Bibyo



BIBYO ky'ekitabo ekyatongozebwa gavumenti ya Uganda okulambika ennono mu buwangwa obw'enjawula obuli mu Uganda nga essira lisiddwa ku nkola z'obwomwoyo. Ekitabo kino kati kyekikozesebwa nga ekitabo ekitongole ekijulizibwamu abo ab'enzikiriza y'ekinnansi mu Uganda. Ekitabo kyatongozebwa ku lunaku Uganda lweyakuza olunaku l'wobuwangwa mu nsi, nga 26 June 2025 ku National Theatre mu Kampala.[1] Okusinziira ku muwandiisi eyakungaanya ebyafaayo byabajjajjaffe okuva mu bantu b'omubuwangwa obw'enjaulo mu Uganda ne mubitundu bya Afrika ebirala, yategeeza nti ekitabo kino kyakuyamba nnyo okujjukiza abantu bonna byebalina okumanya ebikwata ku bulamu bwabwe nga bwebwatandika okuva mu masooka, nga bwebuli kati ate nga bwebwandibadde mu maaso eyo.
Ebyafaayo by'ekitabo
[kyusa | kolera mu edit source]Mu mwaka gwa 2015, Omulangirizi, Prof. Prince Wasajja Kiwanuka yafulumya ekitabo ekiyitibwa 'Ekubo etuufu eritutuusa eri Omutonzi'. [2]. Ekitabo kyasomebwa abantu bangi kuba kyali kiraga nti buli ggwanga lisobola okutegeera Omutonzi nga liyita mu nnono zaalyo. Era ekitabo ekyo kyali kiraga, nti namadiini gonna getulina wano mu Afrika, nga gaaleetebwa bagwiira, galimu ennono n'ebyafaayo by'obuwangwa bwabwe.
Abamu kubaasoma ekitabo ekyo mwemwali ne Pulezidenti w'eggwanga H.E Yoweri Kaguta Museveni. Yatumya Omulangirizi namusiima olw'ekitabo ekyo. Wabula yamukubiriza agende mu maaso n'okunoonyereza okulaba oba kisoboka okubaayo n'ennambiko eyawamu eyogera ku nnono y'okusinza mu Uganda.
Omulangirizi yatandika okutalaaga ebifo eby'enjawulo ebyennono mu Uganda, omwali Bunyoro, Tooro, Akole, Busoga, Bugisu, Teso, Lango nebirala bingi. Teyakoma okwo wadde nga yali amaze okufuna digiri eyokusatu mu busomesa bw'ennimi, yaddayo okusoma digiri endala mu by'enzikiriza yabaddugavu. Yafuna omukisa okusomesebwa aba Kemetic Orthodoxyera eyo gyeyatandikira okutendekebwa empandiika y'ebitabyo ebitukuvu. (Scripture Writing). Yeegata ku Harvard University mu 2019 nasoma essomo ery'obulangirizi n'okubonesebwa (PredictionX: Omens, Oracle and Prophecies). Bweyalimaliriza natandika okuyitibwa Omulangirizi.
Ebikwata ku kitabo Bibyo
[kyusa | kolera mu edit source]BIBYO kitegeeza ebyo byonna ebikukwatako nga bisibuka mu nsi Omutonzi gyeyakutonderamu. Ekigambo kino kiri mu lulimi Luganda nga ezimu ku nnimi ennansi ate nga lwelulimi lw'omuwandiisi.
Ekitabo kigenderedde okuyamba abantu ba Uganda ne Africa okujjukira ebyafaayo byabwe ebyataataaganyizibwa ennyo okuva omuzungu lweyajja ku lukalu luno. Byetuyiga mu kitabo kino bituyamba okukuuma obuwangwa nennono zaffe nekitusembeza kumpi n'omutonzi waffe eyatutondera mu buwangwa bwaffe.
Ekitabo era kyagenderera okuyamba okuzaawo enkola okwasimbibwa Enzikiriza yaffe ey'ekinnansi nga kisoosoowaza empisa n'obuntubulamu.
