Jump to content

Charles Kabugo

Bisangiddwa ku Wikipedia
Charles Kabugo
Omuntu Kyusa Wikidata
Ekikulamusajja Kyusa Wikidata
Ensi y’o­bu­tuu­zeUganda Kyusa Wikidata
Erinnya eri­wee­redd­waCharles Kyusa Wikidata
Gy'a­zaal­waUganda Kyusa Wikidata
Omulimuomusawo Kyusa Wikidata
Gyeya­so­me­raSsettendekero wa Makerere Kyusa Wikidata

Charles Kabugo musawo omukulu mukugu ow'endwadde z'omubiri mu minisitule y'ebyobulamu mu Uganda. Ono ye mulabirizi omukulu ow'eddwaliro lya Kiruddu, erisangibwa mu Divizoni y'e Makindye, mu bukiikaddyo bw'ekibuga Kampala ekibuga ekikulu era ekisinga obunene mu Uganda.[1] Yalondebwa ku kifo ekyo nga 9 Ogwomunaana 2018.[2]

Obuvo bwe n'okusoma

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaalibwa mu kitundu kya Buganda ekiri mu Uganda. Oluvannyuma lw’okusomera mu masomero g’omu kitundu, yayingizibwa mu yunivasite e Makerere, n’atikkirwa Diguli y'obusawo(MBChB). Oluvannyuma yunivasite e Makerere yamuwa Diguli eyookubiri mu busawo (MMed) nakuguka mu kujanjaba endwadde ezikwata ebitundu by'omubiri ebyomunda. Era alina Diguli eyookubiri mu (MSc) mu Clinical Epidemiology ne Biostatistics, okuva mu yunivasite etamanyika.[3]

Dr. Charles Kabugo musawo omukulu omuwi w’amagezi eyagattibwa ku ddwaaliro lya Mulago National Referral Hospital, eddwaliro lya Uganda erisinga obunene, nga lirina ebitanda 1790, era nga lino likola ng’eddwaliro erisomesa erya Makerere University College of Health Sciences.[4]

Mu Gwokutaano 2016, oluvannyuma lw’okumaliriza eddwaliro ekkulu e Kiruddu ery’ebitanda 200, Dr. Kabugo yalondebwa okubeera dayirekita ow’ekiseera mu kifo kino ekipya. Abalwadde abali obubi abasoba mu kikumi n’abalwadde abatali bubi kkumi nabana bakyusibwa ne batwalibwa e Kiruddu okumala akaseera, okusobola okuddaabiriza ekizimbe ky’eddwaliro lya Lower Mulago Hospital Complex wakati wa 2016 ne 2019. Edwadde kkuminanya omwali (1) puleesa (2) thyroid (3) sukaali (4) ensigo (5) obuzibu bw’omutima (6) endwadde ezisiigibwa (7) endwadde z'olususu (8) endwadde z’amawuggwe (9) endwadde z’obwongo (10) okuggya (11) Siriimu (12) endwadde z’ekibumba (13) endwadde z’enkizi (endwadde z’ebinywa) (14) nez’omusaayi).[5]

Mu Gwomunaana 2018, Charles Kabugo, MBChB, MMed (Internal Medicine), MSc, yalondebwa okuba akulira eddwaaliro ekkulu e Kiruddu. Agenda kumyukibwa Dr. Robert Sentongo.[1][2]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 Nabatanzi, Violet (9 August 2018). "Health Ministry Appoints New City Hospital Bosses". Retrieved 13 August 2018.
  2. 1 2 Namagembe, Lilian (10 August 2018). "Government Appoints Directors for Kiruddu, Kawempe Hospitals". Retrieved 13 August 2018.
  3. ↑ Medical Access Uganda (13 August 2018). "Dr. Charles Kabugo: Non-Executive Director, Medical Access Uganda". MedicalAccess.Co.Ug. Retrieved 13 August 2018.
  4. ↑ Jedrzejko, Nicole (26 July 2015). "Day 3: What I've Learned About Mulago Hospital". Njedrzejko.Wordpress.Com. Retrieved 13 August 2018.
  5. ↑ Agaba, Vivian (17 May 2016). "Kiruddu Hospital Now Fully Operational". Retrieved 13 August 2018.