey . Yavuganya ku lwa Uganda mu mpaka z'abasajja mu mizannyo gya summer olympics egya 1972. Oluvannyuma lw’emizannyo, Bhurji yagenda mu maaso n’okuzannya hockey okutuusa mu 1991 embeera y’obulamu lwe yamuwaliriza okuwummula. Era yatendeka ttiimu za hockey okumala emyaka egiwerako era n’afuuka omukubi w’ebifaananyi ku bisaawe by'omuzannyo gwa hockey.

Obulamu obuto

[kyusa | kolera mu edit source]

Bhurji yazaalibwa mu Bika, ekyalo mu Jalandhar , Buyindi nga 15 Omwezi ogwekkumineebiri 1944. Omwaka gwe gumu yadd'e Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu , wamu ne kitaawe, eyalina kkampuni enzimbi. Yasomera ku ssomero lya pulayimale erya Demonstration Primary School ne nerya siniya erya Kololo Senior Secondary School mu Uganda nga tannamala biseera mu Bungereza gye yasomeraku yunivasite y'e Kingston mu London. [1]

Ng’omu ku bantu bannansi ba Asia abaali beeyongera obungi mu Uganda, Bhurji yatandika omuzannyo gwa hockey ow'omukisaawe . Ng'asomera ku yunivasite mu Bungereza, Bhurji yazannyira kiraabu y'omuzannyo gwa Hockey eya Spencer Hockey Club, London Indians ne Middlesex ey'abali wansi w'emyaka abiri mwogumu (Under-21). Yadda e Uganda mu 1969, neyeegatta ku Sikh Union Kampala. [1] Kwali ku kiraabu eno oluvannyuma kweyasunsulibwa omutendensi Randhir Singh Gentle okuba ku ttiimu ya Uganda eyazannya mu mizannyo gya Summer olympics egya 1972 mu Munich, West Germany . Ttiimu eno yalimu abazannyi mukaaga okuva mu ssomero lya Bhurji erya siniya. [1]

Mu mizannyo,Uganda yamalira mu kifo kya wansi mu kibinja kyayo; mu mipiira omusanvu, ttiimu eno yakubwa emipiira enna n'egwa amaliri emipiira esatu n'egwa amaliri mu ngeri eyewunyisa n’abaawangula omudaali gwa zaabu aba West Germany. Bhurji yazannya mu mipiira mukaaga egya ttiimu eno, n’asubwa omupiira ogwasooka gwokka ne Malaysia.

Bhurji bwe yali mu mizannyo gya Olympics, omukulembeze wa Uganda Idi Amin yali akkirizza okuwamba ebintu bya bannansi ba Asia ababeera mu ggwanga lino n’okubagoba okuddayo mu nsi zaabwe. Bhurji yaddayo eka kyokka kitaawe teyalwa n’asalawo okudduka mu ggwanga mu 1973, n’addamu okuzimba kkampuni ye mu Nairobi , Kenya. Amaka oluvannyuma gasenga mu London , Bhurji gye yatandikira okuzannyira kiraabu y'omuzannyo gwa Hockey eya Blackheath Club . [2] Ne Blackheath, yawangula empaka z'eggwanga ez'omunda mu 1976.

Obulamu bw'oluvannyuma n'okufa

[kyusa | kolera mu edit source]

Bhurji yasigala yeenyigira nnyo mu muzannyo gwa hockey, n’atendeka mu London okumala emyaka egisukka mu makumi abiri era ng’akozesebwa ng’omukubi w’ebifaananyi omukugu mu mipiira gya hockey. Oluvannyuma yawummula okuzannya mu 1991 oluvannyuma lw'okumala wiiki bbiri mu kkoma olw'omusuwa gwe ogutambuza omusaayi okuva mu kataago, mu lubuto, mu kalulwe ne mu byenda (Portal vein) okuzibikira . Mu 1996, Bhurji yafuna ekiwundu ky’amasasi ku kigere oluvannyuma lw’okunyagibwa n’ekibinja kya mikwano gye bwe yali atendeka Hockey mu Nairobi. N'era yinginiya wa byakuzimba alina ebisaanyizo.

Bhurji yafiira mu Esher, Surrey, Bungereza nga 26 Omwezi ogusooka 2025, ku myaka 80. [3]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Sen, Debayan (15 December 2018). "The love for hockey keeping Uganda's Avtar Bhurji's life on the edge". ESPN. Retrieved 5 January 2020.
  2. Ferro, Ashwin (5 December 2018). "Hockey made Avtar Bhurji scramble for his life!". Mid-day.com. Retrieved 5 January 2020.
  3. "Avtar Singh Bhurji". sikhsinhockey.com. Retrieved 6 January 2020.
  4. This reference is defined in a template or other generated block, and for now can only be edited in source mode.
  5. Sahni, Jaspreet (11 December 2018). "Hockey World Cup: The Olympian 'Avtars' united by hockey". The Times of India. Retrieved 5 January 2020.
  6. Bahra, Dil (28 January 2025). "Uganda Olympian Avtar Singh Bhurji passes away". Association Internationale de la Presse Sportive. Retrieved 28 January 2025.
  1. 1 2 3 "Avtar Singh Bhurji". sikhsinhockey.com. Retrieved 6 January 2020. Cite error: Invalid <ref> tag; name "sikh" defined multiple times with different content
  2. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named toi
  3. Bahra, Dil (28 January 2025). "Uganda Olympian Avtar Singh Bhurji passes away". Association Internationale de la Presse Sportive. Retrieved 28 January 2025.

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]