Jump to content

Brandon Sebirumbi

Bisangiddwa ku Wikipedia
Brandon Sebirumbi
Omuntu Kyusa Wikidata
Ekikulamusajja Kyusa Wikidata
Ensi y’o­bu­tuu­zeUganda, Amereka Kyusa Wikidata
Country for sportUganda Kyusa Wikidata
Erinnya eri­wee­redd­waBrandon Kyusa Wikidata
Yazaa­lib­wa nga15 Gwakutaano(Muzigo) 1990 Kyusa Wikidata
Gy'a­zaal­waFort Worth Kyusa Wikidata
Native languageLungereza Kyusa Wikidata
Ennimi z'amanyiLungereza Kyusa Wikidata
Omulimubasketball player Kyusa Wikidata
Ekifo ky'a­zan­nya/ obumanyismall forward Kyusa Wikidata
Gyeya­so­me­raCentral High School, Furman University Kyusa Wikidata
Ebbanga ly'a­ko­led­de (oku­tan­di­ka)2012 Kyusa Wikidata
Azannyira mu KiraabuBasket Navarra Club, Furman Paladins men's basketball Kyusa Wikidata
Omuzannyobasketball Kyusa Wikidata
Yeetabye mu2015 FIBA Africa Championship Kyusa Wikidata
League or com­pe­ti­tionNCAA Division I men's basketball Kyusa Wikidata
Height206 centimetre Kyusa Wikidata
Mass230 pound Kyusa Wikidata

Brandon Alan Sebirumbi (yazaalibwa mu Gwakutaano nga 15, 1990) Munnayuganda Omumerika omuzannyi era omukugu mu muzannyo gw'ensero. Yazannyirako ttiimu ya Furman Paladins mu nsero y'amatendekero aga waggulu.

Obulamu bwe obw'omu buto

[kyusa | kolera mu edit source]

Sebirumbi yazaalibwa mu kibuga Fort Worth mu ssaza ly’e Texas era gye yasomera mu Central High School.[1]

Emirimu gye ng'akyasoma

[kyusa | kolera mu edit source]

Sebirumbi yazannyira ttiimu ya Furman Paladins mu nsero y'amatendekero aga waggulu okumala emyaka ena wakati wa 2008 ne 2012.[1] Mu mipiira 123, yakuƞƞaanya obubonero 7.3 mu buli mupiira era yasobola okubbira ttiimu ye omupiira emirundi 3.9 mu buli mupiira.[2]

Emirimu gye egy’ekikugu

[kyusa | kolera mu edit source]

Sebirumbi yazannyirako Sampaense Basket mu Portugal mu 2012–13 bwe yali tannazannyira mu Spain mu sizoni essatu ezaddirira ku ttiimu ya Navarra (2013–14),[3] Cáceres (2014–15), ne Óbila (2015–16). Yagenda e Japan okuzannyira Aomori Wat’s mu sizoni ya 2016–17.[4]

Sebirumbi yeegatta ku Cockburn Cougars eya liigi ya State Basketball mu Australia mu sizoni ya 2018.[5] Mu mipiira 21, yakuƞƞaaanya obubonero 16.95 bwe tubala mu buli mupiira, n'abbira ttiimu ye omupiira emirundi 8.14 n'akola ne asisiti 1.52 mu buli mupiira.[6]

Sebirumbi yaddayo mu ggwanga lya Spain mu sizoni ya 2018–19, ne yeegatta ku Morón.[4]

Mu 2023, Sebirumbi yazannyirako Gaiteros del Zulia mu Venezuela. Oluvannyuma yeegatta ku City Oilers eya liigi ya Uganda ey'ensero, gye yazannyira emipiira etaano egy'okusunsulamu eya BAL 2024 mu Gwekkuminoogumu gwa 2023.[4]

Emirimu gye ku ttiimu y’eggwanga

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu Gwomunaana nga 5, 2015, Sebirumbi yalondebwa ku lukalala olwenkomeredde olwa ttiimu y’eggwanga eya Uganda ey'ensero eyali egenda okukiikirira eggwanga mu mpaka za AfroBasket ezaaliwo mu 2015.[7]

Sebirumbi yazannyira Uganda mu mpaka z'okukiika mu mpaka za FIBA ez'ensi yonna eza 2019 ne mu mpaka z'okukiika mu mpaka za AfroBasket eza 2025.

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 "Brandon Sebirumbi bio". FurmanPaladins.com. Archived from the original on May 30, 2016. Retrieved 5 August 2015. Cite error: Invalid <ref> tag; name "bio" defined multiple times with different content.
  2. ↑ "Brandon Sebirumbi College Stats". sports-reference.com. Retrieved 19 June 2025.
  3. ↑ "Brandon Sebirumbi inks with Navarra". Court-Side.com. September 6, 2013. Archived from the original on September 23, 2015. Retrieved August 5, 2015.
  4. 1 2 3 "Brandon Sebirumbi". afrobasket.com. Retrieved 19 June 2025. Cite error: Invalid <ref> tag; name "afrobasket" defined multiple times with different content.
  5. ↑ "Player statistics for Brandon Sebirumbi". SBL.asn.au. Retrieved 19 June 2025.
  6. ↑ "Brandon Alan Sebirumbi". fiba.basketball. Retrieved 19 June 2025.
  7. ↑ Cite error: The opening <ref> tag is malformed or has a bad name.

Ebiyungo eby’ebweru

[kyusa | kolera mu edit source]