Jump to content

Bulaimu Muwanga Kibirige

Bisangiddwa ku Wikipedia
Bulaimu Muwanga Kibirige
Munnayuganda omusuubuzi (1953-2021) Kyusa Wikidata
Omuntu Kyusa Wikidata
Ekikulamusajja Kyusa Wikidata
Ensi y’o­bu­tuu­zeUganda Kyusa Wikidata
Yazaa­lib­wa nga2 Gwakkumi(Mukulukusabitungotungo) 1953 Kyusa Wikidata
Gy'a­zaal­waUganda Kyusa Wikidata
Olunaku lwe yafa10 Gwamwenda(Mutunda) 2021 Kyusa Wikidata
Place of deathNairobi Kyusa Wikidata
Ennimi z'amanyiLungereza, Arabic Kyusa Wikidata
Omulimuomutandisi w’emirimu Kyusa Wikidata
GyabeeraKampala Kyusa Wikidata
EdiiniIslām Kyusa Wikidata

Bulaimu Muwanga Kibirige, (2 Ogwekkumi 1953 – 10 Ogwomwenda 2021), amanyiddwa nga BMK, yali Munnayuganda omusuubuzi, omutandisi w'emirimu era nnannyini woteeri. Okusinziira ku alipoota eyafulumizibwa mu 2012, yali omu ku bantu abasinga obugagga mu Uganda.[1][2][3][4][5]

Bulaimu Muwanga Kibirige ku myaka 14 yawanduka mu ssomero n'atandika okukola mu kirabo ky'emmere ekya kitaawe e Masaka nga tannatandika mirimu gye egy'ekuusa ku by'obusuubuzi. Yaggulawo ebifo ebimu eby’obusuubuzi mu Kampala, Nairobi, Bangkok ne Thailand wakati wa 1973 ne 1976. Ng’ava e Matanga mu Ssaza ly'e Buddu mu Disitulikiti y’e Masaka, mu 1986 yatandikawo kkampuni y’eby'obusuubuzi n’amakolero ag'abulijjo. Yali amanyiddwa nnyo olw’okusiga ssente mu by’amayumba, ebyuma ebizimba, okusaasaanya pikipiki n’ebibanda by’ensimbi z’ebweru okwetoloola Obuvanjuba n'amakkati g'Afirika. BMK y’ali emabega w’okuleeta bodaboda mu Uganda - enkola y’entambula eyasinga okukozesebwa ku nsalo ya Uganda ne Kenya. Oluvannyuma yatandika okuzitunda butereevu okuva e Japan era ekyavaamu okukozesa bodaboda ne kutandikia. Mu 1997, BMK yatandika ne motel Hotel Africana ey'ebisenge 40, ku lusozi Kololo, esangibwa mu kitundu kya Kampala wakati mu kibuga kya bizinensi. Mu myaka kkumi egyaddirira, wooteeri eno yakula n’efuuka ekifo ekya wooteri ez'awaggulu eziyitibwa "four-star".[6]

Ebikwata ku bizinensi ze

[kyusa | kolera mu edit source]

BMK yali ssentebe era akulira ekibiina kya BMK Group of companies, nga bizinensi endala ezigwa wansi waayo mulimu:[7]

1. Hotel Africana Kampala, 2-4 Wampewo Avenue, ku lusozi Kololo, Kampala, Uganda

2. Hotel Africana Moroto, ekibuga Moroto, Uganda [8]

3. Hotel Africana Lusaka, Lusaka, Zambia

4. BMK Motorcycles (U) Limited, Nateete, Kampala, Uganda

5. BMK Motorcycles (K) Limited, Nairobi, Kenya

6. BMK Motorcycles (T) Limited, Dar es Salaam, Tanzania

7. BMK Motorcycles (R) Limited, Kigali, Rwanda

8. BMK Motorcycles (Z) Limited, Lusaka, Zambia

9. Hotel Africana Forex Bureau 1, ku luguudo lwa Wampewo Avenue 2-4, Kampala, Uganda [9]

10. Hotel Africana Forex Bureau 2, 16-18 William Street, Kampala mu Uganda

11. Kkampuni ya BMK Construction Leasing Company, Kigali, Rwanda

12. Kkampuni ya BMK ekola ebyuma ebikola amafuta, Kampala, Uganda [10]

Obuvunaanyizibwa bwe obulala

[kyusa | kolera mu edit source]

