Jump to content

Busitema University School of Medicine

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Ekitongole kya Busitema University Faculty of Health Sciences (BUFHS), era ekimanyiddwa nga Busitema University Medical School (BUMS) ne Busitema University School of Medicine (BUSM), ly'esomero ly'obusawo mu Busitema University, emu ku yunivasite za gavumenti mu Uganda. Esomero ly’obusawo lye limu ku masomero g’obusawo amapya mu ggwanga, nga libadde kitundu ku yunivasite okuva mu 2013. Esomero lino lisomesa obusawo ku mutendera gwa diguli esooka n’eya diguli ey'okubiri. [1]

Gyerisinganibwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Esomero lino lisinganibwa ku ddwaliro lya Mbale Regional Referral Hospital ku luguudo lw'e Pallisa mu disitulikiti y'ebyobusuubuzi wakati mu kibuga Mbale, mu Bitundu by'Obuvanjuba bwa Uganda. Etendekro lino kiromita nga 221, nga ze mayiro 137, singa obeera okozesa luguudo, mu bukiikakkono-buvanjuba bwa Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu ekisinga obunene.[2] Endagiriro y'esomero lino ng'okozesa bibalo ziri 1°04'55.0"N, 34°10'35.0"E (Latitude:1.081944; Longitude:34.176389). [3]

Enkola y'emirimu

[kyusa | kolera mu edit source]

Esomero lino likola ng'ekitongole kya Sayaansi w’Eby'obulamu ku Busitema University. Ekitongole ekikulirwa Akulira Abayizi Professor Julius Wandabwa, amyukibwa Dr. Joseph Mpagi Luwaga. Emisomo gy’esomero lino ery'obusawo gigattibwa wamu n’eddwaliro ewasindikibwa abalwadde ng'ewalala bigaanye, abeebusibwaako ku mu ddwaliro, abawandiisa n’abatendekebwa bakolagana mu kusomesa abayizi ba yunivasite eno n’abasawo. [4]

Pulogulaamu za Diguli esooka

[kyusa | kolera mu edit source]

Pulogulaamu zino wammanga zeeza diguli esooka eziweebwa: [5] [6] [7]

  • 1. Diguli mu By’obusawo ne Diguli mu kulongoosa (MBChB) .

Diguli eno eweebwa oluvannyuma lw’emyaka esatu oluvannyuma lw'okubuiibwa mu by'eddagala n'ebigezo mu kikula ky'omubiri gw'abantu, enkola y'obulamu bw'abantu, enkola n'entambula y'omubiri gw'abantu, emisomo gy'ebintu ebirina obulamu naye nga tosobola kubiraba na maaso go, emisomo ku ndwadde ez'enjawulo n'okuzekaanya, n'ekozesa y'eddagala ery'enjawulo nga kugobererwa emyaka ebiri egy’okusomesebwa ku kwekaanya n'okujanjaba abalwadde n'ebigezo mu kulongoosebwa obwabuli omu, okugaba eddagala, okujanjaba abaana n'eddwadde zaabwe, okujanjaba abakazi n'okubazaalisa, okujanjaba obulwadde bw'obwongo, okujanjaba amatu, emimiro n'enyiindo, okulongoosa obwongo, okujanjaba enddwadde z'amagumba, okulongooda enkuba y'omutima n'entambula y'omusaayi, okujanjaba obulwadde bw'ebitundu by'omusajja oba omukazi ebikozesebwa mu kufuka , n'eby'obulamu by'abantu bonna.

  • 2. Diguli mu Sayaansi Y’obujjanjabi (BNS) .

Diguli eno eweebwa oluvannyuma lw’okusomesebwa n’okugezesebwa okumala emyaka ena.

  • 3. Diguli mu Sayaansi mu by’okutekako omulwadde gaasi oba okumukuba eddagala singa abeera agenda kulongosebwa

Diguli eno eweebwa oluvannyuma lw’okusomesebwa n’okugezesebwa okumala emyaka ena.

Enteekateeka z’okusoma diguli ey'okubiri

[kyusa | kolera mu edit source]

Enteekateeka zino wamanga ez’okusoma diguli ey'okubiri zeziweebwa: [8] [9] [10]

Enteekateeka ezitegekeddwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Ogwekuminoogumu 2016, emisomo gino egigobererwa gyegyaali gitekebwa muntegeka.[11]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Olaka, Denis (6 November 2013). "Busitema University Faculty of Health Sciences Opens In Mbale". Uganda Radio Network (URN). Retrieved 10 June 2014.
  2. Template:Google maps
  3. Template:Google maps
  4. Ahimbisibwe, Patience (28 February 2011). "Busitema University to Start Medical School". Retrieved 10 June 2014.
  5. Busitema University (1 October 2018). "Undergraduate Programmes At Busitema University". Busitema University. Archived from the original on 1 October 2018. Retrieved 1 October 2018.
  6. Campus News (12 August 2013). "New Courses In Medicine At Busitema University". Uganda Campus Times. Retrieved 26 December 2014.
  7. Moses Talemwa, and Derrick Kiyonga (26 May 2013). "University Admission Cutoff Points For 2013". Retrieved 26 December 2014.
  8. Busitema University (1 October 2018). "Graduate Programmes At Busitema University". Busitema University. Archived from the original on 1 October 2018. Retrieved 1 October 2018.
  9. Campus News (12 August 2013). "New Courses In Medicine At Busitema University". Uganda Campus Times. Retrieved 26 December 2014.
  10. Moses Talemwa, and Derrick Kiyonga (26 May 2013). "University Admission Cutoff Points For 2013". Retrieved 26 December 2014.
  11. BUFHS (31 December 2015). "Academic Programmes: Upcoming Programmes". Busitema University Faculty of Health Sciences (BUFHS). Retrieved 16 November 2016.

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | kolera mu edit source]