Bukalasa Agricultural Training Institute
| Egwanga | Yuganda |
|---|---|
| Located in the administrative territorial entity | Luweero |
| Coordinate location | 0°42′49″N 32°30′36″E |

Bukalasa Agricultural Training Centre (BATI), oba Bukalasa Agricultural College, ttendekero lya gavumenti eritendeka ebyemikono eriddukanyizibwa era nga liri wansi wa Minisitule ey’ebyobulimi, obulunzi n’obuvubi (MAAIF).laba www.bac.ac.ug[1]
Ekifo
[kyusa | kolera mu edit source]Ettendekero lino lisangibwa mu kitundu ky’e Bukalasa, mu kiromita nga 3.5 (mailo 2),[2] Bukalasa eri mu Kiromita 50 (mailo 31 ), ku luguudo, mu bukiikakkono bwa Kampala, ekibuga ekikulu era ekisinga obunene mu Uganda.[3] Ensengeka z'ebitundu by'ettendekero lino ze zino:0°19'49.0"N, 32°36'06.0"E (Latitude:0.330278; Longitude:32.601667).
Mu bufunze
[kyusa | kolera mu edit source]Ettendekero lino lyatandikibwawo gavumenti ya Uganda mu 1920, ng’ekifo eky’okunoonyereza ku ppamba. Emyaka bwe gyayitawo, okuyita mu kwegatta n’amatendekero amalala, ekifo kino kyakyusibwa ne kifuulibwa ekifo ekinoonyereza n’okutendeka abantu ku by’obulimi ekijjuvu. Mu 1952, BATI yatandika okusomesa essomo ku ddaala erya satifikeeti ery’emyaka ebiri era essomo ku ddaala lya dipuloma lyatandikibwawo mu 1960. Okusoomoozebwa okukulu eri ettendekero lino kwa mirundi ebiri omuli ebibiina ebitamala ssaako n’ebyuma ebikozesebwa mu kusomesa enkola z’ebyobulimi ez’omulembe.[1][4]
Amasomo
[kyusa | kolera mu edit source]Ettendekero lirina amasomo gano wammanga:
- Amasomo ku ddaala lya dipulooma[1]
(a) Dipulooma mu kulima n’okuddukanya ebirime (b) Dipulooma mu kulima n’okuddukanya ebisolo (c) Dipulooma mu kuddukanya bizinensi z’ebyobulimi (d) Dipulooma mu by’obulimi bw’ebimuli.
- Amasomo ku ddaala lya satifikeeti[1]
(a) Satifikeeti mu kulima n’okuddukanya ebirime (b) Satifikeeti mu kulima n’okuddukanya ebisolo (c) Satifikeeti mu kulima ebimuli ne (d) Satifikeeti mu by’okulunda enjuki.
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 4 Schoolnetuganda.com (2 February 2018). "Bukalasa Agricultural College". Schoolnetuganda.com. Archived from the original on 3 February 2018. Retrieved 2 February 2018.
- ↑ Globefeed.com (2 February 2018). "Distance between Wobulenzi, Central Region, Uganda and Bukalasa Agricultural College, Katikamu, Central Region, Uganda". Globefeed.com. Retrieved 2 February 2018.
- ↑ Globefeed.com (2 February 2018). "Distance between Post Office Building, Kampala Road, Kampala, Uganda and Bukalasa Agricultural College, Katikamu, Central Region, Uganda". Globefeed.com. Retrieved 2 February 2018.
- ↑ Afedraru, Lominda (12 January 2011). "Bukalasa agricultural school struggles to meet students' needs". Retrieved 2 February 2018.