Jump to content

Ayoo Tonny

Bisangiddwa ku Wikipedia
Ayoo Tonny
omuntu
Ekikulamusajja Kyusa
Ensi y’obutuuzeYuganda Kyusa
Yazaalibwa nga8 Gwamukaaga(Ssebaaseka) 1974 Kyusa
Omulimumunnabyabufuzi, social worker Kyusa
Ekifo ky'alimuOmubaka wa Palamenti ya Uganda Kyusa
GyeyasomeraSsettendekero wa Makerere Kyusa
Mmemba w’ekibiina ky’ebyobufuziEkibiina kya National Resistance Movement Kyusa

Ayoo Tonny (yazaalibwa nga 8 Ogw'omukaaga 1974), munnambeera z'abantu era munnabyabufuzi, munnayuganda. Yaweerezako ng'omubaka wa Paalamenti akiikirira ekitundu kya Kwania mu Paalamenti ya Uganda ey'ekkumineemu.[1] [2] [3] [4]

Obuto bwe n’okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Ayoo yazaalibwa nga 8 Ogw'omukaaga 1974 mu Disitulikiti y'e Apac, mu Uganda. Yasomera ku Aduku Secondary School ne Apac Secondary School ku misomo gye egya siniya. Alina Dipulooma mu busomesa bwa siniya okuva mu ttendekero ly'abasomesa erya Lira-Ngetta -NTC NE Ddiguli esooka ey'emisomo gy'ebyenkulaakulana okuva mu Yunivasite y'e Makerere.[1] [3]

Emirimu gye n'okwenyigiraakwe mu by'obufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Ayoo yava ku mulimu gwe ogw’obusomesa oluvannyuma lw’emyezi mukaaga gyokka ku Apac Secondary School okuyingira eby'obufuzi mu mwaka gwa1998, n’atandika n’obuweereza nga kansala w’ekitundu mu Disitulikiti y’e Apac . Mu kulonda kwa bonna okwa 2011, yeesimbawo ku ttiketi y'ekibiina ekifuga ki National Resistance Movement (NRM) era Yalondebwa ng'omubaka wa paalamenti ow'essaza lya Kwania mu Disitulikiti y'e Apac. Yawangula ekifo kyekimu mu kulonda kwa 2016 ne 2021.[5] [3] [6]

Ayoo yali mumyuka wa ssentebe w’akakiiko ak'okukola ennongoosereza y'etteeka ly'obwanannyini bw'ebiyiiye (erya 2006 ) era yaweereza nga ssentebe w’akakiiko ka paalamenti ey'omulundi ogw'ekkuminoogumu (11th) aka tekinologiya w'eby'empuliziganya (ICT) ne n'okulungamya eggwanga (National Guidance).[7] [8]

Okugatta kw'ekyo, Ayoo aweerezza nga Ssentebe w’akakiiko ka Paalamenti akavunaanyizibwa ku nsonga z'amawanga ag'obuvanjuba bw'Afirika era mmemba wa w'akakiiko ka Paalamenti akavunaanyizibwa ku by’enfuna by’eggwanga ku kisanja kya 2024-2026. Mu gw'omukaaga 2024, yalondebwa ng'omukwanaganya w’ekisinde kya Patriotic League Uganda (PLU) mu Ttundutundu ly'e Lango.[9] [10] [11]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 "Members of Parliament | Parliament". mpsdb.parliament.go.ug. Retrieved 2025-11-09.
  2. Reporter, Our (2025-07-22). "Kwania MP Ayoo to seek re-election on an independent ticket". tndNews, Uganda (in British English). Retrieved 2025-11-09.
  3. 1 2 3 Editor, Flash Uganda; Uganda, Flash (2023-07-13). "Ayoo Tonny: Biography, Age, Family and wife". Flash Uganda Media (in English). Retrieved 2025-11-09. {{cite web}}: |last= has generic name (help)CS1 maint: unrecognized language (link)
  4. Okello, Dickens H. (2020-09-04). "MP Tony Ayo Wins Kwania NRM Primaries". ChimpReports (in American English). Retrieved 2025-11-09.
  5. "Wayback Machine" (PDF). www.ec.or.ug. Archived from the original (PDF) on 2024-09-15. Retrieved 2025-11-09.
  6. "Wayback Machine" (PDF). www.ec.or.ug. Archived from the original (PDF) on 2022-01-31. Retrieved 2025-11-09.
  7. "MPs intensify pressure on delayed Copyright amendments | Parliament of Uganda". www.parliament.go.ug. Retrieved 2025-11-09.
  8. "Committee on Information, Communication Technology and National Guidance – Parliament Watch". parliamentwatch.ug. Retrieved 2025-11-09.
  9. Lubambula, Solomon (2018-08-10). "Parliamentary Committee champions E.A.C integration". The Sunrise Newspaper (in Lungereza). Retrieved 2025-11-09.
  10. "Committee on National Economy (Uganda)", Wikipedia (in Lungereza), 2025-11-03, retrieved 2025-11-09"Committee on National Economy (Uganda)", Wikipedia (in Lungereza), 2025-11-03, retrieved 2025-11-09
  11. Reporter, Our (2024-06-09). "At last, PLU uses 'top roots' to reach Lango". tndNews, Uganda (in British English). Retrieved 2025-11-09.