Jump to content

Charles Collins Andaku

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Charles Collins Andaku (yazaalibwa 22 Omwezi ogwekkuminoogumu 1965) mulabirizi Omukulisitaayo/Omupolotesitante mu Uganda: Y'abadde Omulabirizi wa Madi ne West Nile okuva mu 2017. [1]

Obuto bwe n’okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Andaku, yazaalibwa nga 22 Omwezi ogwekkuminoogumu 1965 mu Kibigoro mu Disitulikiti y’e Arua, Uganda. Bazadde be baali Rev Canon Semi Draku ne Racheal Draku. Yafuna diguli esooka ey'ebyenjigiriza okuva mu yunivasite y'e Makerere mu 1999. Yafuna diguli eyookubiri mu by'eddiini okuva mu yunivaite ya Uganda Christian University . [1]

Okutuuzibwa n’emirimu

[kyusa | kolera mu edit source]

Andaku yatuuzibwa ng'omudinkoni mu 2005 era ng'omusumba mu 2006. Yali Kkanoni ku Lutikko ya Emmanuel, Mvara nga tannatukuzibwa. Obulabirizi bwe obwa Madi ne West Nile buzingiramu disitulikiti z’e Arua, Moyo, Maracha, Yumbe, Koboko ne Adjumani. [1]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Anglican Communion
  2. "Profile of the Bishop Elect, Rev. Can. Charles Collins Andaku". Church of Uganda. 21 November 2016. Retrieved 1 April 2021.
  1. 1 2 3 "Profile of the Bishop Elect, Rev. Can. Charles Collins Andaku". Church of Uganda. 21 November 2016. Retrieved 1 April 2021. Cite error: Invalid <ref> tag; name "AndakuBishop2016" defined multiple times with different content