Jump to content

Chance Nalubega

Bisangiddwa ku Wikipedia
Chance Nalubega
omuntu
Ekikulamukyala Kyusa
Ensi y’obutuuzeYuganda Kyusa
Native languageLuganda Kyusa
Ennimi z'amanyiLungereza Kyusa
Omulimumusician, songwriter, singer Kyusa

Chance Nalubega Munnayuganda, muyimbi era muwandiisi wa nnyimba. [1] [2] Akulembera Gomiba Band era nga yeyajitandikawo . engeri jyayimbamu etera okuteekebwa mu tuluba lya Kadongo Kamu naye era elimu ebintu bya soukous, pop, ne Afrobeat . [3]

Ensibuko n’okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Chance Nalubega yazaalibwa Masaka, e Uganda. [4] Era nga wa kika kya Ngabi. [5] [6]

Yagenda e Kampala ne nnyina mu Gwomunaana gwa 1991 n’anoonya obubudamu mu kkanisa ya Christian Life Church e Bwaise oluvannyuma lw’ebintu byabwe omuli; gomesi, omutto omutono, essowaani, n’ebinika ya caayi byabbibwa. [4] Olw’okuba mu kiseera ekyo tebaalina ssente, bakkirizibwa okubeera mu kkanisa okumala emyezi esatu. [4] Abaddukanya ekkanisa batangaaza nti tebavunaanyizibwa ku bukuumi bwabwe oba okufiirwa ebintu byabwe. [4]

Mu Kampala yakola emirimu egimu omuli okutunda emmere, emirimu gy’awaka okugeza okwoza ebintu n’okufumba mu maka g’abantu, n’okukola ogw’okusiba enviiri e Kibuye, gye yafunira siringi za Uganda 45,000. [4] Oluvannyuma yaddayo e Masaka okulabirira baganda be abaali basuuliddwa kitaabwe. [4]

Taata wa Nalubega yali Musiraamu, ate nga nnyina yali Mukristaayo eyazaalibwa omulundi ogw’okubiri (mulokole) eyeegatta ku kkanisa ya Masaka Gosma. [4]

Omulimu gw’okuyimba

[kyusa | kolera mu edit source]

Chance Nalubega yali ayimba mu kkwaaya y’ekkanisa e Masaka. Oluvannyuma yeegatta ku kkwaaya mu Christian Life Church, teyafuna nsasula yonna olw’okwetabamu. [4]

Okwegatta ku Pride Band

[kyusa | kolera mu edit source]

Bwe yali mu saluuni y’enviiri e Kibuye, Pride Band yalangira ku leediyo nti eyingiza abayimbi. [4] Mu biseera by’okuwuliriza, yayimba ezimu ku nnyimba ze mu maaso g’olukiiko lw’abalamuzi okwali; Andrew Benon Kibuuka, Charles James Ssenkubuge ne Aloysius Matovu Essanyu. [4]

Yeegatta ku bbandi ya Pride n’ayimba nayo okumala emyaka esatu, okuva mu 1994 okutuuka mu 1997, n’afuna omusaala gwa siringi za Uganda 80,000. [4]

Mu 1997, yasisinkana Kato Lubwama eyamuyunga ku situdiyo e Bweyogerere gye yakwata ezimu ku nnyimba ze ezaasooka okufuluma era yafuna ssente mu kutunda obutambi bw’ennyimba. [4] Ssente ezimu yazikozesa okutandikawo Gomiba Band. [4] Gomiba Band yalimu Jeniffer amanyiddwa nga Full Figure, Justini Namuddu, Swabra Lubega ne Dan Bazaawe. [2] [7] Bbandi eno yafulumya alubaamu ezaalimu; Mukyakale. [2] Bbandi ya Gomiba yakomeekerera baukanyeemu . [4]

Okufulumya alubaamu ze ez'ennyimba

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu 1999, Chance Nalubega yafulumya olutambi lwe olwasooka lwe yatuuma "Guma Omwoyo" wansi wa Kasiwukira Studios nga Eriya Bugembe Ssebunya ye nanyini Situdiyo. [4] Bugembe Ssebunya yasasula Chance Nalubega siringi za Uganda 1,500,000 ku alubaamu eno. Yatunda kkopi/obutambi obusukka mu 250. [4]

Mu mwaka gwa 2000, Nalubega yafulumya alubaamu "Balinsekerela" okuva mu Kasiwukira Studios era n’asasulwa siringi za Uganda 3,000,000. [4]

Mu 2001, Nalubega yafulumya alubaamu "Yiga Okwagala" era yasasulwa siringi za Uganda 15,000,000. [4]

