Bruno Sserunkuma
Bruno Sserunkuma (yazaalibwa 3 Ogwokubiri 1991) yali muzannyi wa mupiira mu Uganda ow'ekikugu era nga yazannya nga wingi n'amakati agalumba mu kiraabu za premier liigi ya Uganda ne Kenya, nga mu zino kuliko Express, Nairobi City Stars, Bandari, ne Vihiga United . Yafa mu March wa 2025.
Omulimu gwa kiraabu
[kyusa | kolera mu edit source]Sserunkuma yatandikira mu Uganda, ng'ali mu Kasenyi FC ne Aurum Roses n’agenda e Kenya mu 2012 okwegatta ku Nairobi City Stars . Yayingizibwa oluvannyuma lw’omuteebi munne Dan Sserunkuma okugenda n’afuuka omu ku bazannyi ba Uganda abawerako abagenda okuzannya mu kiraabu eno esangibwa e Nairobi.[1] Oluvannyuma Bruno yeegatta ku Bandari.[2] Oluvannyuma lw'okuva ku Bandari, Sserunkuma yeegatta ku Vihiga United era oluvanyuma neyagatta mu kiraabu za ZESCO United ne Zanaco eza Premier Liigi e'Zambia.[3]
Mu mwezi ogusooka ogwa 2018, Sserunkuma yakomawo mu Uganda n’akola endagaano ne Express FC nga ya myaka ebiri ng’omuzannyi atagulwa okuva mu tiimu ndala(free agent).[4]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Isabirye, David (2013-06-24). "Nairobi City Stars suspend two Ugandan Players over indiscipline". Kawowo Sports (in American English). Retrieved 2026-06-07.
- ↑ Agababyona, Bruno (2015-01-26). "Kenya's Bandari Axe Bruno Serunkuma". ChimpReports (in American English). Retrieved 2026-06-07.
- ↑ Isabirye, David (2017-07-05). "Left footer Brunno Sserunkuma headed for Zambia move". Kawowo Sports (in American English). Retrieved 2026-06-07.
- ↑ Isabirye, David (2018-01-31). "Bruno Sserunkuma joins Express Football Club". Kawowo Sports (in American English). Retrieved 2026-06-07.
- Bruno Sserunkuma at Global Sports Archive