Bendera ya Uganda
| Inception | 9 Gwakkumi(Mukulukusabitungotungo) 1962 | |
|---|---|---|
| Egwanga | Uganda | |
| Applies to jurisdiction | Uganda | |
| Aspect ratio (W:H) | 3:2 | |
| Color | black, yellow, red, white | |
| Depicts | Balearica regulorum, field, roundel | |
Bendera y'eggwanga lya Uganda yassibwawo nga 9 Oggwekkumi 1962, olunaku eggwanga lwe lyafuna obwetwaze okuva ku Bungereza. Erina emisitale mukaaga egyenkanankana, okuva waggulu okutuuka wansi, omiddugavu, kyenvu, omumyufu, omiddugavu, kyenvu, omumyufu, n'ekyasaako ekyeru ekirimu crested crane wakati. Etteeka lya National Flag and Armorial Ensigns Act lirambika enkozesa ya bendera eno mu ngeri ekugirwa.
Okuva mu 1914 okutuuka mu gwokusatu gwa 1962, abafuzi b'amatwale mu Uganda nga Bangereza bawanika Bendera yabwe eyali eyitibwa Blue Ensign eyaliko akabonero kabwe okwali ne crested crane. Bendera eyasooka okuteesebwako okubeera eya Uganda eyeetongodde yalimu emisittale essatu egyesimbye nga kwaliko kiragala, bbulu ne kiragala nga ggyawuddwamu omusittale gwa kyenvu omutonotono nga wakati waliwo ekifananyi kya crested crane mu kyenvu. Wabula enkyukakyuka mu gavumenti nga tennafuna bwetwaze yaviirako bendera eriwo kati okutwalibwa mu kifo ky’ekyo.
Endabika n’obubonero
[kyusa | kolera mu edit source]
Ekitundu ekisooka eky’enteekateeka ey'okubiri ey’etteeka lya Uganda erya National Flag and Armorial Ensigns Act (1962) kiraga engeri bendera y’eggwanga gye yakolebwamu. Okuva waggulu okutuuka wansi, emisittale mukaaga egyenkanankana okuli omuddugavu, kyenvu, omumyufu, omuddugavu, kyenvu, omumyufu. Wakati waliwo saako enjeru ng'erimu crested crane.[1] Okusinziira ku musawo w’ebiwuka Omumerika Whitney Smith, omuddugavu kabonero akalaga Abannayuganda, kyenvu kabonero kalaga musana, ate omumyufu kabonero akalaga obwa sseruganda.[2]Crested crane kye kinyonyi ky’eggwanga Uganda era kabonero akalaga emikisa, okuwangaala, n’obugagga mu bantu ba kasangwawo Abaganda (Buganda).[3]
Okuwera okukozesa
[kyusa | kolera mu edit source]Ennyingo eyokusatu n'eyokutaano mu tteeka lya Uganda erya National Flag and Armorial Ensigns Act ziteekawo ebibonerezo mu mateeka eri abantu abakozesa obubi bendera y’eggwanga. Okuvuma bendera mu bugenderevu ng'okozesa ebigambo, mu buwandiike oba okuyita mu bikolwa kibonerezebwa ng'abakikoze asibibwa emyaka ebiri. Abagwira abasingiddwa omusango guno bagobebwa mu Uganda ne bazibwayo ewabwe obutaddamu kuyingira Uganda.[1] Bendera y'eggwanga n'ebintu ebikoleddwa mu bugenderevu okugifaanana ensimbi tekikirizibwa kukozesebwa mu by'obusuubuzi nga tewali lukusa okuva eri Minisita w'ebyamateeka ne Ssemateeka . Omuntu yenna omusango guno gwe gusinze ayinza okusasula engassi ya bubonero bwa ssente kkumi na bbiri ( USh 240,000 ), okusibibwa okumala emyezi mukaaga, oba byombi. Minisita alina obusobozi okussaawo amateeka amalala agakwata ku nkozesa ya bendera, omuli n’okuwa layisinsi okukozesa bendera eno mu by’obusuubuzi.[1]
Ebyafaayo
[kyusa | kolera mu edit source]Ekitongole kya Bungereza ekivunanyizibwa ku matwale kyawanika bendera yakyo Blue Ensign ne badge yaakyo ey'amatwale okuva mu 1914 okutuuka mu 1962.[4] Gavana wa Uganda naye yalina omutindo ogwaliko Union Jack nga mulimu bbaagi mu makkati.[5] Newankubadde Obwakabaka bwa Buganda obutono bwalina bendera y’eggwanga nga tebunnafugibwa matwale, Abangereza tebaayagala kukozesa bubonero bwonna obwaliwo nga busibiddwa ku kitundu ekimu n’olwekyo ne balondawo crested crane okubeera ku badge.[2]
