Balyeku Moses Grace
| Ekikula | musajja |
|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Yuganda |
| Erinnya eriweereddwa | Grace |
| Ennimi z'amanyi | Lukiga, Lungereza |
| Omulimu | munnabyabufuzi |
Balyeku Moses Grace Munnayuganda, munnabyabufuzi era munnabizinensi.[1] Yali mubaka akiikirira Konsityuwensi y'e Jinja mu Bugwanjuba mu Paalamenti.[2] Ye nnanyini Baba TV ne Baba FM.[3] Yatongozebwa ng'omumyuka wa ssentebe w'ekisinde kya MK mu 2023.[4]
Omulimu gw’ebyobufuzi
[kyusa | kolera mu edit source]Balyeku mu 2010 yalondebwa kubwa ssentebe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) mu Disitulikiti y’e Jinja.[5] Mu kulonda kwa bonna okwa 2011, Balyeku yavuganya ku kifo ky’omubaka wa Paalamenti ow'Obugwanjuba bwa Jinja ng’ayavuganya ne Harry Kasigwa owa FDC eyali mu ntebe mu kiseera ekyo.[6] Abaali bavuganya abalala kwaliko Fred Kasisa (NRM), Simon Muyanga Lutaaya (FDC), ne Zaake Kibedi (NRM) n’abalala.[7]
Mu 2019 bamunonyerezaako kunsonga z’ettaka kyokka oluvannyuma akakiiko k’ebyettaka akaali kakulemberwa Catherine Bamugemereire ne kamwegyereza.[8][9]
Balyeku bwe yali akyali mu Paalamenti yawagira ekya bamusigansimbi ba wano okusiimibwa n’okuyambibwako gavumenti.[10] Era yateranga okuwagira abasuubuzi n'okusingira ddala SACCO z'abakyala mu kitundu kye.[11]
Mu 2020, yazzaayo obukadde bwa shs 20 ezaali ziweereddwa ababaka ba Paalamenti okubayambako mu kulwanyisa n'awookera w'ekirwadde kya COVID-19.[12]
Mu kulonda kwa bonna okwa 2021, Balyeku Moses Grace yafiirwa ekifo ky'omubaka mu Paalamenti bwe yawangulwa Timothy Batuwa owa FDC.[13]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Can Opposition wrestle Jinja West from Balyeku?". Monitor (in Lungereza). 2021-01-12. Retrieved 2024-01-06.
- ↑ "Can Opposition wrestle Jinja West from Balyeku?". Monitor (in Lungereza). 2021-01-12. Retrieved 2024-01-06.
- ↑ "Police switches off Balyeku and Mwiru's radio stations in Jinja".
- ↑ "MK Movement Busoga chapter leadership unveiled". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2024-01-06.
- ↑ Walukamba, Aldon (2 Aug 2010). "Moses Grace Balyeku Elected as Jinja NRM chairman". Uganda Radio Network. p. 1.
- ↑ "Moses Grace Balyeku Elected as Jinja NRM Chairman".
- ↑ "Road to 2011: The scramble for Jinja West seat". Monitor (in Lungereza). 2021-02-02. Retrieved 2024-01-06.
- ↑ "Land commission summons Jinja West MP Balyeku over land grabbing". The Independent Uganda (in American English). 2019-08-28. Retrieved 2024-01-06.
- ↑ "Land commission grills MP Balyeku over Jinja land saga". The Independent Uganda (in American English). 2019-08-30. Retrieved 2024-01-06.
- ↑ "MP wants govt to recognise local investors". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2024-01-06.
- ↑ "Jinja MP boosts parish women SACCOS". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2024-01-06.
- ↑ "Moses Balyeku returns shs20m Covid-19 money".
- ↑ Lubwama, Alice. "Corruption grossly affects the health sector- MP Batuwa". Capital Radio (in Lungereza). Retrieved 2024-01-06.