Jump to content

Centenary Bank

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Centenary Bank, ng'olumu eyitibwa Centenary Rural Development Bank Limited (CRDBL), bbaanka ya bya busuubuzi mu Uganda erina ebisaanyizo by'okukola okuva mu Bbaaka enkulu eya Uganda n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku bbanka z’eggwanga n'okulondoola ensaasanya ya ssente. [1]

Bbaanka eno yatandikibwawo mu 1983 ng’ekitongole ekiwola ssente ekya Centenary Rural Development Trust (CRDT), nga kyakolebwa Simeon Lutaakome, Hugh Francis Pulle, Paul Kateregga, Vincent Kirabo kya Maria, Emmanuel Mpande, ne John Ogutu. [2] Mu 1985, CRDT yatandika okuwa abantu empeereza y’eby'ensimbi. Bbaanka eno yafuuka bbaanka y’eby'obusuubuzi erina ebisaanyizo ebikola mu bujjuvu mu 1993, oluvannyuma lw’okufuna layisiinsi okuva mu Bbaanka enkulu eya Uganda. Webwatukira mu Gwokutaano 2016, Centenary Bank ye yali esinga obunene mu bbaanka z’eby'obusuubuzi mu Uganda. [3]

Mu Gwokutaano 2009, John Giles yava mu kifo ky'okubeera nga yeeyali Akulira Eby'emirimu, oluvannyuma lw’emyaka esatu ng'ali mu kifo kino. Akulira Eby'emirimu mu kiseera kino ye Fabian Kasi [4] Mu 2011, Centenary Bank yatongoza enteekateeka n’ekibiina kya World Bank Group okukulaakulanya looni mu by’obulimi mu Uganda. [5]

Mu 2017, Centenary yatongoza enkola empya ey'okuterekamu ne bbaanka, ng'eno yakulakulanyizibwa kampuni y’e Buyonaani eya Intrasoft International SA [6] era n’ekola omukago ne Mastercard okugaziya engeri empya eby’okugonjoola engeri gy'oyinza okuterekamu ssente ng'okozesa ssimu. [7] Mu Gwekumineebiri 2017, Centenary Bank yakola ddiiru ne WorldRemit okukiriza okukyusa okuva mu mpeereza y’okusindika ssente. [8] Mu Gwokutaano 2020, bbaanka yatongoza akawunti ez’amangu ezitaliiko mpapula eri abantu ba Uganda abatalina bbanka. [9]

Omusajja ng'ayita ku ttabi lya Centenary Bank

Mu Gwokusatu 2023, Centenary Rural Development Bank yagula MyBucks Bank Malawi, era neefuuka Centenary Bank Malawi, ng’erina amatabi agasukka mu munaana mu ggwanga.

Enkola y'emirimu

[kyusa | kolera mu edit source]

Bbaanka eno ekola ku by’ensimbi mu Uganda ng’okusingira ddala yeenyigira mu kutumbuula enkulaakulana ng’eyita mu kuwola looni eri abalimi b’omu b'omubyalo, abalongoosa ebiva mu by'obulimu, abasuubuzi abatono, abalina amakolero amatono, abayingiza eby'amaguzi mu ggwanga, n’ababitunda ebweru. Nga bwe yeenyigira mu bintu byonna ebya bbaanka z’eby'obusuubuzi, bbaanka erina ekitundu kinene ku kifo kyayo mu kisaawe ky’ensimbi entonotono mu kugezaako okutuukiriza ebyetaago by’abantu bangi sekinnoomu n’ebitongole bya bizineensi ebirina obusobozi obutono. Wetwatukira mu Gwekumineebiri 2021, eby’obugagga bya bbaanka eno byali obuwumbi bwa ssente za Uganda obutabalika (trillion) 4.8 ( nga bwe buwumbi bwa ddoola za Amerika 1.359), ng’emigabo gya bannannyini gyali obuwumbi bwa ssente za Uganda 789.52 (nga bwebukadde bwa ddoola za Amerika 222.78). [10] Webwatuukira 31 Ogwekumineebiri 2024, eby’obugagga bya bbaanka eno byonna byali byeyongedde okutuuka ku butabalika (trillion) bwa ssente za Uganda 7.11 ( nga bwebuwumbi bwa doola za ssente za Amerika 1.952). [11]

Wetwatukira mu Gwekumineebiri 2017, ekitebe kya Centenary Bank ekikulu kyali mu Kampala. EkizImbe ewasinganibwa ekitebe kyayo ekikulu kiyitibwa Mapeera House, ku Kampala Road okulinaana City Square. Bbaanka erina emikutu gy'amatabi gaayo 81 nga gali wamu n'ebyuuma ebifulumya ssente nga tewali abidukanya ebiwerera ddala 157 mu bifo ebiwera 115 mu bitundu b'omu Masekati, Buvanjuba, Bukiika ddyo ne mu Buvanjuba. Bbaanka yalina akawuunti 1,493,554 eziterekebwaako ssente.[12]

Mu Gwekumineebiri 2021, Centenary Bank yatongoza enkola ya Cente Platinum Mastercard, kaadi ekozesebwa mu kugyayo eri bakasitoma baawe abatereka omuwendo gwa ssente omungi. [13]

