Jump to content

BUL Jinja FC

Bisangiddwa ku Wikipedia
BUL Jinja FC
Kiraabu y'omupiira mu kibiina kya Uganda Kyusa Wikidata
Association football club, sports club Kyusa Wikidata
Industrysporting activities Kyusa Wikidata
Omuzannyoomupiira ogw'ebigere Kyusa Wikidata
EgwangaUganda Kyusa Wikidata
Head coachAbbey Kikomeko Kyusa Wikidata
League or com­pe­ti­tionUganda Premier League Kyusa Wikidata
Official websitebulfc.co.ug Kyusa Wikidata

BIDCO Uganda Limited Jinja Football Club, era emannyikiddwa nga BUL Jinja FC, kiraabu ya mupiira mu Uganda okuva e Jinja, mu bitundu By'obuvanjuba bw'eggwanga. [1] Kiraabu eno edukanyizibwa kampuni ya BIDCO Uganda Limited esinganibwa e Jinja. [2] Bazannyira mu kibinja ky'oku ntikko eky'omupiira gwa Uganda,ekimannyikiddwa nga Uganda Premier League ng'era bakyaliza emipiira gyabwe ku kisaawe ya FUFA Technical Centre e kisinganibwa e Njeru[3]

Kiraabu yatandikibwaawo mu 2006-2007 [4] ng’empaka z’ebitongole eza Bidco Co. n’ekigendererwa ky’obuvunaanyizibwa bw’ebitongole mu mbeera z’abantu okutunda n’okutumbuula eby'amaguzi bya kampuni ya Bidco, mwe baayita okukulaakulanya ekirowoozo ky’okwegatta ku liigi ezikwatagana ne Fufa.

Ttiimu eno yazannyira mu liigi ya FUFA omulundi ogwasooka mu 2011 n'emalira mu kifo kya 13 ku ttiimu 16 ezaali mu liigi sizoni eyo.[5]

Byebawangudde

[kyusa | kolera mu edit source]
  • Bul FC yawangula ekikopo kya liigi y'e kibinja y'e Jinja esooka mu 2007-2008.
  • Ttiimu ya BUL FC ey'abato yatikkirwa engule y'obwakyampiyoni [6] mu liigi ya FUFA Juniors League mu sizoni ya 2018 - 2019.
  • Bul FC yawangula Vipers Soccer Club okusitukira mu kikopo kya Stanbic Uganda cup ekya 2021 - 2022 [7]
  • Kiraabu eno yasooka kuzannya mu mpaka za ezeetabibwamu amawanga g'okulukalu lwa Afrika: gyebakiika omulundi ogwaali gusooka mu 2022 mu mpaka za CAF confederations cup ez'okusunsula nga battunka [8] ne Future FC ey'e Misiri.

Abaali baddukanya kiraabu eno mu kusooka baali bakulemberwa nga Rupesh ne Rao Kodey eyali omuwanika wa kampuni era akulira ba maneja abaali baagala ennyo omupiira. Abadukanya kiraabu eno ensangi zino kuliko badayirekita, Sankha Chatterjee ne Matthew Kok, ssentebe Ronald Barente, omumyuka wa ssentebe Martin Ocitti, Akulira Eby'emirimu Joseph Mutaka ne maneja wa ttiimu Alex Isabirye.

Mu kiseera kino ttiimu eno ezannyira mu kisaawe kya Kakindu Municipal Stadium ekituuza abawagizi 1,000, kye bagabana ne kiraabu endala ey’omupiira emanyikiddwa nga Jinja Municipal Council Football Club. [9]

Omutendesi omukulu mu sizoni ya Uganda Premier League 2020/2021 yali Arthur Kyesimira, [10] mu kiseera ekimu eyali muzannyi eyayita nga kuluda lwa kkono mu ttiimu y'eggwanga ey'omupiira eya Uganda, emannyikiddwa nga Uganda Cranes. [11] Abatendesi ba ttiimu abalala kuliko; Peter Onen (omumyuuka w'omutendesi), David Kiwanuka (omutendesi), ne Bright Dhaira (omutendesi w'abakwasi ba ggoolo).[11]

  • BUL FC yeetaba mu mpaka z'okusunsula mu mpaka z'abaali bagenda okwetaba mu za CAF confederations cup eza 2022, bwe yakubwa Future FC ey'e Misiri.
  • Mu kiseera kino kiraabu eno yeetaba mu liigi ya Uganda eyawagulu eya 2025–2026.[12]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. ↑ Ssenoga, Shafik (7 April 2018). "BUL FC suspend head coach Kisala". Retrieved 22 February 2018.
  2. ↑ FUFA (12 March 2015). "FUFA Acquires New Partner Bidco Uganda". Federation of Uganda Football Associations (FUFA). Retrieved 22 June 2018.
  3. ↑ Mugooda, Bruno (5 May 2018). "BUL FC survive relegation". Retrieved 22 June 2018.
  4. ↑ "About Club". BUL FC | Official Website (in American English). Archived from the original on 2022-10-16. Retrieved 2022-10-16.
  5. ↑ "History of BUL FC". BUL FC | Official Website (in American English). Archived from the original on 2022-12-03. Retrieved 2022-12-03.
  6. ↑ "FUFA Juniors League: BUL FC JT Crowned 2018/2019 Champions". FUFA: Federation of Uganda Football Associations (in American English). 2019-06-29. Retrieved 2022-10-16.
  7. ↑ "BUL defeats Vipers to win 2021/22 Stanbic Uganda Cup". FUFA: Federation of Uganda Football Associations (in American English). 2022-06-12. Retrieved 2022-10-16.
  8. ↑ "CAF CC MATCH PREVIEW: BUL VS FUTURE FC". BUL FC | Official Website (in American English). 2022-09-09. Archived from the original on 2022-10-16. Retrieved 2022-10-16.
  9. ↑ Bbosa, Denis (26 April 2016). "Kakindu Stadium in ownership controversy". Retrieved 22 June 2018.
  10. ↑ "BUL FC appoints Arthur Kyesimira as head coach". 27 January 2020.
  11. 1 2 Airtel Uganda (4 May 2018). "Coach Kefa Kisala proud of BUL's fighting spirit". Airtel Uganda. Retrieved 22 June 2018.
  12. ↑ "Table". UPL: The Only League That Matters (in American English). Retrieved 2022-10-16.

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | kolera mu edit source]

Template:Ugandan Premier League