Baltazar Kasirivu-Atwooki
| Ekikula | musajja | |
|---|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Uganda | |
| Erinnya eriweereddwa | Balthazar | |
| Yazaalibwa nga | 5 Gusooka 1958 | |
| Gy'azaalwa | Uganda | |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza | |
| Omulimu | munnabyabufuzi | |
| Ekifo ky'alimu | Omubaka wa Palamenti ya Uganda | |
| Gyeyasomera | Ssettendekero wa Makerere | |
| Gyabeera | Kampala | |
| Ebbanga ly'akoledde (okutandika) | 1984 | |
| Mmemba w’ekibiina ky’ebyobufuzi | Ekibiina kya National Resistance Movement | |
Baltazar Kasirivu-Atwooki, amanyiddwa nga Kasirivu-Atwooki Kyamanywa, Munnayuganda, munnabyabufuzi. Ye Minisita omubeezi ow'okulondoola eby'enfuna mu Kabineeti ya Uganda. Yalondebwa mu kifo ekyo nga 6 Ogwomukaaga 2016, nga yadda mu bigere bya Henry Banyenzaki, ayasuulibwa okuva mu Kabineeti.[1] Era aweereza nga Mmemba mu Paalamenti omulonde ng'akiikirira Essaza ly'e Bugangaizi ey'Ebuggwanjuba mu Disitulikiti y'e Kibaale okuva mu 2011.[2]
Obuto bwe n'emisomo gye
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Kibaale nga 5 Ogusooka 1958. Alina diguli ey'okubiri mu by'obulimi, gye yafuna mu 1997 okuva mu Yunivasite y'e Makerere . [2]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Okuva mu 1984 okutuuka mu 1992, yaweereza ng’Omusawo wa Gavumenti ow’ebisolo. Oluvannyuma yaweereza ng’omusawo wa gavumenti ow’ebisolo ku mutendera gwa Disitulikiti okuva mu 1992 okutuuka mu 1996. Yeegatta ku Paalamenti ya Uganda mu 1996, era abadde mubaka okuva kw'olwo. Okuva mu 2006 okutuuka mu 2009, yaweereza nga Minisita omubeezi ow’ebyettaka era ng’omuwabuzi wa Pulezidenti omukulu ku nsonga z’ettaka okuva mu 2009 okutuuka mu 2011. [2] Nga 6 Ogwomukaaga 2016, yalondebwa okuba Minisita omubeezi ow’okulondoola ebyenfuna. [3]
Ebimukwatako eby'omunda
[kyusa | kolera mu edit source]Baltazar Kasirivu-Atwooki mufumbo. [2]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://web.archive.org/web/20161007121926/http://www.monitor.co.ug/blob/view/-/3235304/data/1345443/-/3o16hn/-/Museveni%27s+cabinet.pdf
- 1 2 3 4 https://en.wikipedia.org/wiki/Parliament_of_Uganda Cite error: Invalid
<ref>tag; name "Profile" defined multiple times with different content. - ↑ https://www.scribd.com/doc/314964607/New-Cabinet