Jump to content

Butikkiro

Bisangiddwa ku Wikipedia
Butikkiro
dwelling, house
EgwangaYuganda Kyusa
Located in the administrative territorial entityKampala Kyusa
Coordinate location0°18′15″N 32°33′54″E Kyusa
Heritage designationNational Cultural Site of Uganda Kyusa
Map

Butikkiro ye maka ga Katikkiro wa Buganda mu Uganda mu butongole.[1][2][3] [4] Butikkiro era kikola ng’ekifo awabeera okukakasa okusembayo kw’omuntu yenna alondeddwa mu ofiisi ya Katikkiro. Wano omuntu alondeddwa alina okunyweza n’okwanjulira omuggo gw’obwakabaka (Ddamula) nga gumaze okumukwasibwa. Singa Katikkiro alondeddwa alemererwa okutuusa Ddamula eri Butikkiro, tasobola kwetwalira mulimu gwe n’akolera ku lwa Kabaka.

Butikkiro esangibwa mu Kampala, mu kitundu ky’e Mengo, okwolekera Twekobe.[5] [6]

Ebyafaayo n’ennono

[kyusa | kolera mu edit source]

Kabaka wa Buganda takkirizibwa kubeera mu Twekobe singa Katikkiro wa Buganda aba taliiwo mu Butikkiro.[7][1][8][9]

Oluvannyuma lwa Kabaka okukwasa Katikkiro wa Buganda eyaakalondebwa Ddamula (omuggo gw’obwakabaka) Katikkiro yeeyama okubeera omwesigwa eri Kabaka era n’asuubiza okukola emirimu egyimuweebwa.[10][11] Katikkiro alina okukwata Ddamula okutuusa lw’atuuka ku Butikkiro, ng’akuumibwa ab’ekika kye okulemesa omuntu yenna okuva mu kika ekirala okugiwamba nga tannatuuka. Nga atuuse ku Butikkiro, Katikkiro akakatibwako okwolesa okusiima eri ab’ekika kye ng’abategekera ekijjulo.[10]

Mu 1966, Butikkiro yali kimu ku bintu bya Buganda ebyawambibwa gavumenti ku mulembe gwa Milton Obote ng’obwakabaka buggyiddwawo mu Uganda. [12]

Mu 1997, gavumenti eyakulemberwa Yoweri Museveni yazzaayo ebintu ebyaboyebwa mu bufuzi bwa Obote nga ne Butikkiro mw’ali. Buganda yakkiriza gavumenti ya Uganda okusigala nga epangisa Butikkiro, kubanga yali efuuliddwa ekifo eky’okunoonyereza ku siriimu mu Uganda. [12] Kyokka tewali ndagaano ntongole ya bupangisa yassibwawo wakati wa gavumenti ya Uganda ne Buganda. [12]

Mu mwaka gwa 2002, gavumenti ya Uganda yakkiriza okuzimba Butikkiro empya okuva ekizimbe ekyasooka okumpi ne Twekobe bwe kyali kibaddemu ekitongole kya Uganda Joint Clinical Research Centre (UJCRC) okuva mu August 1993.[1][8][2][13]

Mu 2003, aba Lukiiko baakubaganya ebirowoozo okuteesa oba Buganda yeyongere okupangisa oba eguze Butikkiro eri gavumenti ya Uganda, eyali tesasudde Buganda ssente zonna. Kino kyali kimenya endagaano eyakolebwa mu 1993 eyalambika nti gavumenti yali yakusasula ssente z’obupangisa obukadde bwa siringi za Uganda 48 buli mwaka, enteekateeka eno etatekebwa mu nkola.[8][14][15][9][2][16][17][12]


Kabaka Mutebi yakkiriza amagezi gano, kubanga n'emikolo gyonna egy’obuwangwa bwa Buganda egyikolebwa ku Butikkiro enkadde kyali kisoboka okugyikolera mu Butikkiro omuggya. Okugatta ku ekyo, UJCRC yali etaddewo ebyuma ebikozesebwa nga kyalibadde kizibu okubisengulwa.[12]

Oluvanyuma lw’okulungamya kuno, Kabaka Muwenda Mutebi II owa Buganda yalagira Katikkiro Joseph Ssemwogerere okukola endagaano ya liizi ya Butikkiro ey’emyaka 49, eyatuusibwa ng’ayita mu bbaluwa entongole eyatuusibwa omwami William Matovu, omuwandiisi omukulu owa Kabaka ow’ekyama.[18][19]

Akakiiko ak’awamu akalimu abakungu ba gavumenti ya Buganda n’eya Uganda katondeddwawo okumaliriza enteekateeka z’okuzimba Butikkiro omuggya.[13] Ttiimu ya Buganda era yaweebwa omulimu gw’okusalawo amabanja g’obupangisa bwa gavumenti ya Uganda okuva lwe yewangamya mu Butikkiro mu 1993.[13] Gavumenti yali eteseteese obukadde bwa sillingi za Uganda 200 okusasula ebbanja eryo.[18]

Ttiimu ya gavumenti ya Uganda yasooka kukulemberwa Gilbert Bukenya, oluvannyuma n’asikizibwa Teckler Kinalwa, omuwandiisi ow’enkalakkalira mu ofiisi ya Pulezidenti wa Uganda.[13]

Ttiimu ya Buganda yalimu omugenzi Godfrey Kaaya Kavuma (omumyuka wa Katikkiro era Minisita w’ettaka n’ebintu), JB Walusimbi (Minisita w’ebyensimbi, oluvannyuma Katikkiro), J.W. Katende (Ssaabawolereza wa Gavumenti), ne Apollo Makubuya (Minisita w’eggwanika).[13]

