Basil Tuma
| Ekikula | musajja | |
|---|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Uganda, Malta | |
| Erinnya eriweereddwa | Basil | |
| Erinnya lya famire | Tuma | |
| Yazaalibwa nga | 24 Gwakuna(Kafuumuulampawu) 2005 | |
| Gy'azaalwa | Uganda | |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza | |
| Omulimu | omusambi w′omupiira | |
| Omuzannyo | omupiira ogw'ebigere | |
Basil Tenywa Tuma (yazaalibwa 24 Ogwokuna 2005) muzannyi wa mupiira ogw'ekikugu era azannya ng'omuwuwuttanyi mu kiraabu ya EFL League One eya Reading. Yazaalibwa mu Uganda, azannyira ttiimu y’eggwanga eya Malta.
Obuto bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Tuma yasomera ku Eton College n’amalira mu kyokusatu mu misinde gya Junior Boys egya mmita 100 mu mpaka za ESAA English Schools Track & Field Championships eza 2019 n’obutikitiki 11.23.[1]
Okuzannyira kiraabu
[kyusa | kolera mu edit source]Reading
[kyusa | kolera mu edit source]Tuma yasooka okuzannyira Reading mu mupiira gwe yakubwa Stevenage ggoolo 2-1 mu kikopo kya EFL nga 9 Ogwomunaana 2022, n'azannya eddakiika 55 nga tannakyusibwa kuteekayo Jahmari Clarke.[2]
Nga 2 Ogwomusanvu 2025, Reading yalangirira nti Tuma yassa omukono ku ndagaano empya ey'omwaka gumu ne ttiimu.[3]
Nga 16 Ogwekkumineebiri 2025, Reading yalangirira nti Tuma y'egasse ku Slough Town ku bbanja okutuusa nga 10 Ogwoluberyeberye 2026.[4][5] Nga 13 Ogwoluberyeberye 2026 ddiiru ya Tuma eya looni yaddamu okwongerwayo, ku mulundi guno okutuusa mu makkati g'omwezi Gwokusatu 2026.[6] Tuma yateeba ggoolo ye esooka mu Slough nga 31 Ogwoluberyeberye bwe baali battunka ne Chelmsford.[7] Nga 11 Ogwokutaano 2026, Reading yalangirira nti Tuma agenda kuteebwa okuva mu kiraabu ng'endagaano ye ewedde mu Gwomukaaga 2026.[8]
Okuzannya ku ddaala ly'ensi yonna
[kyusa | kolera mu edit source]Tuma yakiikirira Uganda mu mpaka za CECAFA U-17 Championship eza 2020, we bawangula Tanzania ku fayinolo.[9] Olwo Tuma yayitibwa ku ttiimu ya Malta U19 mu Gwomwenda 2022.[10] Tuma yasooka mu ttiimu ya Malta U21 bwe yakubwa Spain ggoolo 6-0 nga 8 Ogwomwenda 2023.[11]
Mu Gwekkumi 2024, Tuma yayitibwa ku ttiimu y’ensi yonna ey’abakulu eya Malta omulundi gwe ogwasooka, olw’emipiira gye baazannya Turkmenistan ne Moldova.[12] Oluvannyuma lw'omupiira gwabwe ne Turkmenistan okusazibwamu olw'ensonga z'entambula Turkmenistan ze yafuna, [13] Tuma yasooka okuzannyira Malta nga battunka ne Moldova nga 13 Ogwekkumi 2024, y'ajja ng'omuzannyi avudde ku katebe mu kitundu ky'omuzannyo n'awangula peneti eyawangula omupiira.[14]
Ebibalo by’okuzannya
[kyusa | kolera mu edit source]| Kiraabu | Ebiro | Liigi | Ekikopo kya FA | Ekikopo kya EFL | Lala | Okugatta | ||||||
|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|
| Okugabanya | Apps | Goolo | Apps | Goolo | Apps | Goolo | Apps | Goolo | Apps | Goolo | ||
| Reading | 2022–23 [15] | Championship | 0 | 0 | 0 | 0 | 1 | 0 | – | 1 | 0 | |
| 2023–24 [15] | League One | 2 | 0 | 0 | 0 | 2 | 0 | – | 4 | 0 | ||
| 2024–25 [15] | League One | 4 | 0 | 2 | 0 | 0 | 0 | 1 | 0 | 7 | 0 | |
| 2025–26 [15] | League One | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 1 | 0 | 1 | 0 | |
| Okugatta | 6 | 0 | 2 | 0 | 3 | 0 | 2 | 0 | 13 | 0 | ||
| Slough Town (ku bbanja) . | 2025–26 [16] | National League South | 12 | 3 | 0 | 0 | — | 0 | 0 | 12 | 3 | |
| Omugatte gw’emirimu | 18 | 3 | 2 | 0 | 3 | 0 | 2 | 0 | 25 | 3 | ||
Ebitiibwa
[kyusa | kolera mu edit source]Uganda U17
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "New Balance ESAA English Schools Track & Field Championships" (PDF). esaa.net. English Schools' Athletics Championships. Archived from the original (PDF) on 24 January 2022. Retrieved 15 August 2022.
- ↑ "SNAPS FROM CARABAO CUP MATCH..." readingfc.co.uk. Reading F.C. 10 August 2022. Retrieved 10 August 2022.
- ↑ "Young Royals commit to new deals". readingfc.co.uk. Reading F.C. 2 July 2025. Retrieved 2 July 2025.
- ↑ "Borgnis and Basil Join Slough". www.readingfc.co.uk. 16 December 2025. Retrieved 16 December 2025.
- ↑ "Rebels sign Basil Tuma on loan". sloughtownfc.com. Slough Town F.C. 16 December 2025. Retrieved 17 December 2025.
- ↑ "Borgnis and Basil Remain with Slough Town". readingfc.co.uk. Reading F.C. 13 January 2026. Retrieved 13 January 2026.
- ↑ "Interview: Basil Tuma on Chelmsford win". sloughtownfc.com. Slough Town F.C. 31 January 2026. Retrieved 2 February 2026.
- ↑ "Released and Retained List 2026: Under-21s". readingfc.co.uk. Reading F.C. 11 May 2026. Retrieved 11 May 2026.
- 1 2 "Year 11 Basil Tuma Plays for Uganda's U-17 Football Squad". etoncollege.com. Cite error: Invalid
<ref>tag; name "CECAFA Champions" defined multiple times with different content. - ↑ Talk Reading [@TalkReading] (23 September 2022). "Congratulations to @basil_tuma on his first call up to the Malta U19 squads" (Tweet) – via Twitter.
- ↑ "Malta U21 0-6 Spain U21". soccer24.com. Soccer24. 9 September 2023. Retrieved 9 September 2023.
- ↑ "Malta A Team Squad finalised ahead of Upcoming Matches". mfa.com.mt. Malta Football Association. 7 October 2024. Retrieved 14 October 2024.
- ↑ "International friendly match against Turkmenistan called off". mfa.com.mt. Malta Football Association. 8 October 2024. Retrieved 10 October 2024.
- ↑ "Teuma's last-gasp penalty earns Malta crucial win over Moldova". sport.timesofmalta.com. Times of Malta. 13 October 2024. Retrieved 14 October 2024.
- 1 2 3 4 "Games played by Basil Tuma in 2022/2023". Soccerbase. Centurycomm. Retrieved 20 June 2022.
- ↑ "Basil Tuma". sloughtownfc.com. Retrieved 17 December 2025.
Ebijuliziddwa wabweru wa Wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- Basil Tuma at Soccerway