Bryan Woolestone Langlands
| Ekikula | musajja | |
|---|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Great Britain | |
| Yazaalibwa nga | 14 Gwakkumi(Mukulukusabitungotungo) 1928 | |
| Olunaku lwe yafa | 1989 | |
| Omulimu | geographer | |
| Omukozesa | Ssettendekero wa Makerere, Ulster University | |
| Ekifo ky'alimu | President of The Uganda Society | |
Bryan Wooleston Langlands (14 Ogwekkumi 1928 – 1989) yali muwandiisi wa byafaayo mu Bungereza era nga Polofeesa w'ebyafaayo bya Afirika.[1]
Era yaweereza ng'omukulembeze owa 37 Uganda Society wakati wa 1970 ne 1971.[2]
Obuto bwe n’okusoma
[kyusa | kolera mu edit source]Langlands yazaalibwa mu Eastbourne, Sussex nga 14 Ogwekkumi 1928.[3] Yatikkirwa n'ebitiibwa mu 1952 mu London School Economics era n'agoba eby'okusoma mu geography. Ebiseera bye ebisinga abimala mu Uganda gye yakola emirimu mu kisaawe ky’ebyenjigiriza n’okuddukanya emirimu mu Uganda ey’amatwale n’oluvannyuma lwago.[4]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 1953 Langlands yalondebwa okuba omumyuka w'omusomesa wa Geography mu yunivasite e Makerere mu Kampala gye yava oluvannyuma n’afuuka Polofeesa era akulira ekitongole kya geography.[3][1] Mu 1970-1971, Langlands yali mukulembeze wa Uganda Society nga yadda mu bigere bya Pio Zirimu era n’asikizibwa Dr. Sempala Ntege. Oluvannyuma lw’okulagirwa omukulembeze w'eggwanga lya uganda Idi Amin, okuva mu Uganda mu 1976, mu 1977, Bryan Langlands yafuuka Dayirekita w’emisomero era akulira ekitongole kino ng’alina ekitiibwa kya Polofeesa mu ssomero lya Sayansi w’obutonde bw’ensi eryaakatandikibwawo ku Ulster Polytechnic.[3]
Ebiweebwayo n’okunoonyereza
[kyusa | kolera mu edit source]Okunoonyereza kwa Langlands kwamanyibwa olw’obuziba n’obugazi bwakwo. Yakunganya etterekero ly’ebitabo ery’amaanyi, ng’anoonyereza ku bintu eby’enjawulo ebikwata ku byafaayo bya Afirika. Okunoonyereza kwe kwagenda mu maaso n’emitwe gamba ng'engeri y’okusenguka, ebifo eby’obuwangwa, n’engeri obufuzi bw’amatwale gye bukosaamu ebitundu by’Afirika. Emirimu gye egisinga gyafulumizibwa mu Makerere ekibiina kya Geography Series of Occasional Papers ne The Uganda Journal.
Okufa
[kyusa | kolera mu edit source]Mu Gwolubereberye 1989, ekikangabwa kyagwawo Pulofeesa Bryan Wooleston Langlands bwe yafiira mu kabenje k’ennyonyi BD092 mu kkampuni y’ennyonyi eya British Airways e Kegworth, Leicestershire. Okufa kwe kwakoma nnyo ku kibiina ky'abasomesa, anti Langlands abadde muntu mukulu mu bya geography.
Ekitiibwa
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 1978, yaweebwa engule ya Order of the British Empire (OBE) olw’obuweereza bwe mu by’enjigiriza ebya waggulu emitala w’amayanja.[3]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 "University of London Archives | Details | Bryan Wooleston Langlands papers". archives.libraries.london.ac.uk. Retrieved 2024-02-18.
- ↑ "The Uganda journal". original-ufdc.uflib.ufl.edu (in Lungereza). Retrieved 2024-12-11.
- 1 2 3 4 Harrington, Elaine. "UCC Library: Langlands Collection: Home". libguides.ucc.ie (in Lungereza). Retrieved 2024-02-18.
- ↑ Bakamanume, Bakama; Mutabuza, Matthews (Dec 1997). "BRYAN WOOLESTON LANGLANDS: UGANDAN GEOGRAPHY AND THE GOSPELS OF ST. LANGLANDS, 1953–1976". East African Geographical Review (in Lungereza). 19 (2): 1–12. doi:10.1080/00707961.1997.9756243. ISSN 0070-7961.