Mugwomusanvu 2003, Oweekitiibwa Joseph Mulwanyammuli Ssemwogere, Katikkiro wa Buganda, yayanjula pulaani ey'okuzimbibwako Butikkiro omuggya,[9] eyafunibwa Gilbert Bukenya.[9][2][16]

Mu 2005, ekiggya nga kya yiika 6 nga wewali aw'okuzimbwa Butikkiro omuggya kyazuulibwa Minisita wa Buganda Zimbe ku Plot 749 ku Ring Road, okwolekera Olubiri lw’e Mengo.[1][8]

Oluvannyuma mu 2005, gavumenti ya Uganda yasasula obukadde bwa sillingi za Uganda 450 mu mabanja agaakunganyizibwa olw’okuwamba Butikkiro, Makindye Army Barracks, ne kkooti ensukkulumu okuva nga 1 August 1993 okutuuka mu 2005. Okusasula kuno kwakolebwa nga bayita mu ceeke eyayanjulwa I. Kabanda, Ssentebe w’akakiiko ka Buganda Land Liase Committee. [20] [15] [21] [5]

Ekitongole ki Uganda Joint Clinical Research Centre kyasengulwa nekidda mu kifo ekipya ku lusozi Lubowa, ku Plot 101 Entebbe Road mu Uganda. [22]

Enkaayana eziriwo

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu 2002, Abazukulu ba Buganda (ekibinja ky’abavubuka ba Baganda) baalumiriza nti abakungu b’Olukkiko baali baaguza gavumenti Butikkiro omukadde. Bino byasambajjibwa Godfrey Kaaya Kavuma, eyali omumyuka wa Katikkiro mu kiseera ekyo.[7]

Mu 2003, abasawo b’ekinnansi baawakanya nti Butikkiro tasaanidde kukyusibwa okutuusa nga Katikkiro agisenzemu n’akola emikolo gy’ekinnansi egyetaagisa. Bakakasizza nti singa emikolo gino tegikoleddwa, Ronald Muwenda Mutebi, Kabaka wa Buganda mu kiseera ekyo, talikkirizibwa mu Lubiri lwa Twekobe.[8]

Abaganda abamu baakalaatira gavumenti ya Uganda okukozesa ensimbi eziweebwayo okusasula amabanja okuzimba ebizimbe bya UJCRC ku ttaka elyawebwaayo Kabaka, elisangibwa okumpi ne Lubaga Social Centre.[8] Abalala baalungamya nti gavumenti ezimbe Butikkiro omuggya mu kifo ky’okusasula Buganda. [8]

Ebijulizibwako

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 4 "Butikkiro site set". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2023-10-30. Cite error: Invalid <ref> tag; name ":0" defined multiple times with different content.
  2. 1 2 3 4 "Bukenya presents new Butikkiro plans". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2023-10-30. Cite error: Invalid <ref> tag; name ":1" defined multiple times with different content.
  3. "Kabaka's 25-year journey". Monitor (in Lungereza). 2021-01-12. Retrieved 2023-10-30.
  4. Jjuuko, Denis (2019-05-19). "Katikkiro Mayiga's six years of restoring Buganda's glory". The Observer - Uganda (in British English). Retrieved 2023-10-31.
  5. 1 2 "Kabaka pays workers arrears". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2023-10-30. Cite error: Invalid <ref> tag; name ":2" defined multiple times with different content.
  6. "Katikkiro Charles Peter Mayiga: Lover of nature and literature". Monitor (in Lungereza). 2021-01-08. Retrieved 2023-10-30.
  7. 1 2 "Butikkiro not sold – Kavuma". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2023-10-30. Cite error: Invalid <ref> tag; name ":3" defined multiple times with different content.
  8. 1 2 3 4 5 6 7 "Mengo in row over Butikkiro". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2023-10-30. Cite error: Invalid <ref> tag; name ":4" defined multiple times with different content.
  9. 1 2 3 4 "The Butikkiro lease should be five years!". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2023-10-30. Cite error: Invalid <ref> tag; name ":5" defined multiple times with different content.
  10. 1 2 "Katikkiro Mayiga gets instruments of power". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2023-10-30.
  11. "Transfer of royal mace". Monitor (in Lungereza). 2021-01-05. Retrieved 2023-10-30.
  12. 1 2 3 4 5 "A Wise King In Buganda". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2023-10-30.
  13. 1 2 3 4 5 "Govt, Mengo Plan For New Butikkiro". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2023-10-30. Cite error: Invalid <ref> tag; name ":8" defined multiple times with different content.
  14. "'We Can Lease The Butikkiro'". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2023-10-30.
  15. 1 2 "Pay Mengo sh450m rent – MPs". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2023-10-30. Cite error: Invalid <ref> tag; name "Pay Mengo sh450m rent – MPs" defined multiple times with different content.
  16. 1 2 "Bukenya To Get Mengo Report On Butikkiro". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2023-10-30. Cite error: Invalid <ref> tag; name ":9" defined multiple times with different content.
  17. "Lease Butikkiro, Bataka Tell Mutebi". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2023-10-30.
  18. 1 2 "Mutebi wants Butikkiro sold off". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2023-10-30. Cite error: Invalid <ref> tag; name ":10" defined multiple times with different content.
  19. "Don't question Kabaka – Nadduli". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2023-10-30.
  20. "In Brief". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2023-10-30.
  21. "Sh112m lost in certificate sale". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2023-10-30.
  22. "Buganda starts Mengo renovation". Monitor (in Lungereza). 2021-01-17. Retrieved 2023-10-31.