Jump to content

Bulange

Bisangiddwa ku Wikipedia
Bulange
building
Inception1958 Kyusa
EgwangaYuganda Kyusa
Located in the administrative territorial entityKampala Kyusa
LocationMengo, Uganda Kyusa
Coordinate location0°18′35″N 32°33′30″E, 0°44′30″N 33°45′54″E Kyusa
Heritage designationNational Cultural Site of Uganda Kyusa
Street addressBulange is on Namirembe Hill close to Namirembe Hospital Kyusa
Map

Bulange ( boo-lah-ngeh ) kizimbe ekisangibwa mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda. Mulimu Lukiiko (Paalamenti) y’Obwakabaka bwa Buganda era nga ye Ntebe y’Obwakabaka bwa Buganda. Kabaka wa Buganda ne Katikkiro (Ssaabaminisita) wa Buganda nabo balabirira ofiisi mu kizimbe kino. Ekizimbe kino era kikola ng’ekitebe ekiddukanya emirimu gy’Obwakabaka bwa Buganda. [1]

Ekizimbe kya Bulange kye kizimbe ekitongole ekiddukanya obwakabaka bwa Buganda mu masekkati ga Uganda. Okubeerawo kwayo mu kitundu kino nakyo kyaviirako ebitundu ebikyetoolodde okukkakkana nga bikyusiddwa amannya ne bituumibwa Bulange. Wabula ekizimbe kya Bulange ekibeera 'ekizimbe ekikulu' ekya Buganda kisangibwa ku kasozi Namirembe okumpi n'eddwaliro lya Namirembe, mailo emu (1.6 km) mu bukiikakkono bw’amaserengeta g’omulyango omukulu ogw’olubiri lw’e Mengo mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda era ekibuga ekisinga obunene. Kino kiri nga mailo biri (3.2 km) mu bukiikaddyo bw’amaserengeta g’ekibuga wakati mu Kampala. Ensengeka ya Bulange eri 0°18'35.0"N, 32°33'30.0"E (obugazi bw’ens:0.309722; obuwanvu bw’ensi:32.558333). [2] Ekkubo, liwezaako mailo emu (kiromita nga 1.6), eriyitibwa Kabaka Anjagala Road (amakulu gaalyo nti ‘Kabaka anjagala’), era oluusi luyitibwa Oluguudo lwa Kabaka (Royal Mile), liggya kuwankaki w’Olubiri e Mengo ne ligenda okutuuka ku mulyango gwa Bulange. [3] [4]

Mu ntandikwa, Olukiiko lwa Buganda lwatulanga mu lubiri olumu ku za Kabaka, era emirimu gyakolebwa wansi w’omuti gumu oba mingi. Oluvannyuma kasubi yazimbibwa ela yekolanga palaamenti. Ku ntandikwa y’ekyasa eky’amakumi abiri, Katikkiro wa Buganda, Apollo Kaggwa, yakola endagaano n’omuyindi, Alidina Visram, okuzimba ekizimbe kya palaamenti ng’akozesa amatofaali. Gavumenti y'obwakabaka bwe yeyongera okukula n’okugaziwa , obwetaavu bw'ekizimbe ekinene eky'okukubiramu enkiiko bwaleetera okuzimba Bulange ebweru w'Olubiri lwa Kabaka omulundi ogwasooka..

Bulange Mengo

Ssekabaka Muteesa owokubili bwe yali mu buwanganguse e Scotland mu mwaka gwa 1953, yalaba n’okwegomba ebifaananyi by’okuzimba ekizimbe. Ebifaananyi ebyo yabijja ng’akomyewo okuva mu buwanganguse mu mwaka gwa 1955. Yalagira nti Bulange empya ezimbibwe okusinziira ku bifaananyi ebyo. Okuzimba kwatandika mu mwaka gwa 1955 era ne kumalirizibwa mu mwaka gwa 1958 ku bukadde bwa pawundi butaano, nga zonna zaaweebwayo Gavumenti ya Buganda . [5]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebijuliziddwa wabwer wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]

Template:Kampala District

  1. Vision, Reporter (10 October 2012). "1 dead, 3 injured In Bulange Mengo fire". New Vision. Archived from the original on 14 July 2014. Retrieved 1 July 2014.
  2. Template:Google maps
  3. JJUUKO, DENIS (2018-04-11). "Kabaka BD run calls for redevelopment of Lubiri". The Observer - Uganda (in British English). Retrieved 2023-10-31.
  4. MUGAGGA, ROBERT (2014-08-27). "15 years ago, this wedding shattered Ugandan records". The Observer - Uganda (in British English). Retrieved 2023-10-31.
  5. Buganda Kingdom. "Buganda's Heritage: Bulange Building". Buganda.or.ug. Archived from the original on June 22, 2014. Retrieved 30 June 2014.