Bank of Africa
Bank of Africa Uganda Limited, era emanyikiddwa nga BOA Uganda ( BOAU ), y’emu ku bbaanka z’eby'obusuubuzi mu Uganda eyaweebwa ebisaanyizi b'okukola okuva mu Bbaanka ya Uganda enkulu, bbaanka y'e ggwanga era evunaanyizibwa ku by'entambula n'enkola ya bbaanka eggwanga. [1]
Webagisingaana
[kyusa | kolera mu edit source]Ekitebe kyayo ekikulu n’ettabi eddene erya Bank of Africa Uganda Limited, lisangibwa ku kizimbe kya Lugogo One Building kundagiriro lya 23 Lugogo Bypass, mu disitulikiti y’eby'obusuubuzi eya wakati mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda era ekibuga ekisinga obunene. [2]
Emirimu gyebakola awamu
[kyusa | kolera mu edit source]BOA Uganda yeenyigira mu buli kimu ekikwata ku bbaanka z’eby'obusuubuzi wadde ng’esira eriteeka ku kuwa kampuni z’amawanga ag'enjawulo obuweereza bwa bbaanka, amaduuka g'eby'obusuubuzi amatono ne bizinensi entonotono ez’obusuubuzi. Webwatukira mu Gwomukaaga 2023, BOA Uganda yali kampuni ya wakati ekola ku by’ensimbi, ng’eby’obugagga byonna awamu byayo awamu byalimu obuwumbi bwa ssente za Uganda 1,100 (nga bwebukadde bwa ddoola mu ssente za Amerika 285.5), ng’emigabo gya bannannyini nga giri obuwumbi bwa 177.688 mu ssente za Uganda (nga bwe bukadde bwa ddoola mu ssente za Amerika nga 46.11).
Bank of Africa Group
[kyusa | kolera mu edit source]Bbaanka eno zeezimu ku ziri mu kampuni ya Bank of Africa Group, bbaanka y’amawanga ag'enjawulo, ey'egatibwaamu amawanga ga Afrika agatali gamu, ng’ekitebe kyayo ekikulu kisinganibwa Casablanca ekibuga kya Morocco, ng’esinganibwa mu mawanga 20. Kampuni eno era erina ofiisi mu kibuga Paris ekya Bufalansa gyedukanya. Wetwatukira mu Gwekumineebiri mu 2022, ekibiina kino kyali kirina abakozi abasoba mu 6,500 ng'era balina eby’obugagga omugatte ebisukka mu buwumbi bwa ssente za Bulaaya 10.2. [3]
Ebikikwatako
[kyusa | kolera mu edit source]BOA Uganda yatandika emirimu gyayo mu 1984 ng'eyitibwa Sembule Investment Bank (SIB). Mu 1996, SIB yagulibwa Banque Belgolaise ne kampuni ya Netherlands Development Finance Company. Bannannyini bbaanka eno abapya baagikyusa erinnya nebatandika okugiyita Allied Bank. Mu Gwekumi 2006, Banque Belgolaise yatunda emigabo gyayo eri bamusiga nsiimbi omwali Bank of Africa ey'e Kenya, [3] Aureos East Africa Fund LLC, [4] ne Central Holdings (Uganda) Limited. Erinnya lya bbaanka eno lyakyusibwa ne lifuuka Bank of Africa (Uganda) Limited. [5]
Obwannannyini
[kyusa | kolera mu edit source]Obwannannyini bw’emigabo gya BOA Uganda webwatukira nga 31 Ogwekumineebiri 2022 bwali nga bwe kiragibwa mu kimeesa kino wammanga: [6]
| Eddaala | Erinnya lya Nnyinimu | Ebitundu ku kikumi eby’obwannannyini |
|---|---|---|
| 1. 1. | Bank of Africa Group | 47.41 |
| 2. 2. | Africa Financial Holdings-Indian Ocean of Mauritius | 44.83 |
| 3. 3. | Central Holdings Uganda Limited | 7.76 |
| Okugatta | 100.00 | |
Ensibuko:
- Bank of Africa Uganda: Alipoota y’omwaka 2022
Abagidukanya
[kyusa | kolera mu edit source]Bbaanka eno erabirirwa olukiiko olufuzi olw’abantu mwenda, olukulirwa George William Egaddu, atali mukiise ku lukiiko olufuzi. [7]
Ttiimu edukanya emirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Mu Gwekumineebiri 2010, Edigold Monday yalondebwa okubeera nga y'akulira eby'emirimu mu bbaanka eno. Yafuuka omukyala enzaalwa eyasooka okulinnya ku ddaala lino mu bbaanka y'eby'obusuubuzi mu Uganda . [8] Mu Gwokuna 2014, Monday yalekulira. [9] Arthur Isiko yalondebwa okudda mu bigere bye. [10]
Amatabi gyegalina
[kyusa | kolera mu edit source]Webwatukira mu Gwomwenda 2025, bbaanka eno yali edukanya amatabi mu bitundu byonna eby’eggwanga, nga mw’otwalidde n’ebifo bino wammanga: [11]
- Ettabi Enkulu : One Lugogo Building, 3 Lugogo Bypass, Kampala [2]
- Ettabi ly’e Ndeeba: 1024 Masaka Road, Ndeeba
- Ettabi lya Takisi Paaka: Mukwano Centre, 40-46 Ben Kiwanuka Street, Kampala
- Ettabi lya Kampala Road: 48 Kampala Road, Kampala
- Ettabi ly’e Ntinda: 49 Ntinda Road, Ntinda, Kampala
- Ettabi ly’e Wandegeya: KM Plaza, 85 Bombo Road, Wandegeya, Kampala
