Jump to content

Calvin Kabuya

Bisangiddwa ku Wikipedia
Calvin Kabuya
Omuzannyi w'omupiira ogw'ebigere Kyusa Wikidata
Omuntu Kyusa Wikidata
Ekikulamusajja Kyusa Wikidata
Ensi y’o­bu­tuu­zeSwiiden, Uganda Kyusa Wikidata
Country for sportUganda, Swiiden Kyusa Wikidata
Yazaa­lib­wa nga28 Gwakusatu(Mugulansigo) 2003 Kyusa Wikidata
Gy'a­zaal­waHuddinge Municipality Kyusa Wikidata
Omulimuomusambi w′omupiira Kyusa Wikidata
Ekifo ky'a­zan­nya/ obumanyiforward Kyusa Wikidata
Azannyira mu KiraabuMjällby AIF Kyusa Wikidata
Omuzannyoomupiira ogw'ebigere Kyusa Wikidata
Height183 centimetre Kyusa Wikidata

Hope Calvin Ddamulira Kabuye (yazaalibwa 28 Ogwokusatu, 2003) muzannyi wa mupiira omukugu era azannyira mu kifo ky'amuwuwuttanyi mu ttiimu ya Varbergs BoIS, ku bbanja nga yatundibwa kuva mu ttiimu ya Mjällby AIF. Yazaalibwa Sweden, naye azannyira ttiimu y’eggwanga ey’omupiira eya Uganda.[1]

Kabuye yatandika okuzannya omupiira ku myaka 5 mu ttiimu y’abavubuka eya IF Olimpia nga tannagenda mu Sköndals IK, oluvannyuma n’amaliriza okufuna enkulaakulana ye mu ttendekero lya AIK mu 2015. Oluvannyuma lw’okukola ekkubo lye nga ayita mu tiimu zaabwe ez’abavubuka, yatandika okutendekebwa ne ttiimu yaabwe enkulu mu 2021. Nga 18 Ogwokusatu 2022, yakola endagaano ya ttiimu eyasooka ne AIK okutuusa muGwekkumineebiri gwa 2024, era ku lunaku olwo yawolebwa Vasalunds IF mu Ettan ku bbanja lya sizoni emu.[2]

Yaddayo mu AIK mu kiseera nga sizoni tannatandika mu Gwolubereberye gwa 2023, era n'azannya omupiira gwe ogwasooka mu tiimu y'abakulu mu mupiira ttiimu ya Svenska Cupen mwe yakubira ttiimu ya Varbergs BoIS ggoolo 3-0 nga 6 Ogwokusatu, 2023. Nga 29 Ogwokusatu 2023, yeegatta ku ttiimu ya Östersunds FK ku bbanja lya sizoni yonna mu Superettan.[3] Nga 6 Ogwekkumineebiri 2023, yakyusibwa n'agenda mu ttiimu ya Sandvicens IF ku ndagaano ya myaka 3. [4] Nga 14 Ogwekkumineebiri 2024, yakyusibwa n'agenda mu ttiimu ya Allsvenskan eya Mjällby AIF.[5]

Nga 7 Ogwokubiri 2026, Kabuye yalangirirwa ku KuPS.[6][7]

Omulimu gwe ogw’ensi yonna

[kyusa | kolera mu edit source]

Kabuye yazaalibwa Sweden, naye obuvo bwe buli Uganda. Mu Gwekkuminoogumu gwa 2023, yayitibwa mu mpaka za Sweden eza U20 mu mipiira egy’omukwano. [8] Yayitibwa mu ttiimu y'eggwanga ey'omupiira eya Uganda mu mipiira egy'okusunsulamu mu mpaka za Afrika eza 2025 mu Gwekkuminoogumu, 2024. [9]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. ↑ "Calvin Kabuye - Player profile 2026". www.transfermarkt.com (in Lungereza). Retrieved 2026-10-23.
  2. ↑ "A-lagskontrakt för Calvin Kabuye". News Powered by Cision (in Luswideni). 2022-03-18. Retrieved 2026-10-23.
  3. ↑ "Calvin Kabuye ut på lån under 2023 - allaaktier.se". Alla Aktier (in Luswideni). Retrieved 2026-10-23.
  4. ↑ "Artiklar och nyheter". AIK (in Luswideni). Retrieved 2026-10-23.
  5. ↑ Åberg, Christer ÅbergTextChrister (2024-12-17). "Rekordaffär för SIF när Kabuye lämnar för allsvenskan". Gefle Dagblad (in Luswideni). Retrieved 2026-10-23.
  6. ↑ "Calvin Kabuye lämnar Mjällby AIF – Mjällby AIF" (in Luswideni). 2026-02-07. Retrieved 2026-10-23.
  7. ↑ "Champions League Qualifiers Underway as Teams Fight for League Phase Spots". Pulse Sports Uganda (in Lungereza). 2026-08-12. Retrieved 2026-10-23.
  8. ↑ "Sent avgörande för Sverige". www.svenskfotboll.se (in Luswideni). 2023-11-19. Retrieved 2026-10-23.
  9. ↑ Bäckström, Joel BäckströmTextJoel (2024-11-20). "Landslagsdebut för SIF-anfallaren". Arbetarbladet (in Luswideni). Retrieved 2026-10-23.

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]