Ekitabo kino akyakaziddwako Endagamwoyo kirimu Ebitabo ebikulu 7 (musanvu)
Ebitabo ebiri mu Bibyo
[kyusa | kolera mu edit source]Ekitabo ky’entandikwa Kyogera ku ntandikwa y'obulamu bwonna ku nsi – okuva ku migga,omukka, omuliro, ensozi, abantu n’ettaka. Amakulu g'obulongo nga; obulamu n'okufa, ekitangaala n'ekizikiza, obutonde bwabantu; omukazi n'omusajja, ensi n'obwengula. Kirambika bulungi omuntu yenna ayagala okumanya ensibuko n'ebyafaayo ebimukwatako nga omunnansi wa Uganda oba asibuka ku lukalu lwabaddugavu.
Ekitabo ky’Abajjajja Ekitabo kino kitujjukiza bajjajjaffe abasooka – betujja tusikira. Kyogera ku nkolagana yabwe n'omutonzi eyaleetera abamu okukola ebyewunyisa.Muno mulimu abatandika edyo zetusibukamu, abalanzi, abavumbuzi nabalwanyi nnamige.Ekitabo kitujjukiza nti bajjajjaffe tebasanaawo, emyoyo gyabwe giri naffe.
Ekitabo ky’Obwakabaka Kyogera ku nsibuko n'enteekateeka entukuvu eyasibuka abakulembeze abensikirano mu Uganda okugeza mu Bunyoro, Buganda, Busoga, Nkore, Lango, Teso, Bugisu newalala. Kinyonyola okubonaabona bassekabaka nabakulembeze bennono abalala kwebayitamu nga omuzungu aze okuwamba ensi yabwe.
Ekitabo ky’Obutonde n’Ensi Entukuvu Kyogera ku makulu agali mu butonde bwaffe nengeri gyetusobola okutegeeramu Omutonzi waffe nga tusoma obubaka bw'ebitonde ebitwetolodde.Ekitabo kinnyonnyola amakulu g'enjuba, omwezi, emmunyeenye, amazzi, n’emiti - Ensozi, ebiyiriro, ennyanja n'emigga byonna birimu Omwoyo w'Omutonzi.Ekitabo kino kitulaga nti omuntu bwamanya amakulu g'obutonde asituka mu bwamwoyo.
Ekitabo ky’Amagezi n’Empisa Kino kitabo ekirambika ennono z’amagezi eg'ensibo omuli- engero, emizizo, amateeka ku nkolagana yabantu. Kijjayo ennambiko ku nkola ezisimbye ku mazima n'obwenkanya.Ekitabo kino kituyisa mu mikolo emitukuvu egitusembeza ew'omutonzi waffe wamu kulambika essaala.
Ekitabo ky’Obunnabbi n’Okweza Obuggya Kyogera ku bawereza b'omutonzi abafuna omukisa okugabana ku bitone ebyenjawulo; omuli Abaluutansozi, Abaluutanyanja, Ababonesebwa, Abalanzi, Abakongozi, abasawo nabalala. Ekitabo kino era kirondoola abantu ab'enjawulo absituse okusomesa ku mutima gw'obumu mu Africa
Ekitabo ky’Okuzuukuka Ekitabo kino kikubiriza abantu bonna naddala abavubuka n’abaana abato okwewalira ddala enkola engwiira ezaleetebwa abafuzi bamatwale.Ekitabo kiwa abavubuka omukisa okutumbula enkola z'abajjajjabwe okutuukana n'omulembe oguliwo. Kiraga obuzibu obunava mu tekinolgiya singa anatu bagwamu ak'obuntu.
- ↑ "Uganda Traditional Forum launches Bibyo". Daily Express. Kampala. Archived from the original on 2013-07-11. Retrieved 2025-07-08.
{{cite web}}: Check|url=value (help) - ↑ Alphonomee: True Path to God| url=https://web.archive.org/web/20130711041720/http://https/://www.amazon.com/Alphanome-True-Path-God-1/dp/1977654290 Alphanome:True Path God]}}