Bakakensa ba Buganda abedda (the Scientists and Philosophers of ancient Buganda

Bisangiddwa ku Wikipedia

Template:Charles Muwanga Bassekalowooleza ba Buganda abedda.

Bassekalowooleza Abamaanyi (The Great Thinkers of Ancient Buganda ) mu Buganda ey‘ebiseera ebyedda, abasamize be bayita Balubaale ,mulimu SSekalowooleza Mukasa abasamize gwe bayita “lubaale w’ennyanja Nalubaale “ ne SSekalowooleza Wamala gwe bayita “lubaale w’ennyanja Wamala” .

Ababiri bano baali banoonyerezi (researchers) era abakugu ku mbeera y’obudde ey’okunnyanja era beetegereza ne beekenneenya awamu n’okwefumiitiriza ku mbuyaga ez’okunnyanja zino okumala ekiseera n’oluvannyuma ne bazuula ebiseera buli mwaaka ennyanja w’ebeerako embuyaga ez’obulabe eri abasaabaze. . Kino kyayamba okulaba ng’abantu basaabala mu biseera ennyanja webeerera ng’eradde (nteefu) okwewala obubenje bw’okumazzi. Abasajja abo ku mulembe guno b’oyinza okuyita ba “meteorologists”.

Bassekalowooleza n’abanoonyerezi abedda abalala mwalimu :

(i) Kiwanuka eyali omunoonyerezi ku laddu,

(ii) Ndawula kawaali eyali omunoonyerezi ku kirwadde kya kawaali (small pox),

(iii) Musoke eyali omunoonyerezi ku ndaga ya kkala (colour spectrum) mu lubaale,

(iv)Kawumpuli eyali omunoonyerezi ku kirwadde kya kawumpuli (plague),

(v)Musisi eyali omunoonyerezi ku kwesisiwala kw’ensi (earthquake) ,

(vi)Kitaka eyali omukugu ku nkula y’ettaka ;

(vii) Nakayima, Nagaddya, Kitinda, ne Nalwoga abaali bakagezimunyu abakyaala abaanoonyerezanga ku ndwadde ez’enjawulo.

(viii) Ggulu ono nga yali munoonyerezi ku bwengula n’ensibuko y’obulamu ne

(ix) Kayikuuzi ono nga yali munoonyerezi ku njazi (geologist); kino yakikolanga ng’ayikuula ettaka okwekenneenya enjazi ezikola amagombe (munda w’ensi).

Bassekalowooleza ne Bannakalowooleza ba Buganda eyedda abalala mulimu Bukulu, Wadda, Wanga, Wannema, Nnende, Mirimu, Walumbe, Kayikuuzi, Kayaga, Kaseegu, Namirembe, Nanziri, Nabbamba, Lubanga, Nagawonye, Kawagga, Nabuzaana, Bukya, Lule ne Wabulenkoko, okutwalira awamu baali nga 73. Buli omu yagendanga okufa ng’alina abaana abato b’alese atendese mu by’amagezi –okunoonyereza, n’okukozesa obwongo n’okwefumiitiriza ku butonde.

Bukulu okuva e Ssese yatendeka Wanga ne Musisi. Wanga n’atendeka Muwanga ate Musisi n’atendeka Wamala, Kitanda ne Wannema. Wannema n’atendeka Mukasa ne Kyobe Kibuuka ate Mukasa naye n’afa ng’atendese bassekalowooleza nga Nnende, Mirimu, Musoke, ne Kilaarire.

Abo waggulu gwe musingi gw’akalombolombo ak’okwekkenneenya obutonde akaali wano okuva edda, naffe ke tusazeewo okunonooza ng’entandikwa y’omulembe ogw’obutangaavu.

Osaana okimanye nti okukozesa obwongo n’okwekenneenya obutonde kalombolombo ka lubu lwa muntu lwonna ; ssi ka bazungu bokka, Oluvannyuma nakizuula nti n’omuganda ow’edda ke yeeyambisanga okubeela omwefumiitiriza, omuyiiya, ate nga mukozi.

Kino okirabira ku bassekalowooleza abamaanyi abaakola ebintu eby’amagezi ebingi mu biseela ebyedda.

Okusamirira n’okuwongera bassekalowooleza ab’amaanyi (great thinkers) kizze kitwerabiza bakagezimunyu n’abafirosoofa baffe bano abedda nga tubatwaala nga lubaale oba emisambwa, ekintu ekitali kituufu . Okukozesa obwongo n’okugoba ensonga kye kintu ekyasobozesa abantu abo okukola ebyamagezi ebyasobozesa abantu ab’ebiseera byabwe okufuna okumanyisibwa ku butonde n’okuganyulwa mu bujjanjabi okuva mu ddagala ery’enjawulo eryabanga livumbuddwa bakagezimunyu abo.

Ku guno omulembe gw’obutangaavu, abantu abo abaali basekalowooleza ab’amaanyi mu biseera we baaberela abalamu tuleme kubatabulatabula n’emyoyo egisukkulumye ku bw’omuntu (emisambwa) naye tubalabireko olw’amagezi ge baalina n’ebyamagezi bye baakolera abantu mu ggwanga ela tulekele awo okubuzaabuza abaana b’eggwanga abato okubajja ku mulamwa gw’okukozesa obwongo n’okuyiiya nga nga buli kintu kyetutategeera mu butonde tukijjuliza misambwa mu kifo ky’okukinoonyerezaako nga tweyambisa akalombolombo ka sayansi.

Abantu baffe abo abaali bakagezimunyu obageraageranya n’abagereeki abafirosoofa ne basekalowooleza nga Socratese, Aristoltle ne Plato .Ssinga baali baana nzaalwa ba wano nabo bandiibadde bawongerwa nga myoyo egisukkulumye ku bw’omuntu naye abagereeki bo essira baliteeka ku kwenyumiriza mu bya magezi bye baakola nga balamu.

Okugandawaza okumanya (gandanisation of knowledge) ky’ekisumuluzo ky’omulembe gw’obutangaavu mu ntabaganya yaffe, awamu n’enkomerelo y’ebikolwa eby’obutamanya oba ebya kijulizampewo (sikimanyinkitye) ebibadde bisibye akanyaaga mu ntabaganya z’abaddugavu, ne biviirako endwadde, obutamnya n’obwaavu okweyongera obweyongezi awatali kuziiyizibwa. Ebikolwa eby’obutamanya byeyolekera mu bujama, okusaddaaka abantu n’okusinza oba okusamirira ebitaliimu. Mu butuufu tewali “ntabaganya” (society) esajjakudde mu sayansi, tekinologia n’obukulembeze nga tekulaakulannyizza kya buwangwa kya sayansi. Sayansi ky’ekyobuwangwa eky’obuntu, ekyawula omuntu n’ensolo endala.

Yadde nga mu mawanga g’abaddugavu kizibu okuteeka amasomo ga sayansi mu nnimi ez’ekinnansi olw’obuwangwa n’ennimi ennyingi ze tulina, kino tekitulobera kunoonya oba kuteeka kumanya mu nnimi zaffe ez’obuzaaliranwa nga tuwandiika era ne tusoma eby’amagezi agawaggulu , entabaganya ezaakulakulana (developed societies) bye zizze zituukako, abantu baffe, okutandika n’abaana, babisome ng’engero, ebikwaate, oba ennono mu biseera eby’eggandaalo ,kino kibasobozese okujjumbira , okuwagira oba okwenyigira mu bikolwa ebya sayansi nga beyambisa akalombolombo ka sayansi(enkola ya sayansi).