BMK yaweereza mu bifo bino wammanga eby’olukale:

1. Ssentebe w'ekibiina ekigatta bannannyini wooteeri mu Uganda[11]

2. Omukiise ku lukiiko olufuzi olw’ekibiina ekigatta amawanga ga Uganda North American Association (UNAA)[12]

3. Ssentebe w'olukiiko olufuzi olwa Uganda Sickle Cell Rescue Foundation[13]

Awaadi ze endala

[kyusa | kolera mu edit source]

Bulayimu Muwanga Kibirige yaweebwa diguli ey'okusatu mu Philosophy mu by’obuntubulamu mu ttendekero lya United Graduate College and Seminary mu 2014. Mu mwaka gwe gumu, yafuna awaadi ya Diaspora lifetime award for Entreprenuership mu bbendobendo lya East and Central Africa.[14]

Okulwala n’okufa kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

BMK yali amaze ebbanga ne kookolo nga tannafa. Yaweebwa ekitanda mu ddwaaliro e Nairobi, Kenya, okumala ekiseera, era oluvannyuma yafiirayo nga 10 Ogwomwenda 2021, ku myaka 67.[15]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Kalumba, Edward (7 October 2013). "Omugagga BMK Awezezza Emyaka 60, Alojja Bw'asimattuse Okufa Emirundi 3". Bukedde.co.ug (in Ganda). Kampala. Archived from the original on 13 July 2015. Retrieved 11 July 2015.
  2. Jjuuko, Denis (25 March 2021). "Biography of BMK should spur the next generation". The Observer - Uganda. Retrieved 12 September 2021.
  3. "Bmk Group – Welcome". Retrieved 12 September 2021.
  4. "City businessman BMK dead". Daily Monitor. 10 September 2021. Retrieved 10 September 2021.
  5. Michael Kanaabi and Ssebidde Kiryowa (6 January 2012). "Uganda: The Deepest Pockets". New Vision. Archived from the original on 20 June 2020. Retrieved 15 October 2014.
  6. Newvision, Archive (22 August 2006). "Hotel Africana Celebrates 9 Years". Archived from the original on 21 October 2014. Retrieved 15 October 2014.
  7. Muwanga, David (30 December 2008). "Third World Easier To Invest In, Says BMK". Archived from the original on 21 October 2014. Retrieved 15 October 2014.
  8. Sydona Nazze (21 November 2020). "Hotel Africana opens in Moroto". PML Daily. Retrieved 22 November 2020.
  9. BOU (2013). "Licensed Forex Bureau In Uganda As of 2013" (PDF). Bank of Uganda (BOU). Archived from the original (PDF) on 21 Gwakkumi(Mukulukusabitungotungo) 2014. Retrieved 15 Gwakkumi(Mukulukusabitungotungo) 2014.
  10. Newvision, Archives (20 October 2006). "BMK Smells Bunyoro Oil Money". Archived from the original on 22 October 2014. Retrieved 15 October 2014.
  11. Bwogi, Charles (15 July 2005). "URA Scraps Tax On Hotel Items". Archived from the original on 21 October 2014. Retrieved 15 October 2014.
  12. "About Ugandan North American Association". UNAA. Retrieved 15 October 2014.
  13. Uganda Sickle Cell Rescue Foundation (9 September 2021). "Board and Directors: Uganda Sickle Cell Rescue Foundation". Uganda Sickle Cell Rescue Foundation. Kampala, Uganda. Archived from the original on 12 September 2021. Retrieved 12 September 2021.
  14. "PROFILE: Who is BMK, one of the richest indigenous businessmen in Uganda?". 17 July 2021. Retrieved 12 October 2025.
  15. Sean Musa Carter (10 September 2021). "Ugandan Businessman Bulaimu Muwanga Kibirige aka BMK Dead, His Cause of Death". Blizz Uganda. Archived from the original on 10 September 2021. Retrieved 10 September 2021.

Ebijuliziddwa wabweru wa Wikipediya

[kyusa | kolera mu edit source]