Jump to content

Barbara Allimadi

Bisangiddwa ku Wikipedia
Barbara Allimadi
omuntu
Ekikulamukyala Kyusa
Ensi y’obutuuzeYuganda Kyusa
Erinnya eriweereddwaBarbara Kyusa
Yazaalibwa nga3 Gwamusanvu(Kasambula) 1972 Kyusa
Olunaku lwe yafa27 Gwakuna(Kafuumuulampawu) 2020 Kyusa
Place of deathKiwaatule Kyusa
FatherOtema Allimadi Kyusa
Omulimuhuman rights defender Kyusa

Barbara Ann Allimadi (c. 1972 – nga 27 mu mwezi gw'okuna mu 2020) yali munnabyabufuzi mu Uganda era omulwanirizi w'eddembe ly'obuntu. Yabadde amanyiddwa nnyo okutegeka "okwekalakaasa kw'akaleega" n'okukwatibwa oluvannyuma lw'okwekalakaasa mu lukiiko lw'ekibiina kya Bannansi bekikwatako (Concerned Citizens.)

Obulamu obuto

[kyusa | kolera mu edit source]

Allimadi yazaalibwa mu Uganda era bazadde be baali Eriphas Otema Allimadi, [1] Katikkiro wa Uganda owookusatu (1980–1985), ne Alice Lamunu Allimadi. [2] [3] Yali omu ku bakitaawe abaana kkumi na musanvu. [3] Muganda we ye Milton Allimadi, pulofeesa, munnamawulire era omutandisi w'olupapula lw'amawulire.[4]

Allimadi yasomera ku ssomero lya Gayaza High School, nga famire ye tennagenda mu buwanganguse nga gavumenti ya Obote II egobwa. [1] [3] Yasoma diguli mu byuma bikalimagezi n'empuliziganya mu London Metropolitan University . [5] Allimadi yakola yinginiya mu Bungereza, [1] oluvannyuma n'adda mu Uganda mu 2007. [5]

Okulwanirira eddembe ly’obuntu

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu 2012, Allimadi yategeka okwekalakaasa oluvannyuma lwa Ingrid Turinawe, munnabyabufuzi ow'oludda oluvuganya amanyiddwa nga "Iron Lady" owa Forum for Democratic Change (FDC), [6] okumusika ebbeere n'okunyiga omusirikale wa poliisi era okukuba kuno ne kulagibwa ku ttivvi. Okwekalakaasa kwatambudde okutuuka ku Poliisi ya Kampala Central nebamanyika nga "bra protest" mu Uganda. [3] [5] Allimadi yagamba nti "Nnyiize nnyo nti poliisi eteekeddwa okutukuuma yakuba omukazi mu maaso ga buli muntu." [4]

Era mu 2012, Allimadi yakwatibwa oluvannyuma lw’okwekalakaasa mu lukiiko lw’ekibiina kya Concerned Citizens era ebiteeteeyi bye ebyalimu ebigambo ebiwakanya enguzi ne bibowa. [7]

Allimadi yali mulwanirizi w’ekibiina ky’ebyobufuzi ekya FDC, [8] era mu 2019 yeegatta ku kibiina ekipya ekya Alliance for National Transformation (ANT) n’afuuka omuwandiisi waabwe ow’ensonga z’ensi yonna, ng’akwanaganya Bannayuganda abali mu nsi endala . [9] [2] Yafuna diguli eyookubiri okuva mu yunivasite y'e Makerere era yali ateekateeka okugenda ebweru w'eggwanga okukola omulimu gwe ogwa ANT ng'ebula mbale afe mu 2020. [10]

Okufa n’omusika

[kyusa | kolera mu edit source]

Allimadi yasangibwa mu makaage e Kiwaatule, Kampala nga 27 mu mwezi ogwokuna mu 2020.[11][12] [13] Poliisi yaggulawo okunoonyereza ku nfa ye.[4][11] [14] Mugisha Muntu, omukwanaganya w’ekibiina kya ANT mu ggwanga lyonna, yayogedde mu kuziika kwe.[10]

Ekitongole kya Barbara Allimadi Foundation kyatongozebwa okumujjukira mu 2021, okuwa abayizi sikaala z’amatendekero ne yunivasite naddala abawala. [2]

Ebijjuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 Taylor, Mildred Europa (2022-04-23). "Celebrating Barbara Allimadi, the Ugandan political activist known for her defiant bra protest". Face2Face Africa (in Lungereza). Archived from the original on 20 July 2024. Retrieved 2025-02-16.
  2. 1 2 3 Dominic, Ochola O. (2021-05-02). "Barbra Allimadi Foundation Launched in Memory of Her Freedom Fighting Legacy". Uganda Radionetwork (in Lungereza). Archived from the original on 7 August 2022. Retrieved 2025-02-16.
  3. 1 2 3 4 Dominic, Ochola O. (2020-04-29). "Rights Activists in Acholi Mourn Barbara Alimadi :". Uganda Radionetwork (in Lungereza). Retrieved 2025-07-21.
  4. 1 2 3 Samanga, Rufaro (2020-04-28). "Ugandan Political Activist Barbara Allimadi Passes Away". OkayAfrica (in Lungereza). Archived from the original on 23 January 2025. Retrieved 2025-02-16.
  5. 1 2 3 "Barbara Allimadi". Association for Women's Rights in Development (AWID). Archived from the original on 13 January 2025. Retrieved 2025-02-16.
  6. "Tribute to fallen freedom fighter Barbara Allimadi". Uganda (in American English). 2021-05-02. Retrieved 2025-02-16.
  7. Watch, Human Rights (2013-02-19). World Report 2013: Events of 2012 (in Lungereza). Seven Stories Press. p. 180. ISBN 978-1-60980-483-1.
  8. "Political activist Barbara Allimadi reported dead". Monitor (in Lungereza). 2020-07-19. Archived from the original on 29 May 2025. Retrieved 2025-02-16.
  9. "Allimadi hailed as justice defender". Monitor (in Lungereza). 2020-07-19. Archived from the original on 29 May 2025. Retrieved 2025-02-16.
  10. 1 2 "At Barbara Allimadi's Funeral, Party Leader Muntu Urges Ugandans to fight Political Coronavirus". Black Star News (in American English). 2020-05-03. Retrieved 2025-07-21.
  11. 1 2 "Police probe political activist Barbara Allimadi's death". Monitor (in Lungereza). 2020-07-19. Retrieved 2025-02-16.
  12. "Neighbours' account of Allimadi's last moments". Monitor (in Lungereza). 2020-07-19. Archived from the original on 29 May 2025. Retrieved 2025-02-16.
  13. Habib, Ashraf (2020-04-28). "GONE TOO SOON: Family of fallen Barbara Allimadi hail her as activist, a champion of justice and democracy in Uganda". Galaxy FM 100.2 (in American English). Retrieved 2025-07-21.
  14. Kirabo, Jonah. "Police starts investigation into sudden death of opposition activist, Barbara Allimadi". Nilepost News (in Lungereza). Retrieved 2025-07-21.