Jump to content

Bulasio Mukasa

Bisangiddwa ku Wikipedia
Bulasio Mukasa
omuntu
Ekikulamusajja Kyusa
Ensi y’obutuuzeYuganda Kyusa
Yazaalibwa nga1986 Kyusa
Ennimi z'amanyiLungereza Kyusa
Omulimuradio personality, journalist, munnabyabufuzi Kyusa
OmukozesaNBS Television (Uganda), CBS FM Buganda, Church of Uganda, Omubaka wa Palamenti ya Uganda Kyusa
Disitulikiti mwalonderaWakiso Disitulikiti Kyusa
GyeyasomeraNdejje University Kyusa
Mmemba w’ekibiina ky’ebyobufuziNational Unity Platform Kyusa
Okwesiimbawo kwe mu kaluludistrict Kyusa

Zambaali Bulasio Mukasa Munnayuganda, omusomi w'amawulire, era omukugu mu by'empuliziganya.[1][2][3] Musomi w'amawulire ag'Oluganda agayitibwa Amasengejje era akubiriza pulogulaamu ya Barometer Akasameeme, pulogulaamu omukubaganyizibwa ebirowoozo ku by'obufuzi mu Luganda ku terefayina eya NBS Television (Uganda)[4][5] Yalondebwa okuba omubaka wa Paalamenti mu Munisipaali y’e Nansana mu Disitulikiti y’e Wakiso mu Paalamenti ya Uganda ey’ekkuminebbiri wansi w’ekibiina ky’ebyobufuzi ekya National Unity Platform.[6]

Obulamu bwe n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Zambaali yazaalibwa omugenzi John Wilson Segawole ne Florence Sarah Nakalembe Namusisi. Yakula ne jjajjaawe Asinansi Nasimbwa e Mugomola mu Semuto.[3] Yatuula ebigezo bye ebyakamalirizo ku ddaala erya pulayimale mu ssomero lya Kijaguzo Primary School. Mu mwaka gwa 2002, yamaliriza omutendera gwa siniya ey'okuna mu ssomero lya St. Denis Sebugwawo Kijaguzo Secondary School era n’amaliriza ebigezo ebya siniya ey'omukaaga mu Kazo Hill College School Kampala mu 2004. Yasoma diguli esooka mu by’obulambuzi okuva mu yunivasite y’e Makerere kyokka n’atagimaliriza (2005–2007). Yatikkirwa dipilooma mu by'amawulire n'empuliziganya mu mwaka gwa 2011 okuva ku UMCAT School of Journalism and Mass Communication.[5] Era alina diguli esooka mu by’enkolagana n’abantu okuva mu Yunivasite y’e Ndejje.[7]

Yatandika omulimu gwe ogw'obusasi bw'amawulire ku Tiger FM ng'omusomi w'amawulire era omwanjuzi wa pulogulaamu okuva mu 2007 okutuuka mu 2008.[2] Okuva olwo, yaweereza ng'omusomi w'amawulire era omwanjuzi wa pulogulaamu ku mikutu gy'amawulire egy'enjawulo, omuli Metro FM 90.8 (2008–2011), ne Beat FM ne Capital FM (2011–2012), gye yakolera ng'omusomi w'amawulire era omuweereza w'amawulire.[8] Mu Gwomunaana 2012, yegatta ku leediyo za CBS FM Buganda 88.8 ne CBS FM Emmanduso 89.2 ng’omwanjula wa pulogulaamu, omuduumizi w’emboozi z’oku mpewo era omusomi w’amawulire mu pulogulaamu nga Ag’Okumpi Newala, Tumutendereze, ne Ebifa mu Nsi n’Obwengula (2012–2020).[9][10] Wakati wa 2016 ne mu Gwomusanvu 2019,[11] Zambaali yaweereza ng'omusomi w'amawulire era omuduumizi wa pulogulaamu ez'ebyobufuzi ku BBS Terefayina.[12][13]

