Bwola


Bwola era agamanyikiddwa nga Acholi bwola mazina gabuwangwa agasibuka mu Baacholi mu Bukiikakkono bwa Uganda . Gazinibwa ku mikolo egy’enjawulo n’okuyimbibwa mu maaso g’abebitiibwa, omuli Rwot n’abaami. Amazina gano gatera okwolesebwa nga bateeka abaami abapya oba ku mikolo egy’enjawulo egy’obwarwot wa Acholi. [1] [2]
Ebyafaayo
[kyusa | kolera mu edit source]
Mu kusooka gaali gazinibwa eri Rwot n'abebitiibwa bokka, Bwola kati yagaziyizibwa era kati gazinibwa eri n'abakulembeze b’ebyobufuzi n’ebikonge. Bwola emanyiddwa ng’amazina g’obwarwot bwa Bacholi, era kabonero ka kitiibwa nga mu buwangwa gabiibizibwa ku mikolo gy’abalangira. [3] Kikola kinene nnyo mu kuteekawo abaami abapya oba enkuŋŋaana endala zonna ez’obwarwot.
Enkola ya Bwola efunye okusoomoozebwa omuli n’okuwera ebitundu by'ebisolo ebimu ebitongole ebikulu ennyo mu mazina gano, bwe kityo ne kiteeka mu kabi okukuuma obuwangwa bwago. [4][5][6]
Engeri gy'egabiibizibwamu
[kyusa | kolera mu edit source]Bwola emanyiddwa olw'ebivuga eby'enjawulo nga ebita agayitibwa "Larakaraka" n'engoma emanyiddwa nga "Jagi". Abazinyi beeyooyoota mu ngoye ez’ekinnansi omuli ekyooya kya maaya ekiteekebwa ku mutwe, olugoye olweru olusibiddwa mu kiwato kyabwe, n’endege z'okumagulu ez'ongera okunyumisa mu ntambula zaabwe nga babiibya. [7]
Amazina gano gazinibwa abasajja n’abakazi mu bibinja eby’enjawulo. Ekibinja ky’abasajja kye kisooka okubiibya, ne kiddirirwa eky’abakazi. Amazina gano gakulemberwa ekibinja ky'abasajja abakuba ebita n'obugoma.[8] Abazinnyi babiibya mu mwetoloolo ng’abasajja batambula badda ku ddyo ate abakazi ne batambula badda ku kkono. Abazinyi batambuza ebigere byabwe mu ngeri y'omudigido naye nga omubiri ogwa waggulu gusigala wamu.
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://www.universaltongue.com/dance-style-aa
- ↑ https://ebrary.net/139190/education/bwola_larakaraka_acholi_northern_uganda
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2024-01-08. Retrieved 2026-01-23.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Bwola and Larakaraka of the Acholi OF NORTHERN UGANDA". Ebrary. Retrieved 2024-01-08.
- ↑ https://www.universaltongue.com/dance-style-aa
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/life/outlawed-animal-parts-spell-death-of-bwola-dance--3511892
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2024-01-08. Retrieved 2026-01-23.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://nilepost.co.ug/index.php/news/202925/the-bwola-dance-that-initiates-children-into-the-acholi-tradition