Brenda Katwesigye
Brenda Katwesigye Baganzi Munnayuganda yinginiya w'eby'empuliziganya, omutandisi w'emirimu, omuyiiya wa tekinologiya, akulira emirimu era omutandisi wa kkampuni ya Wazi Vision Uganda eyasooka okukola dizayini n'okukola gaalubindi okuva mu buveera obuzzeemu okukozesebwa mu 2016. [1] [2] [3] Era ye CEO wa w'ekkolero lya Wazi Recycling Industries era Kitundu ku Mandela Washington. [3] [4] [5] [6]
Mmemba ku lukiiko olufuzi olwa Regional Advisory Board for the Young African Leaders nga luno ayogerwako aba Forbes -mu kubeera omutandisi w'emirimu era ayogerwako mu lukalala lwa Forbes New Wealth Creators olwa 2019, olwa Forbes Africa . [5] [7] [3]
Obuvo bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Mu buto bwe, Katwesigye yali yeetaaga gaalubindi okulaba obulungi, nga zaali za bbeeyi. Okusoomoozebwa kuno kwe kwazaala entandikwa ya Wazi Vision ekola gaalubindi okuva mu buveera obuzzeemu okukozesebwa era ng’essira eriteeka ku kuwa abantu okukebera amaaso ne gaalubindi bbeeyi esoboka. [3]
Nga bayita mu kukozesa amaanyi ga tekinologiya wa virtual reality n’okukola applications z’oku ssimu ,Wazi yavaayo n’enkola y’oku ssimu ekozesa tekinologiya wa virtual reality okugezesa okulaba. [8]
Okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Yakola diguli esooka mu bwa yinginiya w'eby'empuliziganya Makerere University mu Uganda . [3] [9]
Yasoma essomo lya MBA mu Smith School of Business, Queenns University mu 2022. [10]
Omulimu gwe
[kyusa | kolera mu edit source]Nga bizinensi ye eyasooka mu yunivasite eno yali ya kukuuma masimu g’abagenyi ku Ush Shs 1000, era yatandikawo kkampuni ya InstaHealth eyali etunuulidde okuleeta abakugu mu by’obulamu eri abalwadde mu kiseera ekituufu kyokka ebyembi n’eremererwa. [8] Oluvannyuma lw'okusoma diguli esooka, yakolera ku Innovation Village mu Kampala, nga Innovation Strategy Lead, Associate Managing Consultant mu Mastercard era yakolera mu Orange Uganda . [3]
Yakolagananga ne Deloitte Uganda nga Certified Information Systems Auditor era n’avaayo n’atandikawo Wazi Vision n’ekigendererwa eky’okuwa enkola ey’ebbeeyi esoboka ey’okuzuula obuzibu ku maaso n’okuwa gaalubindi ez’ebbeeyi esoboka nga ziva mu buveera obuzzeemu okukozesebwa. [11] [3] [12]
Awaadi ze n’ebituukiddwaako
[kyusa | kolera mu edit source]- Yalondeddwa mu bayiiya 30 ab'omwaka 2018 aba Quartz Africa . [3] [9]
- Yalondeddwa ku lukiiko olufuzi olwa SARTS Prize. [3] [7]
- Mmemba ku lukiiko olufuzi olwa Regional Advisory Board for the Young African Leaders. [3]
- 2016 Kitundu ku Mandela Washington . [3] [9] [6]
- Forbes -omutandisi w'emirimu amanyiddwa. [5]
- 2018 Kitundu ku kitongole kya Westerwelle Foundation. [13]
- Yayogerwako mu lukalala lw'abatonzi b'obugagga obupya mu 2019 olwa Forbes Africa . [7]
- Abaaliko mu pulogulaamu ya Vodafone eya FLANE. [9]
- Yawangudde engule ya Africa Rethink Award olw'omukyala Omufirika Omusuubuzi 2016. [11]
- Yawangudde engule y’ekibiina ky’amasimu eky’ensi yonna ekya Young Innovators Award. [11]
- Yawangudde engule y'ebyobulamu mu bantu olw'obuyiiya obusinga mu by'obulamu . [11]
- Yawangula ekirabo ekinene ekya SITIC Toumai eky'obuyiiya [11]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://www.newvision.co.ug/category/news/wazi-vision-partners-with-guardian-health-pha-NV_192819
- ↑ https://techcabal.com/2021/03/02/wazi-vision-brenda-katwesigye/
- 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/full-woman/engineer-providing-affordable-eye-care-1792934
- ↑ https://www.galtalkstech.com/2019/04/16/brenda-katwesigye-entrepreneur-and-founder-of-wazi-recycling/
- 1 2 3 https://www.forbes.com/sites/bonniechiu/2019/03/14/from-rags-to-riches-a-womans-vision-for-green-africa/
- 1 2 "Archive copy". Archived from the original on 2025-06-12. Retrieved 2025-10-02.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - 1 2 3 https://www.lionessesofafrica.com/blog/2020/3/27/brenda-katwesigye-a-ugandan-tech-innovator-providing-access-to-quality-eye-care
- 1 2 https://www.lionessesofafrica.com/blog/startup-story-of-brenda-katwesigye
- 1 2 3 4 https://www.alliance4ai.org/leader/brenda-katwesigye/
- ↑ https://poetsandquants.com/2022/09/11/2022-mba-to-watch-brenda-katwesigye-baganzi-queens-university-smith/
- 1 2 3 4 5 https://www.salzburgglobal.org/people?userID=35466&cHash=7cf3d64aa048bfca7d53d94899be73e2
- ↑ https://www.howwemadeitinafrica.com/made-in-uganda-eyewear-a-snapshot-of-wazi-vision/153416/
- ↑ https://sheleadsafrica.org/start-business-brenda-katwesigye/