Zambaali yeegatta ku NBS Terefayina (Uganda) mu mwezi ogw'omunaana omwaka gwa 2019 ng’omusomi w’amawulire Amasengejje.[4][13] era ng'omukubiriza wa pulogulaamu y'emboozi Barometer – Akaasameeme, pulogulaamu ey'ensonga z'eggwanga mu Luganda, ewerezebwa buli Lwakubiri ku ssaawa 4:00 ez'ekiro (22:00 EAT) ku NBS Television.[8][14]

Ebirala ebikulu

[kyusa | kolera mu edit source]

Wakati w'omwaka gwa 2005 ne 2010, Zambaali yaweereza ng’omusomesa wa banne mu Kiyita Alliance for Development, Nabweru Orphan Support Project, Makerere Women Development Association era nga Ssentebe wa Nabweru Youth Health Club, era nga omuwandiisi wa Nansana Youth Parish.[5][14] Okuva mu mwaka gwa 2020, Zambaali akola nga Pulezidenti w’ekibiina ekigatta bannamawulire mu kkanisa ya Uganda.[15] Ye dayirekita wa Zabama Investment Limited kampuni eteekateeka embaga.[9]

Ebimukwatako ebyomunda

[kyusa | kolera mu edit source]

Zambaali mufumbo era alina abaana basatu.[3][10] Mu myaka gya 2018 ne 2019, yaweebwa engule ya Dan Kyazze ey’omuweereza w’amawulire ku leediyo y’Oluganda asinga.[16]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Nbs poaches news anchor Mukasa Zambali from BBS". July 23, 2019.
  2. 1 2 Reporter, Sunrise (23 July 2019). "NBS poaches CBS/Terefayina's Zambaali – Sunrise".
  3. 1 2 3 "My grandmother taught me Luganda – Zambaali". Daily Monitor. January 8, 2021.
  4. 1 2 "NBS TV Poaches Zambaali Blasio Mukasa from BBS Terefayina". 23 July 2019.
  5. 1 2 3 "NBS strikes again, poaches BBS TV Anchor". July 23, 2019.
  6. Reporter (2026-01-19). "List: NUP MPs who Made It to Twelfth Parliament". Daily Star (in American English). Retrieved 2026-01-22.
  7. Byemboijana, Muhamadi (29 July 2019). "Muyanga Lutaaya to replace Zambali at BBS Telefayina – Sunrise".
  8. 1 2 "NBS TV Unveils News Anchor Zambaali Bulasio Mukasa » Business Focus". July 23, 2019.
  9. 1 2 "ZAMBAALI BULASIO MUKASA _ When time comes, I will speak the truth why I left CBS FM #Extradigestshow". 14 September 2021 via www.youtube.com.
  10. 1 2 Uganda, Flash (December 1, 2019). "Zambaali Bulasio Mukasa: Biography, Education and Life of a Ugandan Male TV/Radio Personality". Flash Uganda Media.
  11. "NBS TV Snatches BBS TV's Zambali Bulasio Luganda News Caster". blizz.co.ug.
  12. News, Grapevine (July 25, 2019). "How Greedy Men Are Failing Kabaka Radio And TV: We Are Paid Peanuts And It Comes Late, The Bosses Are Running Away With Sacks – Zambali Departure From BBS TV To Nbs Exposes Rot At Bulange". Grapevine News. Archived from the original on May 22, 2020. Retrieved April 18, 2026. {{cite web}}: |last= has generic name (help)
  13. 1 2 "Meet Zambaali Bulasio Mukasa's Family, Amazing Facts You Didn't Know About the Deep Voiced Caster". blizz.co.ug.
  14. 1 2 "NBS TV Snatches Another Media Personality From BBS TV". Newslex Point. July 24, 2019.
  15. "CBS news caster Zambali rumored to join NTV". July 8, 2013.
  16. "Media Challenge Awards Winners 2015". 28 November 2015.

Ebijuliziddwa wabweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]