Jump to content

Beatrice Ayikoru

Bisangiddwa ku Wikipedia
Beatrice Ayikoru
omuntu
Ekikulamukyala Kyusa
Ensi y’obutuuzeYuganda Kyusa
OmukozesaWorld Athletics, Uganda Olympic Committee, Confederation of African Athletics, Uganda Athletics Federation Kyusa

Beatrice Patience Ayikoru munnayuganda addukanya emisinde, eyali omuddusi era mukozi nnyo mu kutumbula emizannyo.[1] [2] Ye yafuuka Munnayuganda eyasooka okuweereza ku lukiiko lw'ensi yonna olw'ebyemizannyo.[2]

Ayikoru akola nga ssaabawandiisi wa Uganda Athletics Federation (UAF), omuwandiisi omukulu ow'akakiiko ka Uganda Olympic Committee, omumyuka wa dayirekita w'enkulaakulana ku Confederation of African Athletics.[2] [3] [4]

Yakola ng’omumyuka wa pulezidenti owookubiri mu kakiiko ka Uganda Olympic Committee okuva mu 2017 okutuuka mu 2020, n’alondebwa ku lukiiko lwa IAAF olw’omulundi ogwa 52 e Doha era yali ku kakiiko ka IAAF World Cross Country Committee, mu kiseera kino akamanyiddwa nga World Athletics.[2] Omulimu gwa Ayikoru mu bukulembeze bw'emizannyo gubaddemu okulwanirira abakyala bangi mu mirimu gy'obukulembeze mu mizannyo naddala mu Uganda.[1] [3]

Ayikoru yaweereza ng’omuwanika w’ekibiina ekifuga emizannyo ekya Uganda Athletics Federation mu 1995, omuyambi w’omuwandiisi omukulu mu kibiina ekifuga emisinde ekya Uganda Athletics Federation okuva mu 1997 okutuuka mu 2005, Ssentebe era mmemba w’akakiiko k’abakyala aka Uganda Olympic Committee 2001 – 2009, omumyuka wa pulezidenti owookubiri, ku kakiiko ka Uganda Olympic Committee (UOC) okuva mu 2017 okutuuka mu 2021. [1]

Ayikoru yawereeza ng'omuwandiisi w’akakiiko akategesi mu mpaka za IAAF World Cross Country Kampala mu 2017, mmemba ku kakiiko ka IAAF Cross Country Committee ng’omukiise omukyala, yaweereza nga mmemba w’olukiiko lw’empaka z’emisinde gy’ensi yonna (WA) okuva mu 2019 okutuuka mu 2023, mmemba w’abalamuzi mu mpaka za IAAF World U-18 Athletics Championships era mmemba ku kakiiko k'ensi yonna aka World Athletics Gender Leadership Task Force.[5] [3] [6] Ye yali Chef de Mission mu mizannyo gya Commonwealth egya XXI e Gold Coast . [7] Ye yali Chef de Mission mu mizannyo gya Olympics egya 2020 mu Tokyo.[7]

Abadde omuwandiisi omukulu mu kibiina ekifuga emisinde ekya Uganda Athletics Federation okuva mu 2005 n’okutuusa kati (okutuuka mu 2025), omuwandiisi omukulu ow’akakiiko ka Uganda Olympic Committee (UOC) n’ekibiina ekigatta emizannyo ekya Commonwealth Games Association Uganda okuva mu 2021 n’okutuusa kati (okutuuka mu 2025). [7] [4] [8]

Omulimu gw’emizannyo

[kyusa | kolera mu edit source]

Ayikoru yali munnabyamizannyo mu misinde gya mmita 3000, 5000, 10000 ku nguudo, n'emisinde mubuna byalo, n’enkola ya IAAF Level I Coach education and certification System, era emanyiddwa nga World Athletics Coach Education and Certification System (CECS). [1] [9]

Engule, okusiimibwa n’ebituukiddwaako

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebijuziliddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 4 5 "New Vision - Latest News". www.newvision.co.ug. Retrieved 2025-04-24. Cite error: Invalid <ref> tag; name ":0" defined multiple times with different content.
  2. 1 2 3 4 "Ayikoru, Tashobya raise the bar". Monitor (in Lungereza). 2020-07-21. Retrieved 2025-04-24. Cite error: Invalid <ref> tag; name ":1" defined multiple times with different content.
  3. 1 2 3 "Ayikoru advocates for more women in leadership". Monitor (in Lungereza). 2023-03-15. Archived from the original on 2023-11-30. Retrieved 2025-04-24. Cite error: Invalid <ref> tag; name ":3" defined multiple times with different content.
  4. 1 2 "UAF Gears Up for National Cross Country Championship". Uganda Radionetwork (in Lungereza). Retrieved 2025-04-24. Cite error: Invalid <ref> tag; name ":2" defined multiple times with different content.
  5. "Who will save Kenya, Uganda sprinters?". Daily Nation (in Lungereza). 2020-07-04. Retrieved 2025-04-24.
  6. "Busy UAF waits on better Namboole tartan". Monitor (in Lungereza). 2024-01-18. Retrieved 2025-04-24.
  7. 1 2 3 4 5 "Ms Beatrice Ayikoru – Uganda Olympic Committee | Commonwealth Games Uganda" (in American English). Archived from the original on 2025-04-26. Retrieved 2025-04-24. Cite error: Invalid <ref> tag; name ":4" defined multiple times with different content.
  8. "Sprints remain elusive for region". The EastAfrican (in Lungereza). 2020-07-06. Retrieved 2025-04-24.
  9. "Athletics coaches complete IAAF course". New Vision. Retrieved 2025-04-24.
  10. "14 years on, Sebei gets its biggest wish". Monitor (in Lungereza). 2024-12-13. Archived from the original on 2025-01-24. Retrieved 2025-04-24.