Jump to content

Bright Stars FC

Bisangiddwa ku Wikipedia
Bright Stars FC
association football club
Inception1997 Kyusa
Omuzannyoomupiira ogw'ebigere Kyusa
EgwangaYuganda Kyusa
League or competitionUganda Premier League Kyusa
Home venueEkisaawe kya Nakivubo Kyusa
Official websitehttps://soltilobrightstars.co.ug/ Kyusa
Category for members of a teamCategory:Bright Stars FC players Kyusa

Bright Stars FC, era emannyikiddwa nga Soltilo Bright Stars, ye kiraabu y'omupiira ey'ekikugu. Baali bazannyira mu kibinja eky’oku ntikko ekya liigi ya Uganda, emannyikiddwa nga Ugandan Super League.[1]

Mu Gwomwenda 2017, kyalangirirwa nti Enzaalwa za Japan Keisuke Honda, ng’ayita mu kampuni ye eyitibwa Honda Estilo, yagula ekitundu ekifuga kiraabu eno.[2][3] Omubala gwabwe guli "Bulijjo Okuyiiya, Tokoppa." oba "Always Innovating, Never Imitating."[4]

Bright Stars yatandikibwawo mu 1997. Yayambusibwa okugenda mu liigi ya Uganda eyawagulu oluvannyuma lw’okuwangula ekibinja kya FUFA Big League mu 2012–13.[5] John Kayanja ye mutendesi eyakulembera Emmunyeenye zino okutuuka mu Kibinja Kyababinyweera.[6]

Mu sizoni yaabwe eyasooka okuzannya mu liigi yababinyweera mu 2013–14, Bright Stars yaddukira wa Livingstone Mbabazi okutendeka ttiimu eno.[7] Bright Stars yalwanagana n'obutasalibwaako kudda mu kibinja kya wansi kyokka neemalira mu kifo kya 12, ebifo 2 wagulu wa ttiimu ezaali zisaliddwaako.[8][9]

Bright Stars yatuuka ku fayinolo z'empaka za Uganda Cup mu 2019, nga gwe mulundi ogwaali gusookedde ddala bano okutuuka ku fayinolo yonna, wabula nebakubwa Proline FC 5-4 ku penati oluvannyuma lw’omupiira okuggwa amaliri ga ggoolo 1-1. Mu 2024, kiraabu eno yaleeta omuzannyi enzaalwa za Buyindi eyali asookedde ddala mu ggwanga, eyali amannyikiddwa nga , Aaryan Badoni. [10]

Omupiira wakati wa Bright Stars FC ne Express FC mu kisaawe kya Mutesa II mu Kampala mu Uganda mu liigi ya Uganda Premier League mu 2023.

Mu sizoni ya 2014–15, kiraabu eno yasengukira e Mwererwe, ku mulirwano gw’e Matugga, mu bukiikakkono bwa Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu era ekisinga obunene. Emabegako ttiimu eno yazannyiranga mu kisaawe ky'e Nakivubo ekyali kisuza abantu 15,000.[6][11]

Olukalala lw'abazannyi ba ttiimu mu kiseera kino.

[kyusa | kolera mu edit source]
No. Pos. Nation Player
GK [] UGA Patrick Mubiru
GK [] UGA Hassan Matovu
GK [] UGA Shamulan Kamya
DF [] UGA Samuel Kato
MF [] JPN Yasuyuki Fujimoto
MF [] UGA Yasin Mugume
MF [] UGA Noordin Bunjo
MF [] UGA Ibrahim Kasinde
FW [] UGA Samuel Ssenyonjo
FW [] UGA Issa Bugembe
FW [] UGA Douglas Ochoko

Abakozi abatali bazannyi

[kyusa | kolera mu edit source]

Ensengeka y'ebitiibwa[12]

Ekifo n'erinnya ly'azannyiramu

Ensengeka ya ttiimu evunaanyizibwa ku by’ekikugu

[kyusa | kolera mu edit source]

Ensibuko:[12][13]

Ekifo n'erinnya ly'azannyiramu

Ebyafaayo by'abavuggirizi ba ttiimu

[kyusa | kolera mu edit source]
  • YOSHINO TRADING Ltd.[14]

Okuva mu 2018 okutuuka mu 2024, YOSHINO TRADING Ltd. yeeyali omuvuggirizi omutongole owa Bright Stars FC. Mu 2018, kampuni eno yakola ng'omuvuggirizi w'okulusegere okumala sizoni emu. Okugatta kw'ekyo, mu kiseera kyonna eky’okuteeka ssente mu ttiimu eno, YOSHINO TRADING Ltd. yawaayo bbaasi ya ttiimu eyali ezingiddwa ku bwereere, ng’ewagira ebyetaago bya ttiimu mu by’entambula.[15]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Bright Stars FC (May 2018). "Bright Stars FC: 2017/2018 Azam Uganda Premier League Wrap-Up". Kampala: Bright Stars Football Club. Archived from the original on 22 June 2018. Retrieved 21 June 2018.
  2. "本田圭佑、系列企業がアフリカ・ウガンダのクラブ買収を発表 世界で3クラブ目(デイリースポーツ) – Yahoo!ニュース". Yahoo!ニュース (in Lujapani). Archived from the original on 12 September 2017. Retrieved 2017-09-11.
  3. Nsubuga, Danito (11 September 2017). "Bright stars FC announce management partnership with Japanese company Honda Estilo". Kampala: Swift Sports Uganda. Archived from the original on 22 June 2018. Retrieved 21 June 2018.
  4. Isabirye, David (2020-07-01). "Bright Stars Football Club acquires new partner". Kawowo Sports (in American English). Archived from the original on 9 November 2023. Retrieved 2023-11-18.
  5. "The Club". Bright Stars FC. Archived from the original on 10 February 2019. Retrieved 15 January 2019.
  6. 1 2 Bright Stars FC (2016). "About Bright Stars Football Club". Kampala: Bright Stars Football Club. Archived from the original on 22 June 2018. Retrieved 21 June 2018.
  7. "Rookies Bright Stars date SCVU". Red Pepper. 23 August 2013. Archived from the original on 14 February 2024. Retrieved 15 January 2019.
  8. "FUFA Super League Relegation Battle Intensifies". FUFA.co.ug. 28 April 2014. Archived from the original on 15 January 2019. Retrieved 15 January 2019.
  9. "Uganda 2013-14". RSSSF. Archived from the original on 6 May 2021. Retrieved 7 February 2023.
  10. "Aaryan Badoni joins Soltilo Bright Stars". soltilobrightstars.co.ug. 15 August 2024. Archived from the original on 27 September 2024. Retrieved 23 December 2024.
  11. "FUFA Monthly" (PDF). FUFA Communications 2015. May 2015. Archived from the original (PDF) on 4 October 2015.
  12. 1 2 Isabirye, David (2019-08-29). "Bright Stars FC unveils new players for 2019-20 Uganda Premier League season". Kawowo Sports (in American English). Archived from the original on 18 November 2023. Retrieved 2023-11-18.
  13. "Soltilo Bright Stars Homepage - Soltilo Bright Stars" (in American English). Archived from the original on 18 November 2023. Retrieved 2023-11-18.
  14. "Yoshino Trading | Used cars and trucks for sale in Kampala, Uganda" (in Lungereza). 2025-05-22. Retrieved 2026-03-28.
  15. "Bright Stars FCへのスポンサー開始のお知らせ". PR Times. 2018-09-04.

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]

Template:Ugandan Premier League