Carol Alyek Beyanga
Carol Alyek Beyanga (yazaalibwa 1979) munnayuganda omuwandiisi, munnamawulire era omuwi w'amagezi ku by'amawulire . [1] [2] Mmemba w'ekibiina ekigatta abawandiisi b'ebitabo ekya Uganda Editors Guild. [1] [2] [3]
Okusoma
[kyusa | kolera mu edit source]Carol alina diguli esooka mu by'obulamu okuva mu yunivasite e Makerere ne diguli eyookubiri mu by'amawulire okuva mu yunivasite ya Cardiff . [4] [5]
Emirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Carol Beyanga yakolako ng'omusunsuzi w'ebitabo ow'eddembe era omuwandiisi mu lupapula lwa Sunrise ne New Vision. [6] Mu 2003, yeegatta ku Daily Monitor, gye yakolera ng’omusunsuzi w'ebitabo omuto, omumyuka w’omuwandiisi w’ebifaananyi n’omuwandiisi wa pulojekiti ez’enjawulo. [6] Mu Gatonya 2015, Carol yalondebwa okubeera omuwandiisi omukulu owa Daily Monitor ng'adda mu bigere bya Don Wanyama. [6]
Carol awandiise era n’afulumya emiko mingi mu bulamu bwe bwonna. [7] [8] [9]
Obulamu bw’omuntu
[kyusa | kolera mu edit source]Carol Beyanga mufumbo ng'alina abaana babiri. [5]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 "Carol Alyek Beyanga". WAN-IFRA (in American English). Retrieved 2025-04-23.
- 1 2 "Muck Rack | For journalists and public relations". muckrack.com (in Lungereza). 2024-07-13. Retrieved 2025-04-23.
- ↑ Anyango, Jane (2023-10-18). "Journalism Department Holds Annual Media Convention 2023: Youth, Media & Communication Professionals Challenged to Harness Digital Media to Preserve Culture". Makerere University News (in American English). Retrieved 2025-04-23.
- ↑ "Carol Beyanga". Border Dialogues (in American English). Retrieved 2025-04-23.
- 1 2 "Carol Beyanga - Managing Editor, NMG Digital". NTV Uganda (in Lungereza). 2020-10-08. Archived from the original on 2025-08-02. Retrieved 2025-04-23.
- 1 2 3 Natabaalo, Grace (2015-02-20). "Carol Beyanga on her new job and ambitions as Daily Monitor's first female managing editor". African Centre for Media Excellence. Retrieved 2025-04-23.
- ↑ "Carol: Newsroom mentor who went down for that fledgling reporter". Monitor (in Lungereza). 2023-08-03. Retrieved 2025-04-23.
- ↑ "Grateful for 20 years at NMG; time to take a different route". Monitor (in Lungereza). 2023-07-31. Retrieved 2025-04-23.
- ↑ "Carol Alyek Beyanga". Monitor (in Lungereza). 2023-04-18. Retrieved 2025-04-23.