Jump to content

Busoga United Football Club

Bisangiddwa ku Wikipedia

Busoga United Football Club, era eyitibwa Busoga United FC, ttiimu ya mupiira okuva mu ttawuni y'e Jinja, mu Disitulikiti y’e Jinja, mu kitundu ky'e Busoga, mu kitundu ky’Obuvanjuba bwa Uganda, nga mu kiseera kino bazannyira mu kibinja kya Uganda Eky'okusatu oluvannyuma lw'okubeera nga baasalibwaako okuva mu Kibinja kya FUFA Big league.[1] [2] [3]

Busoga United Football Club nga mu bumpi mpi bakiwandiika nga BUFC kiraabu empandiise wansi w'ekibiina Ekidukanya Omupiira mu Uganda ekya FUFA, era nga kiraabu y’omupiira ezannyira mu kibinja kya Uganda eky'okusatu, ng'eno yatandikibwaawo mu 2012 ng'eyitibwa Kirinya-Jinja SSS.

Kirinya-Jinja SSS yakyuusa erinya nebatandika okugiyita Busoga United FC mu 2019. Ttiimu eno y'emu ku kiraabu ezaali zisinga okubeera n'abawagizi abangi mu bitundu by’e Busoga, ng'eno waliwo disitulikiti ezisoba mu munaana ng’era yali erina abawagizi abasoba mu 4,000,000.

Busoga United FC baalina ofiisi zabwe ku kisaawe ky'e Kakindu e Jinja, ng'era emipiira gyaayo egya liigi y’okuntikko yali egitegekera ku kisaawe ky'e Kakindu, ng'amaka gaayo nga kino ky'ali kituuza abawagizi abawera 45,000.

Likodi n'ebibalo

[kyusa | kolera mu edit source]
Omuwendo Erinnya Omwaka gw’okuzaalibwa

Ttiimu eriwo kati yali yakuva mu Gwekumi nga 18, 2022. [4] [5]

Abazannyi abaliwo kati

[kyusa | kolera mu edit source]

 

Abaali bagidukanya

[kyusa | kolera mu edit source]

Ensengeka ya ttiimu okuviira ddala ku w'okutinko

[kyusa | kolera mu edit source]

Ttiimu eno ekozesa ekisaawe kya Kakindu ekituuza abantu 4,500 era nga kino bakikozesa ne kiraabu eziwerako ezisinganibwa mu bitundu by'e Busoga okuli Bul FC, Jinja Municipal Council Football Club. [6] [7]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://kawowo.com/2025/06/21/three-former-topflight-clubs-demoted-further-to-division-three/
  2. KJSS FC (21 June 2018). "About Kirinya–Jinja SSS FC". Kirinya–Jinja Secondary School FC (KJSS FC). Archived from the original on 25 June 2018. Retrieved 21 June 2018.
  3. "Busoga United FC - BUL FC" (in American English). 2023-08-27. Retrieved 2024-08-16.
  4. "Busoga United Players, 22-23 Squad - AiScore". www.aiscore.com. Retrieved 2022-10-18.
  5. "Busoga United FC - Soccer - Team Profile - Results, fixtures, squad, statistics - Global Sports Archive". globalsportsarchive.com. Retrieved 2024-08-16.
  6. "Kakindu stadium in ownership controversy". Monitor (in Lungereza). 2021-02-08. Retrieved 2022-10-27.
  7. "StarTimes UPL: Busoga United to host URA at Kakindu Stadium | The Touchline Sports" (in American English). 2022-01-31. Retrieved 2022-10-27.

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | kolera mu edit source]