Betty Manyolo
| Ekikula | mukyala |
|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Yuganda |
| Erinnya eriweereddwa | Betty |
| Yazaalibwa nga | 1938 |
| Gy'azaalwa | Kampala |
| Olunaku lwe yafa | 1999 |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza |
| Omulimu | painter |
| Gyeyasomera | Ssettendekero wa Makerere |
Estelle Betty Manyolo (1938 – 1999) yali Munnayuganda, musiizi era mukubi wa bifaananyi. Omulimu gwe gwaluŋŋamizibwa ebifaananyi ebiddugavu n’ebyeru ebyakolebwa Abahima n’ebisiige ebikubibwa ku mayinja ebyaba Nyero mu Buvanjuba bwa Uganda. [1]
Obuto bwe n’obuyigirize
[kyusa | kolera mu edit source]Estella Betty Babirye Nakayemba Manyolo yazaalibwa mu 1938 mu Kampala, Uganda. Amanyiddwa nga Betty Manyolo, yali Muganda, era omu ku baana ekkumi. Erinnya lye ery’awakati erya Babirye liraga nti yali mukulu mu balongo, nga lino lya nnono eriweebwa omulongo omukulu omuwala. Abalongo baatwalibwanga ng’omukisa mu Buganda era ennaku z'oluwummula yazimalanga mu lubiri lwa Ssekabaka Muteesa II, ng'eno abalongo baweebwa ng'obuvunanyizibwa bw'emikolo mu Lubiri.[2] Mukulu we yamwagazisa okusoma okusiiga n'okukuba ebifaananyi.
Manyolo yasomera mu Gayaza High School, n'afuna satifikeeti ya Junior Secondary School mu 1953 ne Overseas School Certificate okuva mu Cambridge University ng'ayita mu ssomero lino mu 1955. Yatikkirwa okuva mu Margaret Trowell School of Fine Art mu Makerere College mu 1960 ne dipulooma mu kukuba n'okusiiga ebifaananyi.
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Omulimu gwa Manyolo gwasikirizibwa nnyo obuwangwa n’ennono za Uganda.
Mu 1961, Cecil Todd okuva mu Ssettendekero wa Makerere yatwala ebimu ku bintu bya Manyolo e New York, era ebintu bye ne byongerwa ku bisiige ebyali biragibwa mu Harmon Foundation, okukkakkana nga biweereddwayo eri Fisk University mu 1991.
Manyolo yakuba ebifaananyi ebyakozesebwa mu kitabo kya Awo olwatuuka mu 1961.[3] Oluvannyuma yakola ng’omusomesa mu Abidjan, Ivory Coast era n’agenda e Bufalansa, ng’ayize okwogera Olufaransa.
Wakati wa 1973 ne 1977, yakola ng’omukubi w'ebifaananyi mu Minisitule ya Uganda ey'ebyobulamu e Entebbe, ng’akola dizayini y’ebifaananyi eri ekitongole ky’ebyobulamu n’obuyonjo. Oluvannyuma lw'okudduka obutabanguko obwali bubaluseewo mu byobufuzi, yakola nga kalabaalaba w'ebifaananyi ebikubibwa mu kitongole kya Nigerian Television Authority okutuusa mu 1989, nga tannadda mu Uganda.
Ebimu ku bifaananyi bye ebya londebwa
[kyusa | kolera mu edit source]Ebimukwatako eby'omunda
[kyusa | kolera mu edit source]Mu myaka gya 1960, Betty Manyolo yafumbirwa omusajja Omunigeria n’atwala erinnya lye Sangowawa. Famire yaabwe yagenda e Nigeria, gye yakolera ng’omusomesa, nga tannagenda mu Ivory Coast. Yaddamu okubeera mu Uganda okuva mu 1973 okutuuka mu 1977, oluvannyuma naddayo e Nigeria nga Uganda yeeyongedde okubaamu obutabanguko wansi w’obwannakyemalira Idi Amin. Manyolo yakomawo mu Uganda omulundi omulala mu 1989.
Betty Manyolo yafa kookolo w’amabeere ku myaka 64 mu 1999. Yaleka abaana bataano n’abazzukulu kkumi.
Emyoleso
[kyusa | kolera mu edit source]Ebiwandiiko bya Manyolo ebiwerako ebya linocut, wamu n’ekifaananyi eky’amafuta, byayolesebwa okuyita mu kitongole kya Harmon Foundation okutandika mu 1961; omulimu gwe era gwateekebwa mu mwoleso gwa Smithsonian Institution Traveling Exhibit of Contemporary African Printmakers okuva mu 1966 okutuuka mu 1968.[8] Okuva mu mwezi Ogwokkumi 2023 okutuuka mu mwezi Gwolubereberye 2024, Cattle People ye (1961) yatekebwa mu African Modernism in America, 1947-67 mu Philips Collection e Washington DC, eyeewolwa okuva mu tterekero lya Fisk University oluvannyuma lw'okuweebwayo okuva mu kitongole kya Harmon Foundation.[9][10]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Foundation, Njabala. "Njabala Foundation & Kampala, Uganda". njabala.com (in Lungereza). Archived from the original on 2025-03-12. Retrieved 2025-01-22.
- ↑ "Estelle Betty Manyolo Sangowawa". AWARE Women artists / Femmes artistes (in American English). Archived from the original on 2025-01-12. Retrieved 2025-01-22.
- ↑ "Awo olwatuuka". Nypl.org. Archived from the original on 5 January 2019. Retrieved 5 January 2019.
- ↑ Harmon Foundation. "African Fable". Harmon Foundation Collection. Archived from the original on 2025-01-09. Retrieved 2025-01-22.
- ↑ "Manyolo Betty Estelle's "Cattle People" (1961): Cattle, Gender, Landscape". Mark Auslander (in Lungereza). 2023-12-27. Archived from the original on 2025-01-22. Retrieved 2025-01-22.
- ↑ Harmon Foundation. "Cattle People". Harmon Foundation Collection.
- ↑ Harmon Foundation. "Death in the Forest". Harmon Foundation Collection.
- ↑ Evelyn S. Brown (1966). Africa's Contemporary Art and Artists: A Review of Creative Activities in Painting, Sculpture, Ceramics, and Crafts of More Than 300 Artists Working in the Modern Industrialized Society of Some of the Countries of Sub-Saharan Africa. Published and distributed by the Division of Social Research and Experimentation] Harmon Foundation.
- ↑ "REVIEW OF AFRICAN MODERNISM IN AMERICA, 1947-1967". Omusana Review (in Lungereza). 2024-02-18. Archived from the original on 2025-01-22. Retrieved 2025-01-22.
- ↑ "The Phillips Collection Presents African Modernism in America, 1947–67 | The Phillips Collection". www.phillipscollection.org (in Lungereza). Archived from the original on 2023-10-01. Retrieved 2025-01-22.