Ekibiina kya Centenary

[kyusa | kolera mu edit source]

Centenary Bank kitundu kya kampuni ya Centenary Group . Kino kisingaanibwaamu ebibiina by’amawanga amangi ag'enjawulo omu:

  • Centenary Bank Uganda Limited, bbanka ennene ey’eby'obusuubuzi mu Uganda
  • Centenary Technology Services Limited (Cente-Tech), kampuni y’amawulire n’empuliziganya, evunaanyizibwa ku mirimu gya kompyuuta mu kibiina kino. [14]
  • Centenary Foundation, ekibiina ekitali kya gavumenti ekitali ku musingi gwa kukola magoba, ekyavunaanibwa okutumbula n’okutuukiriza pulogulaamu z’ekibiina kino ez’embeera z’abantu.
  • Centenary bbaanka e Malawi . Bbaanka y’eby'obusuubuzi mu Malawi, ng’esinga kuvunaanyizibwa Centenary Group of Uganda ng’erina emigabo emitono egy’essaza ly’e Lilongwe erya Roman Catholic . [15]

Obwannannyini

[kyusa | kolera mu edit source]

Webwatukira mu Gwekumineebiri 2021, eby'obugagga bya bbaanka eno byaali bidukannyizibwa bwannanyini, obw'abakungu ba kampuni zino ezigoberera wamu n'abantu sekinoomu:[16]

Abalina obuyinza ku by'obugagga bya Centenary Bank
Eddaala Erinnya lya nnannyini Ebitundu ku kikumi eby’obwannannyini
1. 1. Obulabirizi bw'Abakatuliki mu Uganda
41.0
2. 2. Uganda Roman Catholic Secretariat
31.7
3. 3. Solidarité Internationale pour le Développement et l’Investissement, bbanka ya Bufalansa ekola ku by’okusiga ensimbi
10.5
4. 4. Triodos Sicav II–Triodos Microfinance Fund, kkampuni ya Triodos Bank yonna
7.5
5. 5. Triodos Custody BV, kkampuni ya Triodos Bank yonna
7.5
6. 6. Bannayuganda bana ssekinnoomu
1.8
Okugatta 100.00

Ebijjuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Bank of Uganda (31 March 2023). "List of Licensed Commercial Banks As At 31 March 2023" (PDF). Bank of Uganda. Retrieved 28 April 2024.
  2. EABW Staff (17 June 2012). "Uganda's Largest Bank Opens Towers". Retrieved 24 April 2014.
  3. Julian (20 May 2016). "The 8 Biggest Banks In Uganda (As At May 2016)". Naibuzz.com. Archived from the original on 31 July 2017. Retrieved 28 July 2017.
  4. Moses Talemwa (20 May 2009). "New era at Centenary as Giles bids farewell". Observer.ug. Archived from the original on 6 June 2020. Retrieved 6 June 2020.
  5. "Centenary Bank-World Bank partnership to benefit 30,000 farmers in Uganda". Reliefweb.int. 12 July 2011. Retrieved 6 June 2020.
  6. Tanya Andreasyan (9 January 2017). "Centenary Bank live with new core banking system, Profits". Fintechfutures.com. Retrieved 6 June 2020.
  7. "Centenary Bank and Mastercard partnership will transform Uganda's Economy". Intelligentcio.com. 20 July 2017. Retrieved 6 June 2020.
  8. "Uganda: Centenary Bank Signs Deal With Worldremit". Mfw4a.org. 29 December 2017. Retrieved 6 June 2020.
  9. "Faced with Covid impact, Centenary Bank Launches Instant Paperless account opening service". Softpower Uganda. 27 May 2020. Retrieved 6 June 2020.
  10. Javira Ssebwami (29 April 2022). "2021: Centenary Bank hits a record UGX4.8 trillion in assets and UGX211.5 billion net profit". PML Daily. Kampala, Uganda. Retrieved 30 April 2022.
  11. Muhereza Kyamutetera (28 April 2025). "Uganda's Centenary Bank Delivers Strong 2024; Net Profit Reaches A Record UGX342.3 Billion". CEO Magazine Uganda.
  12. Centenary Bank (27 April 2019). "Annual Report for the Twelve Months Ended 31 December 2018" (PDF). Centenary Bank. Archived from the original (PDF) on 28 May 2019. Retrieved 2 July 2019.
  13. Sunrise Uganda (7 December 2021). "Centenary gets kudos for unveiling Mastercard debit card". Sunrise Uganda. Retrieved 25 January 2021.
  14. Nelson Mandela (4 February 2022). "Tier 3 Data Center to be built in Masaka". PML Daily. Retrieved 20 April 2024.
  15. Kenneth Kazibwe (11 March 2023). "Uganda's Centenary bank granted licence to extend wings to Malawi". Nile Post Uganda. Retrieved 20 April 2024.
  16. Watchdog Uganda (29 April 2022). "Centenary Bank hits a record UGX4.8 trillion in assets and UGX211.5 billion net profit". Watchdog Uganda. Kampala. Retrieved 1 May 2022.

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | kolera mu edit source]