Jump to content

Barbara Barungi

Bisangiddwa ku Wikipedia
Barbara Barungi
omuntu
Ekikulamukyala Kyusa
Omulimueconomist, university teacher Kyusa

Barbara Barungi, Munnayuganda omukugu mu by’enfuna, omusuubuzi era omukungu w’ebitongole era akola nga omukungu omukwanaganya mu kitongole kya Imara Africa Consulting, ekitongolen ekigatta amawanga ga Africa ekyebuuzibwako ku by’enfuna, eby'obusuubuzi n'enkola nga kirina ofiisi mu Nigeria, Kenya ne Uganda. Mu kiseera kye kimu akola nga ssentebe atali mukulu ku lukiiko olufuzi olwa Access Bank Kenya, nga ye mukyala eyasooka okuweereza mu kifo ekyo. [1][2][3]

Obuto n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Barungi Munnayuganda, yazaalibwa okumo n'emyaka gya 1970. Yasomera mu masomero ga pulayimale ne siniya ag’oku kitundu. Yaweebwa ekifo mu yunivasite y’e Makerere, yunivasite ya gavumenti esinga obunene era esinga obukadde mu ggwanga. Yatikkirwa diguli Esooka eya Bachelor of Arts mu by'enfuna n'ebyenkwatagana z'abantu. [1][2] Yagenda mu maaso n'afuna dipulooma mu nkola z'eby'enkulaakulana ne diguli eyookusatu mu ssomo ly'y'eby'ensimbi mu nsi yonna, nga zombimyaziggya mu ttendekero lya University of Glasgow. Abakozi ku ludda lw'ebyenjigiriza ku Ttendekero lya University of Witswatersand Abakozi ku ludda lw'ebyenjigiriza ku Ttendekero lya University of Witswatersand. [1][2][3]

Alina omulimu ogumaze emyaka egisukka mu 30 mu by’okwebuuzibwako ku nzirukanya y’emirimu, okuddukanya ebyenfuna n’eby’ensoma. Emabegako yakolako ng’omukugu mu by’enfuna omukulu mu nteekateeka y’ekibiina ky’amawanga amagatte ey’enkulaakulana n’oluvannyuma, mu bbanka ya African Development Bank. Ezimu ku mawanga ge yakwatako mu ssaawa ye mulimu Nigeria, Angola, Botswana, Lesotho, Malawi, Mozambique, Namibia, South Africa ne Zimbabwe . Akola nga dayirekita eyeetongodde atali mukulu ku lukiiko olufuzi olwa Access Bank South Africa, ng’oggyeeko okukola nga ssentebe w’olukiiko olufuzi olwa Access Bank Kenya.[1][2][4]

Era yamala akaseera akatono ng'omuwabuzi mu minisitule y'ebyensimbi mu Rwanda . Emabegako yali asomesa by’anfuna mu yunivasite y’e Makerere, mu Uganda, ne mu University of Witswatersrand e South Africa.[1][2][3]

Ebirala by’okulowoozaako

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu Ogw'okusatu 2022, Daily Monitor Newspaper yamuwandiikako mu bakyala ba Uganda omwenda abaali balina ebisaanyizo okukola nga akulira banka enkulu eya Uganda, Senkulu wa bbanka enkulu mu ggwanga lino era nga ye avunaanyizibwa ku kulungamya bbanka z’eggwanga.[5]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 4 5 ABK (December 2022). "Barbara Barungi: Chairperson of Access Bank Kenya". Access Bank Kenya (ABK). Retrieved 20 June 2024.
  2. 1 2 3 4 5 FAR (9 December 2022). "Access Bank Kenya Appoints Barbara Barungi, First Female Board Chair". Frontier Africa Reports (FAR). Retrieved 20 June 2024.
  3. 1 2 3 Muindi (9 December 2022). "Access Bank Kenya Appoints Barbara Barungi, First Female Board Chair". Kushoko.com. Retrieved 20 June 2024.
  4. "Barbara Barungi: Managing Partner, Imara Africa". DLA Piper. 2022. Retrieved 20 June 2024.
  5. "Nine Women Who Qualify For BoU Top Job". 8 March 2022. Retrieved 20 June 2024.

Ebiyungo eby’ebweru

[kyusa | kolera mu edit source]