Jump to content

Cecilia Ogwal

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Cecilia Barbara Atim Ogwal yazaalibwa nga 6 Ogwekumineebiri mu 1946, n'afa nga 18 Oguwooka mu 2024, nga yali munabyabufuzi Omunayuganda, omukyala munabizineensi ng'ate yeebuzibwako ku by'enzirukanya y'emirimu. Yeeyali Omubaka wa Paalamenti owa Konsitituweensi ya bakyala ey'e Dokolo. Yali omu kubaali ku kakiiko akakola amateeka okuviira ddala mu 1996 okutuusa weyafiira.[1]

Ebimukwatako n'okusoma kwe

[kyusa | edit source]

Cecilia Atim Ogwal yazaalibwa mu Disitulikiti ye Dokolo, etwale ly'Abagereza mu Uganda, ng 6 Ogwekumineebiri mu 1946. Yagenda ku masomero g'ebitundu eby'enjawulo mu Uganda. Mu 1967, ng'alina emyaka 21,yaweebwa ekifo ku University of East Africa mu Nairobi nga kati gyebayita Yunivasite y'e Nairobi okusoma Diguli mu by'okubala ebitabo. Yatikirwa okuva ku Yunivasiye y'e NairobI mu 1970. Alina ne satifikeeti mu by'okudukanya n'okumannya embeera z'abakozi okuva kutendekero Institute of Public Administration nga bwebaali baliyita ebiseera ebyo, naye nga kati balimannyi nga Uganda Management Institute. Alina satifikeeti endala bbiri okuli emu ng'esira eriteeka kunzikiriza y'abakatuliki nga yagigya kutendekero lya Haggai Institute, Singapore, ng'ate endala mu bya Public-Private Partnership,okuva mu Australia.[1][2]

Emirimu gye

[kyusa | edit source]
Cecilia Ogwal 2

Okuva mu 1979 okutuuka mu 1980, Ogwal yali akolera ku kitebe kya Uganda e Kenya, nga yaavunaanyizibwa ku bitongole eby'enjawulo okukwatagana mu kukomyawo abanoonyiz boobuda abanayuganda. Okuva mu 1980 mu 1981, yali akola ng'adukanya eby'emirimu mu kitongole kya Uganda Advisory Board of Trade. Mu 1982, yeeyali omu kubatandikawo Baanka ya Housing Finance, gyeyakolera okutuusa mu 1984. Yawerezaako nga ssentebe wa Uganda Development Bank, okuva mu 1981 okutuusa mu 1986.

Ogwal yatandika okwenyigira mu byobufuzi bya Uganda, ng'awereza nga saabawaandiisi w'ekibiina ky'ebyobufuzi ekya Uganda People's Congress (UPC) fokuva mu 1985 okutuusa mu 1992. Mu 1994, yaliko ku kakiiko akakolebwa okwekaanya ssemateeka abaaliwandiika n'okubunyisa ssemateeka wa Uganda owa 1995. Yasigala n'ebitiibwa bye ebyawagulu mu kibiina ky'ebyobufuzi ekya UPC okutuusa mu 2004. Mu kalulu ka 2006 aka Paalamenti, yawangulwa ku kifo kye ekya Munisipaali y'e Lira ekya mugibwako Jimmy Akena, mutabani w'eyatandikawo UPC Milton Obote. Mu 2011, Ogwal yeesimbawo era n'awangula ekifo ky'omukyala akiikirira Disitulikiti ya Dokolo eyali yakatandikibwawo.Mu kadde kano, yakyusa ekibiina ky'ebyobufuzi n'avuganya nga memba omujuvu ow'ekibiina kya Forum for Democratic Change.[1][2]

Atim Ogwal Cecilia Barbara

Emirimu gye mu Paalamenti

[kyusa | edit source]

Ogwal yali omu kubaali ku kakiiko ka Paalementi akavunaanyizibwa ku bwa kalabalaba n'okugonjoola ensonga ezeekuusa ku ttaka, mayumba, enkulakulana n'ebibuga, emirimu n'entambula n'okuteekera teekera ebitundu.[3] Yaliko ne kukakiiko k'eby'embalirira.[4]

Obulamu bwe n'okufa

[kyusa | edit source]

Mu 1969, ng'alina emyaka 23, Yawangula empaka z'onwa Nalulungu bwa Uganda.[2]

Ogwal yali mukyala mufumbo era maama eyalina abaana musanvu n'abalala beyakuza nga siy'abazaala.Yafa kirwadde kya kookolo e Buyindi nga 18 Ogusooka mu 2024 ng'alina emyaka 77.[5]

Laba ne bino

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | edit source]
  1. 1.0 1.1 1.2 https://web.archive.org/web/20150924064612/http://www.parliament.go.ug/mpdata/mps.hei?p=f&n=t&details=t&j=31.000000&const=Woman+Representative&dist_id=85.000000&distname=Dokolo
  2. 2.0 2.1 2.2 https://web.archive.org/web/20190502083930/https://www.monitor.co.ug/SpecialReports/ugandaat50/Ogwal--Beauty-Queen--who-turned-into--an-Iron-Lady/-/1370466/1506936/-/item/0/-/8jkljr/-/index.html
  3. https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=264
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2022-10-18. Retrieved 2022-12-12.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. https://www.independent.co.ug/veteran-opposition-legislator-cecilia-ogwal-is-dead/

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | edit source]