Crested crane yasigala ng'akabonero ke eggwanga akamanyiddwa ennyo nga Uganda esemberera okufuna obwetwaze mu 1962. Mu gwokusatu gw’omwaka ogwo, akakiiko akaakubirizibwa omukugu mu by’engigiriza Senteza Kajubi kaateesa ku bendera ey’ekiseera ng’eriko emisittale essatu egyesimbye nga gya kiragala, bbulu ne kiragala nga gyawuddwamu obusittale obutono obwa kyenvu, nga wakati waliwo saako ya kyenvu ng'erimu Crested crane.[2][6] Kiragala yali akiikirira ebimera bya Uganda, bbululu amazzi gaayo, ate kyenvu yali yakiikirira embeera y’obudde obwomusana n'enkuba.[6] Langi zino zonna zaali zifanana ng'ezekibiina ki Democratic Party ekyali mu buyinza mu kiseera ekyo, kyokka bendera ey’ekiseera eno yagyibwawo oluvanyuma lw’ekibiina kya Uganda People’s Congress (UPC) okuwangula ekibiina kya Democratic Party mu kulonda kw’eggwanga okwaliwo nga 25 ogwokuna.[2] Okusalawo kuno kutera okuva ku nkyukakyuka mu gavumenti, nga bendera ya UPC eyasooka ye yasiimibwa era yeyayisibwa mu bwetwaze.[2][6] Wabula okusinziira ku Minisita w’ebyamateeka mu kiseera ekyo Grace Ibingira, bendera ey’ekiseera yagaanibwa olw'ebirowooza by’abaagikola, Messrs Porter Bros, kubanga nti kiragala yali azikira mangu mu musana ate nga ne bbululu teyali wa Uganda ya njawulo. Ekyavaamu kabineti ya Uganda amangu ago yatondawo akakiiko akatono akakulirwa Ibingira okulonda dizayini empya.[6] Dizayini eyandifuuse bendera ya Uganda yasooka kukkirizibwa kakiiko ako, oluvannyuma Kabineti n’abakulira amatwale ga Bungereza, era n’eyisibwa newanikibwa nga Uganda yeefuga nga 9 Ogwekkumi.[2][6]
Wadde nga batera okugamba nti Ibingira ye yakola bendera, waliyo abantu abalala bangi abavuddeyo nga bagamba nti be bayiiya dizayini. Mu 2007, Semei Nyai Matia, eyawummula obusomesa okuva mu bukiikakkono bwa Maracha District, yavaayo mu lujjudde nagamba nti yawaayo dizayini eyo mugwokutaano gwa 1961 era n’asaba USh akawumbi kamu n’ekitundu, ekizimbe ky’ebyobusuubuzi, ne loole ng’okumuliyirira omulimu gwe. Kajubi yamwanukula nti, okumutereezamu, tewali mpeera yonna yali eweereddwa ku lwa dizayini eyo.[6]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 "National Flag and Armorial Ensigns Act". ULII. Uganda Legal Information Institute. 31 December 2023 [9 October 1962]. Retrieved 21 July 2026.
- 1 2 3 4 5 6 Smith, Whitney (16 February 2001). "Flag of Uganda". Encyclopædia Britannica (in Lungereza). Encyclopædia Britannica, Inc. Retrieved 20 July 2026.
- ↑ Muia, Wycliffe (15 February 2025). "Why Uganda's iconic crested crane faces extinction". BBC News. Retrieved 21 July 2026.
- ↑ Kasule, Joseph (22 June 2022). Historical Dictionary of Uganda (in Lungereza). Bloomsbury Publishing. p. 77. ISBN 979-8-7651-7328-2. Retrieved 21 July 2026.
- ↑ Flags, badges & arms of His Majesty's dominions beyond the seas and of territories under His Majesty's protection (in Lungereza). Vol. 1. Colonial Office of Great Britain. 1932. pp. vii, 19. Retrieved 20 July 2026.
- 1 2 3 4 5 6 "Intrigue and manoeuvres in designing the Uganda flag". New Vision. 4 July 2012. Retrieved 21 July 2026.
Ebijuliziddwa wabweru wa Wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- Uganda at Flags of the World