Carolyna Hutchings
| Ekikula | mukyala | |
|---|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Nigeria | |
| Erinnya eriweereddwa | Caroline | |
| Yazaalibwa nga | 26 Gwamukaaga(Ssebaaseka) 1980, 26 Gwamukaaga(Ssebaaseka) 1987 | |
| Gy'azaalwa | Maiduguri | |
| Number of children | 3 | |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza | |
| Omulimu | Omuzannyi wa firimu, film producer, interior designer, munnabyabufuzi, philanthropist | |
| Gyeyasomera | University of Calabar, University of Lagos, Edinburgh Business School | |
| Ebbanga ly'akoledde (okutandika) | 2004 | |
| Enfaanana y'enviiri | nzirugavu | |
| Personal pronoun | L484 | |
| IMDb ID | nm1855922 | |
Carolyn Hutchings (eyali amanyidwa nga Caroline Ekanem ne Caroline Danjuma) ye munnakatemba Omuscotland-Nigeria, muzannyi wa firimu, pulodyusa wa firimu, omukozi w'ebisenge, omusuubuzi, era omuzirakisa. Amanyiddwa nnyo olw'ebyo by'akoze mu bintu eby'enjawulo, omuli eby'amasanyu, okuzimba, okukola ebintu eby'omunda, n'amafuta ne gaasi.
Obulamu bw'obuto n'obuyigirize
[kyusa | kolera mu edit source]Carolyn yazaalibwa mu Scotland ne taata we Omuscotland ne maama we Omunigeria.[1][2] Ye mwana asooka mu baana basatu,[3] era yakulira mu Nigeria. Alina ddiguli mu by'obutonde n'enteekateeka y'ebitundu okuva mu Yunivasite y'e Calabar ne MSc mu International Law and Diplomacy okuva mu Yunivasite y'e Lagos. Yayongera okusoma MBA okuva mu Edinburgh Business School, Bungereza.[4]
Omulimu
[kyusa | kolera mu edit source]Chico Ejiro, ng'ayita mu Rita Dominic, yayanjula Hutchings mu bizineesi ya firimu mu Nigeria ng'ayita mu firimu ya Deadly Care eya 2004. Azannyira mu firimu endala ez'obuwanguzi, omuli Deadly Kiss (2004) , Missing Angel (2004) , The Captor (2006), Foreign Affairs, Real Love, The Twist, A Second Time ne The Beast and the Angel. Firimu ye eyasembyeyo ye Stalker, ng'azannyira wamu ne Jim Iyke ne Nse Ikpe Etim. Mu gwomunaana 2017, yaweebwa ekitiibwa olw'enteekateeka ze ez'okulwanirira eddembe ly'obuntu ezaali zeesigamiziddwa ku kuzimba obusobozi bw'abavubuka ba Nigeria okuva mu kibiina kya Pan-African. [5]
Mu 2022, Carolyn Hutchings yayingira ebyobufuzi ng'omuvuganya ku bwa Gavana mu ssaza ly'e Akwa-Ibom.[6]
Okuyamba abantu
[kyusa | kolera mu edit source]Carolyn ye mutandisi wa Hopeville Foundation, ekitongole ky'obwannakyewa ekyesigamye ku kuyamba abakyala aboolekaganye n'obuzibu mu kuzaala, abaana abalina obulemu mu kuzaala, n'okutumbula okusoma kw'abaana abawala n'okubayamba.[7]
Ebifaananyi bya firimu
[kyusa | kolera mu edit source]Carolyn Hutchings mw'azannyira mulimu:
- Stalker (2016) as Ella
- Cold Feet (2020) as Counsellor
- Come Alive (2021) as Meg
- Mr Badmus (2019)
- Minority Tension (2007)
- The Captor (2006) as Gina
- Deadly Kiss (2004) as Nina
- In the Cupboard
- Show Girls (2006)
- Chameleon (2004)
- 11 Days 11 Nights (2005) as Michelle
- Mass Destruction
- The Journalist (2006)
- Face of Africa (2005)
- Colors of Emotions (2005) as Zelda
- Missing Angel (2004) as Zarah
- Fake Liars
Obulamu obw'obuntu
[kyusa | kolera mu edit source]Carolyn yali yafumbirwa Musa Danjuma, muto w'eyali minisita w'ebyokwerinda, Theophilus Danjuma, mu 2007. Yazaala abaana basatu mu bufumbo buno.[8][9] Mu 2016, abafumbo bano baawukana.[10]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]- List of Nigerian film producers
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Tayo, Ayomide O. (26 June 2015). "Caroline Danjuma is 34 years old". Pulse GH. Archived from the original on 13 October 2016. Retrieved 23 June 2016.
- ↑ "Nollywood actress Danjuma turns 33". The Eagle Online. 26 June 2013. Retrieved 23 June 2016.
- ↑ "I have never compromise my body for money.......Caroline Ekanem Danjuma". Modern Ghana. Retrieved 23 June 2016.
- ↑ "Actress Caroline Danjuma to embark on MBA in Oil & Gas". Nigerian Voice. Retrieved 21 September 2016.
- ↑ "Caroline Danjuma Wins 2017 Mandela Award". The Tide. Nigeria. 11 August 2017. Retrieved 2 December 2017.
- ↑ "Actress Caroline Hutchings emerges Dep governorship candidate for Sowore's party, AAC, in Akwa Ibom". Ripples Nigeria. 19 July 2022.
- ↑ "HOPEVILLE FOUNDATION FOR WOMEN AND CHILDREN". Retrieved 21 June 2024.
- ↑ "Caroline Ekanem stages comeback". Vanguard. Lagos, Nigeria. 20 July 2013. Retrieved 25 June 2016
- ↑ "Caroline Danjuma & Husband Celebrate the 1st Year Birthday of their Daughter Elizabeth". Bella Naija. 4 October 2015. Retrieved 31 July 2016.
- ↑ "Caroline Danjuma's 10-Year-Old Marriage Crashes + Husband's Pregnant Mistress Set To Move In". Information Nigeria. 17 February 2016. Retrieved 24 June 2016.