Boaz Ninsiima
Boaz Kasirabo Nisiima yazaalibwa nga 28 Ogwekumineebiri mu 1975 munnasayaansi akola mu by'okutabula eddagala era munnabyabufuzi mu Uganda. Ye Mubaka wa Paalamenti akiikirira Essaza ly'e Kooki [1] era akiikirira NRM, ekibiina ky’eby'obufuzi ekiri mu buyinza mu Uganda. [2] Ali mu kibiina ekigatta abasawo abakugu mu by'obujjanjabi ekya Uganda Medical Lab Association n'Olukiiko lwa Paalamenti olw'etabibwaamu ababaka abali mu kibiina kya NRM era aweereza ku kakiiko akavunaanyizibwa ku Bizimbibwa ebirabibwaako nga kano kali mu Paalamenti ya Uganda ey'ekumi [3] [4]
Ninsiima yaliko omukungu mu bifo gyebatabulira eddagala lmu kitongole kya Infectious Diseases Research Collaboration (IDRC); omuntu eyali avunaanyizibwa ku bikolebwa gyebatabulira eddagala mu Disitulikiti y'e Rakai ; omuyambi w'akulira eyali atwaala webatabulira eddagala mu ddwaliro lya Kasaali Health Centre III era nga yaliko maneja era omumyuuka w'abayambi b'abasawo mu ddwaaliro lya Kibaale Community Clinic. [1]
Obulamu bwe n'eby'enjigiriza
[kyusa | kolera mu edit source]Ninsiima yazaalibwa mu Kooki mu Disitulikiti y’e Rakai nga 28 Ogwekumineebiri mu 1975 mu maka agaali enzikiriza y'Ekanisa ng'era famire y'Abanyankore. Pulayimale yagisomera mu disitulikiti y’ewaabwe e Rakai ku Ahmadiyya Primary School, esomero lya pulayimale eryali ludukanyizibwa gavumenti e Kalungi, gyeyafunira n’afuna satifikeeti ye eya P.7 mu 1993.
Oluvannyuma yasomera Sserinya Secondary School gyeyasomera okuva S.1 paka S.4, n’afuna satifikeeti ya S.4 mu 1997. Mukusoma kwe okwawagulu, yeegatta kutendekero lya School of Medical Laboratory Training mu ddwaaliro e Mengo n’afuna satifikeeti y’abakugu mu by’obusawo ne mubifo gyebatabulira eddagala mu 2007.
Ninsiima yeeyongerayo n'agenda ku Makerere University gye yafunira Dipulooma mu Tekinologiya w'Ebifo gyebatabulira Eddagala mu 2009 ne Diguli mu Saayansi w'Ebifo Gyebatabulira Eddagala mu 2013. [1]
Emirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Entandikwa
[kyusa | kolera mu edit source]Ninsiima yatandika emirimu gye egy’ekikugu mu 2000 ng'omumyuuka w'abayamba abasawo mu ddwaaliro ly'e Kibaale Community Clinic era oluvannyuma n’akuzibwa n’afuulibwa okugenda mu kifo ky'okubeera nga yeeyali adukanya eky'eby'obulamu mu 2005. Mu 2006, yafuna omulimu gw'okubeera omumyuuka w'adukanya ekifo ewatabulirwa eddagala ku ddwaliro lya Kasaali Health Centre III. Mu 2009, yakola nga eyali avunaanyizibwa ku bikolebwa mu kifo ewatabulirwa eddala mu Disitulikiti y’e Rakai n’oluvannyuma n’akola ng'ow'eby'ekikugu mu kifo ewatabirirwa eddagala mu kitongole ekikola ku by'okunoonyereza ku Nddwadde ezikwata abantu nga zireetebwa obuwuka obw'enjawulo mu 2010 okutuusa mu 2014 lwe yalekulira okwegatta ku by'obufuzi eby’okulonda.
Eirimu gy’eby'obufuzi
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 2015, Ninsiima yeegatta ku by'obufuzi eby’okulonda ku tikiti ya National Resistance Movement, n’awangula okulonda kw'ekibiina okwali okwokusunsula eyali agenda okukwata bendera y'ekibiina mu kulonda kwa bonna [5] n’okulonda kwa bonna mu 2016 bw’atyo n’afuuka omubaka wa Paalamenti ey'e 10 eya Pearl of Africa ng’akiikirira Essaza ly'e Kooki mu Disitulikiti y’e Rakai. Mu Paalamenti ey’e 10, Ninsiima aweereza ku Kakiiko Akavunaanyizibwa ku Bizimbibwa Ebirabibwaako era ng'ali ne ku kakiiko ka Paalamenti akeetabibwaamu ababaka b'ekibiina kya NRM. [6] [3] [7]
Mu 2021, yaddamu okulondebwa ku kifo ky’Omubaka wa paalamenti. [8] mu paalamenti ey’e 11, aweereza ku kakiiko akavunaanyizibwa ku Mbalirira y'Ebitabo bya Gavumenti mu Gavumenti eya wakati. [9]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 "Nisiima Boaz". Parliament of Uganda.
- ↑ "Full list of NRM leaders". Vision Group. Archived from the original on 2 June 2017. Retrieved 12 June 2017.
- 1 2 "Kasolo, Mugabi supporters still in celebration". Vision Group. Archived from the original on 7 August 2017. Retrieved 12 June 2017.
- ↑ "Rakai MPs Elect Named after Charged Residents' Raid on EC Offices, Accusing the DRO of Delaying to Announce Winner before Police Prevailed". The Investigator. Archived from the original on 7 August 2017. Retrieved 29 June 2017.
- ↑ "Entalo z'akamyufu zisattiza abanene mu NRM". Bukedde. Archived from the original on 2017-08-07. Retrieved 2025-10-17.
- ↑ ""Government to rebuild houses destroyed by earthquake" – President". The State House of Uganda.
- ↑ "NRM Parliamentary Caucus". NRM Parliamentary Caucus | National Resistance Movement (in Lungereza). Retrieved 2023-02-10.
- ↑ "Ninsiima Boaz Kasirabo - 2021 General Election - Visible Polls". visiblepolls.org (in Lungereza). Retrieved 2023-02-10.
- ↑ "Committee on Public Accounts (Central Government) – Parliament Watch" (in American English). Retrieved 2023-02-10.