Benon Mutambi
Benon Mugisha Mutambi munnayuganda omukugu mu by’enfuna era omukozi wa gavumenti, abadde muwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule y'ensonga z'omunda mu Uganda okuva mu Gwekkuminebiri 2016. [1] [2] Nga tannalondebwa mu minisitule y’ensonga z’omunda mu ggwanga, yali akulira ekitongole kya Electricity Regulatory Authority (ERA), ekitongole kya gavumenti ekivunaanyizibwa ku kulungamya emisolo egiweebwa ku masannyalaze mu Uganda. [3] [4]
Eby'abyayita n’obuyigirize
[kyusa | kolera mu edit source]Yasomera mu yunivasite y’e Makerere, n’atikkirwa diguli eyookubiri mu by’enfuna n’ebibalo. Diguli ye ey'okubiri mu bya Sayansi yagifunira mu yunivasite y'e Zimbabwe . Era alina degree mu by’obufirosoofo mu by’enfuna, eyamuweebwa yunivasite y’e Makerere. [3]
Omulimu
[kyusa | kolera mu edit source]Emabegako yasomesa eby'enfuna n'ebibalo ku mutendera gwa yunivasite mu Uganda. Yakolera mu Bank ya Uganda enkulu okumala emyaka mwenda, mu bitundu by'enkola y'ensimbi, enkola z'ebitongole eby'ebweru, n'okwegatta kw'ebitundu. Neyeegatta ku ERA mu 2004. [3]
Okuva mu 2004 okutuuka mu 2011, yakola ng'akulira okulungamya eby'enfuna mu ERA. Mu 2011, yalondebwa nga Senkulu w' ekitongole ki Electricity Regulatory Authority (ERA) mu Uganda. [3] [5] [6] [7]
Mu Gwekkuminebiri 2016, Dr. Mutambi yalondebwa okuba Omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule y’ensonga z’omunda mu Uganda, era mu kitongole kya Electricity Regulatory Authority, yasikizibwa Yinginiya Ziria Tibalwa Waako . [8]
Obuvunaanyizibwa obulala
[kyusa | kolera mu edit source]Dr. Benon M Mutambi mufumbo. [9]
Era laba
[kyusa | kolera mu edit source]Ebiwandiiko ebikozesebwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ http://www.publicnow.com/view/A99A7DB0D264CE306F12BDE3F1F7EAD7BB213058?2017-03-28-07:00:53+01:00-xxx4462Template:Dead link
- ↑ http://www.monitor.co.ug/News/National/Museveni-appoints-Dr-Diana-Atwine-PS-health-ministry/688334-3440772-format-xhtml-83qdbr/index.html
- 1 2 3 4 https://web.archive.org/web/20161011224024/http://africa-energy-forum.com/speaker/benon-m-mutambi
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2017-11-25. Retrieved 2025-08-26.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2025-04-22. Retrieved 2025-08-26.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://www.ugandanconventionuk.org/dr-benon-m-mutambi-ceo-of-electricity-regulatory-authority-uganda-to-join-powerful-speakers-at-the-london-uganda-investment-forum-in-uk-12th-sept-2015/
- ↑ http://www.monitor.co.ug/News/National/688334-3412030-oob8p9/index.html
- ↑ https://www.africa-energy.com/article/ugandan-era-names-new-acting-head
- ↑ http://allafrica.com/stories/201510191969.html