Jump to content

Benjamin Kiplagat

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Benjamin Kiplagat (4 Ogwokusatu 1989 – 31 Ogwekkumineebiri 2023) yali muddusi wa Uganda nga yeekwata kya misinde gya mita 3000 egy'okudduka emisinde egirimu ebiziyiza. [1]

Kiplagat yatandika emisinde nga agoberera obuwanguzi bwa Boniface Kiprop, nga ava ku kyalo kye kimu Kiplagat gye yali. Mu mpaka z’ensi yonna ez’abato mu 2004, Yatandikira mu kuvuganya mu mmita 10,000, kyokka ku magezi g’omutendesi we, yakendeezaako nadda ku mmita 1500 ne 5000. [1]

Kiplagat yasooka okwetaba mu mpaka z'ensi yonna mu mpaka za World Cross Country Championship eza 2006, bwe yayitiramu mu kifo kyomukaaga mu mpaka za Uganda eza Junior Cross Country Championships. Omwaka ogwo era yayitamu okugenda mu mpaka z’ensi yonna ez’abato. Eyo, yateekawo likodi empya ey’eggwanga ey’abato eya 8:35.77, oluvannyuma nakka nadda ku 8:34.14 ku fayinolo, era yamalira mu kyamukaaga. [1]

Mu 2008, Kiplagat yamalira mu kyakuna mu mpaka z’ensi yonna eza Cross Country Championships. Omwaka ogwo, yakendeeza likodi ya Uganda bwe yakka n’atuuka ku ddakiika 8:16.06 n’oluvannyuma 8:14.29 nga tannaba kumalira mu kyakubiri mu mpaka z’ensi yonna ez’abato eza World Junior Championships. [1]

Sizoni ya Kiplagat eya 2009 yataataaganyizibwa omusujja gw'ensiri n'ogwomulubuto oba typhoid, kyokka era naasobola okwongera okukkakkanya likodi y’eggwanga okutuuka ku ddakiika 8:12.98. Yaddamu okukwatibwa omusujja n’ekizimba ku kigere mu 2010, kyokka n’addamu okukkakkanya likodi ya Uganda okutuuka ku 8:03.81. Yamalira mu kyakuna mu mpaka za Commonwealth ezaaliwo mu 2010. [1]

Kiplagat kigambibwa nti yafumitibwa ebiso naafa, oluvannyuma lw’omulambo gwe okusangibwa mu mmotoka nga 31 Ogwekkumineebiri 2023, okumpi ne Eldoret mu Kenya. [2] [3] Oluvannyuma abasajja babiri baakwatibwa nga bateeberezebwa okuba naakakwate ku ettemu eryo; omu ku bo yalina ekissi ekyateeberezebwa okuba ekyakozesebwa ku muntu ono. [4]

Empaka z’ensi yonna ze yalimu

[kyusa | kolera mu edit source]
Representing Uganda Yuganda
2006 World Cross Country Championships Fukuoka, Japan 50th Short race (4 km) 11:31
World Junior Championships Beijing, China 6th 3,000 m st 8:34.14
2007 World Cross Country Championships Mombasa, Kenya 5th Junior race (8 km) 24:31
All-Africa Games Algiers, Algeria 7th 3,000 m st 8:34.83
World Championships Osaka, Japan 28th (h) 3,000 m st 8:40.65
2008 World Cross Country Championships Edinburgh, United Kingdom 4th Junior race (7.905 km) 22:43
World Junior Championships Bydgoszcz, Poland 2nd 3,000 m st 8:19.24
Olympic Games Beijing, China 9th 3,000 m st 8:20.27
2009 World Championships Berlin, Germany 11th 3,000 m st 8:17.82
2010 African Championships Nairobi, Kenya 5th 3,000 m st 8:32.03
Commonwealth Games Delhi, India 4th 3,000 m st 8:24.15
2011 World Championships Daegu, South Korea 10th 3,000 m st 8:22.21
2012 African Championships Porto Novo, Benin 3rd 3,000 m st 8:18.73
Olympic Games London, United Kingdom 6th (h) 3,000 m st 8:18.44[lower-alpha 1]
2013 World Championships Moscow, Russia 14th 3,000 m st 8:31.09
2015 World Championships Beijing, China 31st (h) 3,000 m st 8:54.46
2016 Olympic Games Rio de Janeiro, Brazil 19th (h) 3000 m st 8:30.76
2019 World Championships Doha, Qatar 18th (h) 3000 m st 8:24.44

Mweyasinga okukola obulungi

[kyusa | kolera mu edit source]
  • mmita 1500 – 3:38.86 (Nijmegen 2009).
  • mmita 3000 – 7:46.50 (Dakar 2010)
  • 5000 m – 13:22.67 (Kassel 2007).
  • mmita 10,000 – 29:03.1 (Bugembe 2006)
  • Emisinde gya mmita 2000 – 5:41.1 (Nairobi 2005)
  • Emisinde gya mmita 3000 – 8:03.81 (Lausanne 2010)

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]

 

  1. Disqualified in the final
Cite error: <ref> tags exist for a group named "lower-alpha", but no corresponding <references group="lower-alpha"/> tag was found