CSBAG
Civil Society Budget Advocacy Group nga mu bumpi mpi bakiwandiika nga CSBAG kibiina kya Uganda ekitali ku musingi gwa kukola amagoba ekyatandikibwawo mu 2004 okugatta ebibiina by’obwannakyewa mu bitundu (CSOs) ku mutendera gw’eggwanga ne disitulikiti n’ekigendererwa eky’okuwaliriza gavumenti ku kukungaanya ebikozesebwa n'okuteeka munkola byo ebyetagisibwa.
Okuva lwe kyatandikibwaawo, CSBAG ebadde ekwata ku nkola y’embalirira mu Uganda ng’eraba nti embalirira z’ebitundu n’ez’eggwanga zirimu endowooza z’abaavu era nga zifaayo ku kikula ky’abantu. [1]
Ebikikwatako
[kyusa | kolera mu edit source]CSBAG yatandikibwawo mu 2004 ekiitongole eyivunaanyizibwa ku Bitongole ebitadukannyibwa Gavumenti nga kikulemberwamu Uganda Debt Network (UDN), Uganda National NGO Forum (UNNGOF), Forum for Women in Democracy (FOWODE) ne Oxfam GB mu Uganda .
Enkolagana eno yatondebwaawo olw’okwagala okusikiriza enkola za gavumenti awamu n’okwetaba obulungi mu kuteekawo ebikulu mu mbalirira y’eggwanga nga bakolagana nnyo ne Minisitule y’Eby'ensimbi, Enteekateeka n’Enkulaakulana y’Ebyenfuna (MoFPED). [2] [3]
Mu 2013, ekibiina kya CSO kyalondebwa okukulembera akakiiko akafuzi akavunaanyizibwa ku bwerufu mu mbalirira okuva mu MoFPED. [4]
Mu 2014, CSBAG yakkirizibwa mu bibiina bibiri ebikola ku bitongole kya gavumenti: ekibiina ekikola ku kitongole ekivunaanyizibwa ku By'embalirira n’ekibiina ekikola ku Mirimu n’Eby'entambula. [5]
Emirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Ebirubirirwa
Ekirubirirwa kya CSBAG kiri: Uganda erimu embalirira etunuulidde abantu esa ekitiibwa mu bantu.
Byebagoberera
Ekigendererwa kya CSBAG kiri: Okukola okulaba ng’okukung’aanya, okugaba n’okukozesa eby’obugagga bizingiramu abantu bonna eri Uganda ekyusiddwa. [1]
Byebatunulidde okutukako
Byebatunulidde okutuukako ng'aba CSBAG bye bino:
- Okusikiriza okusalwo kwa Gavumenti ku ky'okuwaliriza ku kukungaanya ebikozesebwa n'okuteeka munkola byo ebyetagisibwa munkulakulana
- Okulwanirira okwongera obwerufu n’obuvunaanyizibwa mu bintu ebikulembezebwa mu ggwanga, ensimbi n’ensaasaanya ku mitendera gwonna.
- Okuzimba n’okunyweza obusobozi bwa CSBAG okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwayo.
Byebakola
Emirimu emikulu egya CSBAG gye gino:
- Okuzimba obusobozi bwa banaansi n’ebibiina by’obwannakyewa okukwatagana obulungi n’enkola z’eby'enfuna n’embalirira ezituukana n’eby'etaago byabwe. [6]
- Okukungaanya n’okutegeka okwetaba kwa banaansi okw’amakulu mu nkola z’embalirira n’okusitula obuvunaanyizibwa obukulemberwa abantu aba wansi. [7]
- Okukuuma enteeseganya ne Gavumenti okulaba ng’enkola z’eby'ensimbi n’enkola z’embalirira biwagira abaavu, bikwata ku kikula ky’abantu era nga biwangaala. [8]
- Okukola okunoonyereza okunene ku mbalirira n’enkola okutumbula obusobozi bwa CSBAG okufuga okusalawo ku mbalirira.[9]
- Okutondawo okumanyisa n’okutegeera kw’abantu ku nsonga ezikwata ku mbalirira okusobola okwanguya ebibeera by'ogeddwa ku by’embalirira.[10]
Disitulikiti zebatekako esira
Disitulikti CSBAG zebasinga okutekako esira kuliko zino; Sheema, Kibaale, Agago, Abim ne Kibaale .
Obwamemba
[kyusa | kolera mu edit source]Webwatukira mu Gwomukaaga 2015, enkolagana yalina kumpi abantu 78 abeegatita mu kibiina kino Ekibiina Ky'obwanakyewa nga muno mulimu mu birala bino wamanga:
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]- Eby'enfuna bya Uganda
- Minisitule y’Eby'ensimbi, Enteekateeka n’Enkulaakulana y’Eby'enfuna
- Enguzi mu Uganda
Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 "Introduction". Civil Society Budget Advocacy Group. Archived from the original on 2015-08-12. Retrieved 2015-09-26.
- ↑ "Member: csbag_resourcentre". LibraryThing.
- ↑ "Civil Society Budget Advocacy Group: Promoting a people-centred budget". Gender Links. Archived from the original on 2015-09-27. Retrieved 2015-09-26.
- ↑ "ANNUAL REPORTS". Civil Society Budget Advocacy Group. Archived from the original on 2015-07-12. Retrieved 2015-07-11.
- ↑ "AG cautions CSOs against criticising Gov't". New Vision. Archived from the original on 2015-07-05. Retrieved 2015-09-26.
- ↑ "Strengthening CSO's capacities for effective budget advocacy". Civil Society Budget Advocacy Group (Blog). Archived from the original on 2015-09-27. Retrieved 2015-09-26.
- ↑ "CSBAG wants parliament to expedite passing of public finance bill". Radio One. Archived from the original on 2015-09-27. Retrieved 2015-09-26.
- ↑ "Civil society budget advocacy group is proposing the re-introduction of graduated tax". WBS TV. Archived from the original on 2015-09-27. Retrieved 2015-09-26.
- ↑ "'Punish gov't agencies that return money to consolidated fund'". New Vision. Archived from the original on 2015-09-27. Retrieved 2015-09-26.
- ↑ "CSOs advise on budget". Sunday Monitor. Archived from the original on 2015-09-27. Retrieved 2015-09-26.