Jump to content

Busolwe Public Library

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Busolwe Public Library, oba BPL, terekero lya bitabo etono mu kitundu erisinganibwa ku kyalo Busolwe, mu buvanjuba bwa Uganda . Eterekero lino lirimu amasomero gamirundi ebiri n’ekifo ekivunaanyizibwa ku nkulaakulana y’abaana abato (ECD) okusobola okutumbuula obuwangwa bw’okusoma okutwaliza awamu mu kitundu n’okukola ng’eky’okugaziya okuyiga okusuka mu kibiina. [1] Kitundu ku kibiina ekigatta amaterekero g'ebitabo ekya Uganda Community Libraries Association (UgCLA).

Busolwe Public Library (BPL) lyatandikibwawo ekibiina ekigatta ennimi ekya Lunyole Language Association (LLA) mu 1996. BPL ly'eterekero lyokka ery’omukitundu eriweereza Disitulikiti y’e Butaleja mu Bitundu by'Omubugwanjubwa bwa Uganda nga lirimu abantu abasoba mu 200,000. Mu byafaayo byayo byonna, eterekero lino lifunye omukisa gw'okukolagana n'ebibiina ebiwerako ebisangibwa ebweru wa Uganda, okuli Peace Corps ne Go Global University of British Columbia. Enkolagana y’ensi yonna y’eraga nti eterekero ly'ebitabo lino ligenda mu maaso n’okukulaakulana n’obuwanguzi.

Ekirubirirwa ky’eterekero ly’ebitabo lino

[kyusa | kolera mu edit source]

Olw’okuba ebitabo tebitera kusangibwa mu maka aga bulijjo mu Busolwe, BPL egenderera okutumbuula obuwangwa bw’okusoma okutwaliza awamu mu kitundu. Era enoonya okuwereza ng’eyongereza ku kuyiga okusuka ku bibiina nga ng'egaba ebitabo by’amasomero eri abayizi abatabifuna nga bali ku masomero ne awaka gyebabeera.[2]

Olw’okukuŋŋaanya ebitabo ebinene ennyo mu lulimi z'oluzaaliranwa Olunyole, BPL esuubira okuyambako mu kukuuma olulimi luno, nga luno lwe lumu ku nimi enyingi eziri mu katyabaga k’okusaanawo ez'e Niger ne Congo mu mawanga agali mu bukiikaddyo bwa Bw'eddungu lya Sahara mu Afrika.

Abayimba b’eterekero ly’ebitabo lino

[kyusa | kolera mu edit source]

Abayima ba BPL basinga kubaamu bayizi, basomesa, n’abakugu abalala abakwatibwako abamala ebiseera byabwe eby’eddembe nga basoma. Abaana abato abali wansi w’emyaka 7 nabo bajja muterekero ly'ebitabo lino okuwuliriza emboozi ezisomebwa mu ddoboozi ery’omwanguka omukuumi w’eterekero ery’ebitabo n’abakola obwa nakyewa. Ku kigero, abantu abasoba mu 30 b’omu kitundu bajja mu terekero lino buli lunaku okusobola okusoma n’okuyiga.

Ebitongole byebakolagana nabyo

[kyusa | kolera mu edit source]
Ekibiina ekigatta amaterekero g'ebitabo mu Uganda (UgCLA)

Ekibiina ekigatta amaterekero g’ebitabo ekya Uganda Community Libraries Association (UgCLA), kikulira omukutu gw’amaterekero g’ebitabo mu ggwanga. Nga memba wa UgCLA, BPL eweebwa ssente buli mwezi okusasula omukuumi w’eterekero ly’ebitabo lino omujjuvu era n’okugula ebitabo n’ebikozesebwa. UgCLA era etegeka emisomo eri abakuumi b’amaterekero g’ebitabo okutendekebwa emirundi ebiri omwaka n’emisomo emirala egy’enjawulo omwaka gwonna nga giteeka esira ku bukodyo n’enkola ez’enjawulo ez’okuyiga.

Lunyole Language Association (LLA)

Ekibiina ky’olulimi Olulunyole (LLA) kyatandikibwaawo mu 1964 okutumbuula ennyo enkozesa y’Olunyole mu Uganda. Ekibiina kya LLA kiwanirira okuwandiika n’okufulumya ebitabo ebikubiddwa mu Lunyole. BPL yenyumiriza mu kutegeka ebitabo by’emboozi z’olulimi Olunyole ebisoba mu 100 eby’abaana.

Yunivasite y’e British Columbia (UBC) .

Yunivasite ya British Columbia (UBC) yatandika enkolagana ne BPL okuva mu 2008, era esindika bannakyewa abayizi okuyita mu nteekateeka yaayo eya Go Global International Service Learning Program. Okuva mu kukolera awamu, abantu b’omu kitundu n’abazirakisa ab’ensi yonna banyumirwa omukago gw'okukolaganira awamu okuvaamu ebibala, ekivuddeko okusituka kwa pulojekiti enyingi eza BPL eziriwo kati mu kitundu.

Amasomero g’omu kitundu

Eterekero lino era likolagana n’amasomero mangi ag’omu kitundu okutumbuula eterekero n’obuwangwa bw’okusoma nga bayita mu pulojekiti ez’okukolagana. Pulojekiti zino zitandikira ku kusoma emboozi, emisomo egiyigiriza ku by'okunyumya akaboozi k'ekintu ekikulu, okutuuka ku mpaka z'okuvuganya mu kusoma.

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Miao, Fengchun; Mishra, Sanjaya; McGreal, Rory (2016). Open Educational Resources: Policy, Costs, Transformation. BC, Canada: UNESCO. p. 196. ISBN 978-92-3-100148-2. Retrieved 8 August 2017.
  2. {{cite news}}: Empty citation (help)"Library introduces local language health service" (Case Study).

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | kolera mu edit source]