- Ettabi ly’e Entebbe: 16 Kampala Road, Entebbe
- Ettabi ly’e Nakivubo: 15 Nakivubo Road, Kampala
- Ettabi ly’e Mukono: 13 Kampala Road, Mukono
- Ettabi ly’e Kabalagala: 559 Ggaba Road, Kabalagala, Kampala
- Ettabi lya Oasis: Ekizimbe kya Oasis Mall, 88-94 Yusuf Lule Road, Kampala
- Ettabi Enkulu e Jinja: 1 Main Street, Jinja
- Ettabi ly'oku Clive Road: 18 Clive Road East, Jinja
- Ettabi ly’e Arua: Oluguudo lwa 19 Avenue, Arua
- Ettabi lya Lira: 1A Balla Road, Lira
- Ettabi ly’e Mbarara: 1 Mbaguta Road, Mbarara
- Ettabi ly’e Mbale: 26 Cathedral Avenue, Mbale
- Ettabi lya Fort Portal: 14 Bwamba Road, Fort Portal
- Ettabi ly’e Gulu: 11 Awere Road, Gulu
- Ettabi e Kololo: 9 Cooper Road, Kisementi, Kololo, Kampala
- Ettabi ly’e Kawempe: 125 Bombo Road, Kawempe, Kampala
- Ettabi ly’e Nansana: 5390 Nansana Town Centre, Nansana
- Ettabi ly’e Luzira: 1329/1330 Port Bell Road, Luzira, Kampala
- Ettabi ly’e Hoima: 13 Wright Road, Hoima
- Ettabi ly’e Nateete: 1-2 Old Masaka Road, Nateete, Kampala
- Ettabi ly'e Patongo - 33 Dollo Road, Patongo
- Bbira Mini Branch: 2731 Mityana Road, Bbira mu Disitulikiti y’e Wakiso
- Ettabi ly’e Namasuba: Freedom City Mall, 4010 Entebbe Road, Namasuba, Kampala
- Kalongo Mini Branch: 16 Oluguudo lwa Patongo Kalongo
- Ekifo eky'ebyobusuubuzi - 9 Kittante Road, Kampala
- Rwenzori Mini Branch: Rwenzori House 1 Lumumba Avenue, Nakasero, Kampala
- Ettabi ly’e Masaka: 7 Birch Avenue, Masaka [12]
- Ettabi lya Rubirizi: Oluguudo oluva e Mbarara okudda e Kasese, Rubirizi .
Ng’oggyeeko amatabi g'ebizimbe eby'enjawulo, bbaanka eno erina mmotoka etambula, ng'ekola ku by'okutereka ssente ng’ekolera mu disitulikiti mwenda n’ebifo ebikulu eby’obusuubuzi mu disitulikiti okuli Lira, Pader, Oyam, Lira, Kole, Apac, Dokolo, Kaberamaido, Alebtong, ne Otuke. [13]
Laba nebino
[kyusa | kolera mu edit source]
Ebijjulizidwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Bank of Uganda (31 March 2023). "List of licensed Commercial Banks as at 31 March 2023" (PDF). Bank of Uganda. Retrieved 20 February 2024.
- 1 2 Stuart Ampaire (7 February 2024). "Bank of Africa Uganda Launches New Head Office in Kampala". ChimpReports. Retrieved 19 February 2024.
- 1 2 Belgolaise (23 October 2006). "Chronology of disposal of banking activities". Belgolaise. Archived from the original on 24 August 2018. Retrieved 24 May 2018.
- ↑ Jacob Kholi; Managing Partner; Aureos West Africa. "Aureos Capital". Aureos.com. Archived from the original on 10 October 2012. Retrieved 18 December 2012.
- ↑ Isiko, Arthur (24 May 2018). "About Bank of Africa Uganda Limited". Bank of Africa Uganda. Archived from the original on 30 May 2018. Retrieved 24 May 2018.
- ↑ Bank of Africa Uganda (28 April 2023). "Bank of Africa Uganda: Annual Report For The Year Ended 31 December 2022" (PDF). Bank of Africa Uganda. Retrieved 20 February 2024.
- ↑ Bank of Africa Uganda (20 February 2024). "Bank of Africa Uganda: Board of Directors". Bank of Africa Uganda. Retrieved 20 February 2024.
- ↑ David Ssempijja (26 December 2010). "Uganda Gets Her First Local Woman Commercial Bank Managing Director". New Vision. Archived from the original on 2014-04-16. Retrieved 29 May 2014.
- ↑ Ismail Musa Ladu (15 April 2014). "Uganda's First Female Bank Managing Director Bows Out". Daily Monitor. Archived from the original on 16 April 2014. Retrieved 16 April 2014.
- ↑ Faridah Kulabako (28 April 2014). "Mobile Money Competition Stiffer As Bank Unveils Related Platform". Daily Monitor. Retrieved 5 May 2014.
- ↑ Bank of Africa Uganda (October 2020). "Branches of Bank of Africa Uganda Limited" (PDF). Bank of Africa Group. Retrieved 20 February 2024.
- ↑ Jonathan Adengo (30 April 2015). "Bank of Africa Posts USh1.2 Billion Profit Up From USh6.7 Billion Loss In 2013". Daily Monitor. Archived from the original on 1 May 2015. Retrieved 1 May 2015.
- ↑ "About Bank of Africa Uganda Limited". AfricaSkillz.com. 2022. Archived from the original on 20 February 2024. Retrieved 20 February 2024.