Bunyaga Bruno
Bruno Bunyaga aka Magoolo, Enyabu (yazaalibwa 27 Ogwokussatu 2004) muzannyi wa mupiira Munayuganda era ng'azannyira kiraabu ya Uganda Revenue Authority FC ng'omuteebi mu liigi ya Uganda Premier . [1]
Ebyafaayo n'obuyigirize bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Bunyaga yazaalibwa Mawokota mu Disitulikiti y’e Mpigi mu mu maka gw'omwami n'omukyala Moses Kawadwa ne Sarah Babirye. Yatandika okussoma kussomero lya Busega Primary School (P1-P7). Yeegatta ku Mackaay Memorial College, Nateete (S1-S5) n’amaliriza A-Level ku ssomero lya Rines SS, Namuseera. Bunyaga yeegatta ku St Lawrence yunivasite okusoma Bachelors degree in Business Administration. [1]
Olugendo lw'omupiira
[kyusa | kolera mu edit source]Bruno Bunyaga yatandika okuzanya omupiira mu Life Internal Academy– Nateete, Arrows soccer Academy – Lungujja ne Devine sports Academy ng’aluŋŋamizibwa Yasin Muyimba (Eyali omuzannyi wa Police FC). [1] Olwo n’azannya mu kibinja eky’okuna n’ekyokusatu mu Sparta 09, ekisaawe kya Dreams, Impala hill ne Bushenyi Veterans. [2] Mu 2023, yeegatta ku URA Football Club okuva mu Bushenyi Veterans. [3] Mu mpaka za Buganda Masaza Cup, yatandika ne Buvuma mu 2020 n’azannyira Buddu mu 2021 ne 2022 era nd naye yali muzannyi wa St. Lawrence University. [2] [4]
Ebituukiddwaako n’ebirabo
[kyusa | kolera mu edit source]Omuwanguzi w'ekikopo kya Masaza (2021). [5]
Omuteebi eyasinga okuteeba goolo enyingi (goolo 12 ) mu liigi y'omupiira gwa yunivasite (UFL) 2022. [6]
Omuzannyi w'omwezi gw'omwenda 2022 mu mpaka za Fortebet Real Star Monthly Awards. [4]
Omuteebi eyasinga okuteeba goolo enyingi Masaza cup 2022(goolo 6). [1]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebiwandiiko ebikozesebwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 4 Isabirye, David (2022-11-18). "KNOW YOUR STARS: Footballer Bruno Bunyaga credits parents' encouragement for his career". Kawowo Sports (in American English). Retrieved 2025-09-06. Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":0" defined multiple times with different content - 1 2 "Bruno Bunyaga signs for the tax collectors – Sports Bee Uganda" (in American English). Retrieved 2025-09-06.
- ↑ "University Football League star Bunyaga joins URA FC". MTN Sports (in American English). 2023-01-11. Retrieved 2025-09-06.
- 1 2 "Fortebet Real Star Monthly Awards: September Bows To Bunyaga Like Kampala University Did in UFL | Voice of Bugerere" (in American English). 2022-10-04. Retrieved 2025-09-06. Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":2" defined multiple times with different content - ↑ Abdusalam, Kigozi (2022-03-05). "Buddu are 2021 Masaza Cup Champions". ChimpReports (in American English). Retrieved 2025-09-06.
- ↑ "Uganda Martyrs sacrifice St. Lawrence for second UFL title". Monitor (in Lungereza). 2022-11-14. Retrieved 2025-09-06.