Byarugaba Grace Isingoma
| Ekikula | mukyala | |
|---|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Uganda | |
| Yazaalibwa nga | 1962 | |
| Omulimu | munnabyabufuzi | |
Byarugaba Grace Isingoma yazaalibwa 15 Ogwomusanvu 1962 Munnayuganda munnabyabufuzi eyaweereza mu Paalamenti ya Uganda ey'omwenda wansi w'ekibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement, ng'akiikirira Disitulikiti y'e Isingiro.[1]
Eby'obufuzi bye
[kyusa | kolera mu edit source]Ono yali ssentebe w'akakiiko akavunaanyizibwa ku bakozi ba gavumenti ne gavumenti ez’ebitundu era n’awa amagezi eri Paalamenti nti alipoota y’akakiiko akakola ku bakozi ba gavumenti ne gavumenti ez’ebitundu egaanibwe nga batunuulidde okusaba kwa Lord Mayor Lukwago.[2] Yaweerezaako ku kakiiko k’ebyobugagga eby’omu ttaka nga yali omu ku babaka abatiisatiisa okulemesa embalirira ya Minisitule y’amazzi n’obutonde bw’ensi okuggyako ng’okuwera obuveera kuteekeddwa mu nkola.[3] Kino kyaliwo mu kiseera ky’okwekenneenya enkola ya baminisita ey’omwaka gw’ebyensimbi 2011/2012 eyatuuzibwa mu Palamenti.[3] Ababaka ba Palamenti ensonga eno bagikwata n'obwegendereza olw'obulabe obuleetebwa akaveera ku butonde bw’ensi.[3]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]- Olukalala lw’abakiise mu Palamenti ya Uganda ey'omwenda
- Justine Ayebazibwe
- Paalamenti ya Uganda
- National Resistance Movement
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-10-15. Retrieved 2025-09-20.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://ugandaradionetwork.com/story/parliament-recommends-lukwago-kcca-petition-be-heard-afresh
- 1 2 3 https://allafrica.com/stories/201108050766.html
Ebijuliziddwa wabweru wa Wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- Abantu abalamu
- Abantu okuva mu Disitulikiti y’e Isingiro
- Abaakiika mu Palamenti ya Uganda ey'omwenda
- Abakyala abaakiika mu Palamenti ya Uganda
- Bannabyabufuzi abakyala mu Uganda mu kyasa 21
- CS1 maint: archived copy as title
- Bannabyabufuzi mu Uganda
- Abaazaalibwa mu 1962
- Ababaka ba Paalamenti ya Uganda ey'omwenda