Benedicta Nanyonga
| Ekikula | mukyala |
|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Yuganda |
| Erinnya eriweereddwa | Benedicta |
| Gy'azaalwa | Kampala |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza |
| Omulimu | executive director |
Benedicta Nanyonga Munnayuganda omulwanirizi w'eddembe ly'obuntu, era akulira ekibiina ki Kinawataka Women's Initiatives (KIWOI), ekisangibwa mu Kinawataka, mu Ggombolola ly'e Nakawa, Kampala.[1] Yasiimibwa ekitongole kya Century Entrepreneurship Development Agency International (CEDA) olw’omulimu gwe yakola ng’ekyokulabirako eri abavubuka abakyala era yayogerwako mu bakyala 40 mu Uganda abakola enjawulo mu bitundu byabwe. Alina n’amaka g’abaana mu mugotteko gw’e Kinawataka.[1][2]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Benedicta Nanyonga yakwatibwa mu lutambi lwa Aljazeera olw’omulimu gwe yakola mu kuzimba obukugu n’okukola emirimu gy’emikono eri abantu.[3] Agabye obukugu bwe era y'etaba mu kutendekebwa, okubuulirira n’emisomo mu kugabana olugendo lwe olw’okutandikawo emirimu n’okubuulirira abavubuka abakyala abagenda okutandikawo emirimu ku kuddamu okukozesa obuseke n’okubikozesa okukola ensawo z’omu ngalo era n’afuna n’ekirabo ky’ekibiina ky’Amawanga Amagatte ekya Habitat Award ng’okusiima olw’omulimu gwe yakola mu butonde bw’ensi.[4][5]
Yafulumira mu lupapula lwa The East African Magazine olw’ebintu by’akola mu butonde bw’ensi ng’addamu okukozesa obuseke n’okukozesa ebintu ebiri mu kitundu okutaasa obutonde bw’ensi ng’ayita mu kutandikawo emirimu. Enteekateeka ye, ewagira amaka okweyimirizaawo n’obukugu bwe bayiga nga bayita mu kuddamu okukola ebintu.[6][7][8]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 "» KIWOI Executive Director Recognized in Top 40 Most Inspirational Women in Uganda | The Advocacy Project". www.advocacynet.org. Retrieved 2026-03-26.
- ↑ The Advocacy Project (2011-09-03). KIWOI Children Perfomance [sic]. Retrieved 2026-03-26.
- ↑ "Ugandan Women Mean Business". www.aljazeera.com (in Lungereza). 2013-10-01. Retrieved 2026-03-26.
- ↑ "Reaping from trashed straws". Monitor (in Lungereza). 2021-01-07. Retrieved 2026-03-26.
- ↑ "Habitat Scroll of Honour Award winners announced for 2009". Cities Alliance (in Lungereza). Retrieved 2026-03-26.
- ↑ "fs-37 – African Global Networks". africangn.net. Retrieved 2026-03-26.
- ↑ "The inspirational women of Uganda - The EastAfrican". www.theeastafrican.co.ke. Retrieved 2026-03-26.
- ↑ "Recycling scrap for cash". Monitor (in Lungereza). 2021-01-01. Retrieved 2026-03-26.