Mu 2002, Nalubega yafulumya alubaamu "I really love you". [4]

Mu 2003, Nalubega yafulumya alubaamu "Ennugu". [4]

Mu 2005, Nalubega yafulumya alubaamu Kulikayo Mwami. [4]

Mu 2006, Nalubega yafulumya alubaamu Agaliffa. [4]

Oluvannyuma omulimu n’okuddamu okukola

[kyusa | kolera mu edit source]

Oluvannyuma lw’okusasika mu bbandi ya Nalubega eya Gomiba, yawummulamu mu by’okuyimba n’assa essira ku kukuza abaana be abasatu (omulenzi omu n’abawala babiri) n’okuddukanya emirimu gye egy’obuntu. [8] [4]

Mu 2006, yayimba ne Lady Aisha, Paul Kafeero, Winnie Munyenga, Fred Nkambwe ne Impala Jazz Band mu La Royale Banqueting Suites mu North London. [9]

Mu 2018, yayimba mu kivvulu kya Bayimba International Festival of the Arts. [4] [10] [11]

Mu Gwekumi gwa 2023, ye yali omuyimbi omukulu mu kivvulu kya "Legends of the Nile" mu Kampala, gye yayimba ne Ragga Dee ne Sam ne Sophie Gombya. [1] [12]

Obuyiiya n’omulembe gw’okuyimba

[kyusa | kolera mu edit source]

Omusono gw’okuyimba ogwa Chance Nalubega okusinga guteekebwa mu kiti kya Kadongo Kamu kyokka nga gulimu n’ebintu bya soukous, pop, ne Afrobeat . [3] Mu nnyimba ze, ayogera ku mpisa z’abantu, obuzibu bw’omukwano, entalo z’ebyensimbi n’okusoomoozebwa okwa bulijjo.

Enteekateeka z 'enyimba

[kyusa | kolera mu edit source]

Alubaamu z’ennyimba ze kuliko;

[kyusa | kolera mu edit source]

Chance Nalubega alina alubaamu omuli;

  • Guma Omwoyo (1999). [4]
  • Balinsekerela (2000). [4]
  • Yiga Okwagala (2001). [4]
  • Ennugu (2003). [4]
  • Mwami Kulikayo (2005). [4]
  • Agaliffa (2006).
  • Tonkyawa (2006). [13] [5]
  • Abalungi Balumya. [4]
  • Omwagalwa Wange. [4]
  • Nkwagala nnyo (2002). [4]

Olukalala lw’ezimu ku nnyimba ze ezisinga okumanyika mulimu...

[kyusa | kolera mu edit source]

 

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 "Legends of the Nile concert a success". New Vision. 2023-10-02. Retrieved 2025-06-07. Cite error: Invalid <ref> tag; name "NewVisionLegends" defined multiple times with different content.
  2. 1 2 3 "Introducing Chance Nalubega’s Gomiba". New Vision. Retrieved 2025-06-19. Cite error: Invalid <ref> tag; name ":0" defined multiple times with different content.
  3. 1 2 "That's The Way They Were: Remembering the 90s". The Observer - Uganda. 2015-03-24. Retrieved 2025-06-07. Cite error: Invalid <ref> tag; name "ObserverRetrospective" defined multiple times with different content.
  4. 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 "New beginning for Chance Nalubega". Monitor (in Lungereza). 2021-01-06. Retrieved 2025-06-19. Cite error: Invalid <ref> tag; name ":5" defined multiple times with different content.
  5. 1 2 "Chance Nalubega to launch new album". New Vision. Retrieved 2025-06-19. Cite error: Invalid <ref> tag; name ":1" defined multiple times with different content.
  6. "Ngabi clan trails at music fest". New Vision. Retrieved 2025-06-19.
  7. "Chance Nalubega, Colleagues To Be Charged". New Vision. Retrieved 2025-06-19.
  8. "Chance Nalubega on her music comeback". New Vision. 2022-06-12. Retrieved 2025-06-07.
  9. "Ugandan artistes captivate London". New Vision. Retrieved 2025-06-19.
  10. "Bayimba releases first drop of artists for its eleventh edition". Monitor (in Lungereza). 2021-01-04. Retrieved 2025-06-19.
  11. "Bayimba Festival marks 10 years". New Vision. Retrieved 2025-06-19.
  12. "Chance Nalubega, Ragga Dee, Gombyas shine at Legends of the Nile concert". Pulse Uganda. 2023-10-01. Retrieved 2025-06-07.
  13. "Last Chance for Chance Nalubega?". New Vision. Retrieved 2025-06-19.