Jump to content

Biddemu Bazil Mwotta

Bisangiddwa ku Wikipedia
Biddemu Bazil Mwotta
Muunna Uganda ayagal ennyo eby'obulimi, omuyiiya atandikawo ebintu oba enkola okunogera ebizibu eddagala. Yeyali omukulembeze w'abayizi ba ssettendekero wa Makerere owa 82.Ye mutandisi wa Agrodduuka.Yattikkirwa diguli mu busomesa mu 2019 Kyusa Wikidata
Omuntu Kyusa Wikidata
Ekikulamusajja Kyusa Wikidata
Yazaa­lib­wa nga28 Gwakusatu(Mugulansigo) 1994 Kyusa Wikidata
Gy'a­zaal­waUganda Kyusa Wikidata
Gyeya­so­me­raSsettendekero wa Makerere Kyusa Wikidata

Biddemu Bazil Mwotta Munnayuganda, ayagala nnyo ebyobulimi, atondawo emirimu mu bantu, munnabyabufuzi, era musomesa. Bazil ye Mutandisi era akulira kkampuni ya AgroDuuka Uganda Limited. Yali Guild pulezidenti ow’e 82 ku yunivasite y’e Makerere. Olukiiko lwa Guild Representative Council lwe lusinga obukulu bw’abayizi ku yunivasite y’e Makerere. Nga 15th Oggwoluberyeberye, 2019, atwala Yunivasite y’e Makerere yawa Mwotta diguli ya Bachelor of Arts with Education, ng’amalirizza emisomo gye mu ttendekero ly’ebyenjigiriza.

Obuto bwe n’okusoma

[kyusa | kolera mu edit source]

Biddemu Bazil Mwotta yazaalibwa nga 28 Oggwokusattu mu 1994, mu ddwaaliro e Mengo mu Kampala . Maama we ye Nakisitu Florence Biddemu; nga Muganda ow'Ekika kya 'Ffumbe' Taata we ye Bazil Biddemu Muwanga; Muganda ow'ekika ky'e 'Njovu'. Abafumbo bano baagattibwa ku Nkozi Parish e Mpigi mu masekkati ga Uganda .

Mwotta yakulira Kamwokya, emu ku ghetto mu Kampala. wabula olw’engeri nti nnyina yali mulimi, ebiseera ebisinga yabimala mu Katiiti, mu Divizoni y’e Kituntu, mu Disitulikiti y’e Mpigi ng’amuyamba ku faamu. [1]

Mwotta yakulira mu maka g’Abakatuliki abanywevu. Era yaweereza nga ku kituuti mu Holy Trinity Church Kamwokya buto bwe obusinga.

Mwotta yasomera ku Kitante Primary School (2001-2007), St. Joseph's Seminary Nyenga (2008-2010), ne Kasubi Senior Secondary School (2011- 2013) n'afuna satifikeeti ye eya Uganda(O-Level)(2008-2011) ne Uganda Advanced Certificate of Education (A-Level) (2012-2013). Yafuna satifikeeti mu by’okukozesa kompyuta okuva ku yunivasite y’e Makerere mu 2014. Yatikkirwa diguli y'obusomesa okuva ku yunivasite y’e Makerere Kampala . [2]

Bazil Mwota yali Guild pulezidenti ow’omulundi ogwa 82 ku yunivasite y’e Makerere. [3] [4] [5] Olukiiko lwa Guild Representative Council lwe lusinga obukulembeze bw’abayizi ku yunivasite y’e Makerere. Era yalondeddwa okuba omukulembeze w’ekibiina kya Baganda Nkobazambogo Caucus mu lukiiko lwa Guild Representative Council (2015-2016).

Okulima n'okulunda

[kyusa | kolera mu edit source]

Olw’okuba nti yali akulidde mu kitundu nga kya balimi mu Katiiti, Disitulikiti y’e Mpigi, Mawokota, Mwotta yetegerezanga bulungi engeri nnyina, awamu n’abalimi abalala, gye baali baddondolwamu abantu abali babagulako ku nnimiro ku bbeyi eyawansi ddala kyokka nebabitunda bo ku beeyi eyawaggulu. Kino kirina engeri gyekyakosa mu mpolampola embeera z’abalimi bano kubanga kubulimi kwebali besigamye okufuna ensimbi n’okutuusa kati. Mu kaweefube w’okukola ku kusoomoozebwa kuno, Mwotta yatandikawo AgroDuuka, pulogulaamu ennywevu ey’okuddukanya ebiva mu bulimi, ewagirwa enkola ya Global Position System for Mobile communication egatta buterevu abalimi b’omu byalo abatonotono ku baguzi ku katale ku ssente entono ngabayita mu bubaka bwa SMS ne yintaneeti, nga tebannaba kukungula n’oluvannyuma lw’okukungula. [1]

Sofutiweya wa AgroDuuka agasse abalimi okwetoloola Uganda n’abo abayinza okugula [6] [7] era nga asunsudwa mu ngule ez’enjawulo nga Queen’s Young Leaders Award mu 2018 [8] [9] [10] [11] [6] [12]

Ebiwandiiko ebikozeseddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 "Future Thinking: Biddemu Bazil Mwotta on the Internet Economy". July 2, 2018.
  2. ↑ "2016 MAKERERE UNIVERSITY GUILD PRESIDENTIAL DEBATE". Foundation Office Uganda and South Sudan. March 10, 2016.
  3. ↑ "Mwotta elected Makerere University guild president". New Vision.
  4. ↑ "Makerere elects guild boss today". Monitor. February 2, 2021.
  5. ↑ "Why Bazil Mwotta won Makerere guild presidential race". March 12, 2016.
  6. 1 2 "Pulse Achiever: Biddemu Bazil Mwotta's AgroDuuka Innovation Helps Farmers Avoid Exploitation – MTN Pulse". pulse.mtn.co.ug.
  7. ↑ "History Hero BLAST". History Hero BLAST. Archived from the original on 15 April 2023.{{cite web}}: CS1 maint: unfit URL (link)
  8. ↑ "Bazil Mwotta Biddemu | Queen's Young Leaders".
  9. ↑ "Ugandan Youth innovators meet Queen in London". June 28, 2018.
  10. ↑ Lyatuu, Justus. "How Ugandan youthful leaders shared floor with British royalty". The Observer - Uganda.
  11. ↑ "Three Ugandans receive prestigious Queen's Young Leader award". Monitor. January 12, 2021.
  12. ↑ "Queen honours Ugandan youth for innovations". New Vision.