Jump to content

Charles Mumbere

Bisangiddwa ku Wikipedia

Template:Infobox royaltyCharles Wesley Mumbere (yazaalibwa 20 Ogwekkuminogumu 1953), amanyikiddwa n'erinnya lye ery'obusinga Irema-Ngoma I', yOmusinga afuga Rwenzururu, ekitongole ky'ebyobuwangwa n'obusinga obw'amatwale obusangibwa mu nsozi za Rwenzori mu Uganda . [1]

Obukulembeze bwe bubaddewo oluvannyuma lw'ebbanga eddene nga awangangukidde mu Amerika, okutuuzibwa ku ntebe mu butongole mu 2009 oluvannyuma lw’okukkirizibwa gavumenti ya Uganda, n’ekiseera eky’akajagalalo oluvannyuma lw’okulwanagana okwaliwo mu 2016 e Kasese . Yakwatibwa mu Gwekkuminogumu 2016 n’aggulwako emisango omuli ogw’obutujju, okulya mu nsi ye olukwe, n’obutemu. Oluvannyuma lw’emyaka kumpi musanvu ng’avunaanibwa mu mateeka n’okuteebwa ku kakalu akaaliko bukwakkulizo obukakali obw’okweyimirirwa, emisango gyonna egyamuggulwako gyamuggyibwako gavumenti mu Gwomukaaga 2023. [2]

Obuto bwe n’obusika bwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Charles Mumbere yazaalibwa mu 1953 mu Disitulikiti y’e Kasese mu Bukiikaddyo bwa Uganda. Mutabani wa Isaya Mukirania omukulembeze w'ekisinde kya Rwenzururu, ekibiina ky'ebyobufuzi eky'akozesa emmundu eky'aBakonzo ne Amba abalowooza ku ky'okwekutula ku Bukama bwa Tooro . Mu 1962, Mukirane yalangirira Obusinga bwa Rwenzururu obwetongodde era abagoberezi be ne bamukkiriza nga Omusinga waabwo eyasooka. [3]

Oluvannyuma lw’okufa kwa kitaawe, Charles Mumbere yasikira obukulembeze bw’ekibiina kino. Yalangirirwa ng'Omusinga omupya nga 19 Ogwekkumi 1966 ku myaka 13. [4] Yagenda mu maaso n'okukulembera abayeekera ba Rwenzururu okuva ku nsozi okutuusa mu 1982, lwe yatuuka ku nzikirizigana ne gavumenti ya Pulezidenti Milton Obote . Mu ku kkiriza okussa wansi emmundu, gavumenti yakkiriza okumuwa sikaala y’okusoma ebweru w’eggwanga.

Obulamu bwe mu Amerika

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu 1984, ku myaka 30, Mumbere yagenda mu Amerika okutandika okusoma mu butongole ng’ayambibwako gavumenti. Wabula ssente za gavumenti ze yawaayo zaggwaawo oluvannyuma lw’obukulembeze bwa Obote okugibwa mu buyinza mu 1985. Yasaba okubudama olw'okutya mu by'obufuzi mu Amerika mu 1987. Okusobola okweyimirizaawo, yatendekebwa ng’omuyambi wa nnansi era yatandika okukola mu maka g’abakadde mu bitundu by’e Maryland . Oluvannyuma yasenguka nadda mu Harrisburg, Pennsylvania, gye yeeyongera okukola ng’omuyambi wa nnansi okumala kumpi emyaka amakumi abiri. [3] [5]

Mu myaka 25 gye yamala mu Amerika, Mumbere okusinga yakuuma ekifo kye eky’Obusinga ng'ekyama eri banne n’abantu b’omu kitundu.

Okudda n’okutikkirwa ku ntebe

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu 2005, oluvannyuma lw’okuteesa ne gavumenti ya Pulezidenti Yoweri Museveni, Obusinga bwa Rwenzururu bwakkirizibwa mu butongole ng’ekitongole ky’ebyobuwangwa mu mateeka ga Uganda. Mu Gwomusanvu 2009, Mumbere y'enyonyolako ku ki ky'eyali mu mboozi ey'akafubo n'omusasi w'amawulire owa Harrisburg The Patriot-News n'alangirira enteekateeka ze ez'okudda mu Uganda okusanga obuvunaanyizibwa bwe ng'Omusinga.

Yaddayo e Kasese era n’atuzibwa ku ntebe ye mu butongole nga 19 Ogwekkumi 2009, ku mukolo ogwaliko enkumi n’enkumi z'abantu omwali be yalifuga n’abakungu ba gavumenti ya Uganda abawerako. Ng’omukulembeze ow'ennono, obuyinza bwe bukoma ku nsonga z’embeera z’abantu n’obuwangwa ezikwata ku Bakonzo.

2016 Okulwanagana e Kasese n'olutalo lw'amateeka

[kyusa | kolera mu edit source]

Okukwatibwa n’okuggulwako emisango

[kyusa | kolera mu edit source]

Nga 26 ne 27 Ogwekkuminogumu 2016, okulwanagana okw’amaanyi kwabalukawo e Kasese wakati w’abebyokwerinda by’eggwanga lya Uganda n’abakuumi b’oBusinga bwa Rwenzururu. Eggye lya Uganda People's Defence Force (UPDF) ne poliisi bakulemberamu okulumba Olubiri lwa Mumbere olukulu nga bajuliza nti waliwo abajaasi abalina emmundu. Ekikwekweto kino kyaleka bangi nga banyiga bisago, ng’ebibalo ebitongole biraga nti abantu abasoba mu 100 be battibwa omwali abakuumi b’obusinga n’abaserikale ba poliisi. [6] [7]

Charles Mumbere yakwatibwa nga 27 Ogwekkuminogumu 2016 era oluvannyuma n’avunaanibwa wamu n’abantu be yali akulembera abaali basoba mu 200 ku emisango egy’amaanyi egy’enjawulo omwali obutujju, okulya mu nsi olukwe, obutemu, obunyazi obw’amaanyi, n’okugezaako okutta omuntu. [8]

Okusibwa n'okweyimirirwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Oluvannyuma lw’okusibwa ebbanga eryasooka, Mumbere yakkirizibwa okweyimirirwa mu Gusooka 2017. Kyokka amangu ago yaddamu okukwatibwa ku misango egy’enjawulo nga tannaddamu kukkirizibwa kweyimirirwa. Okuyimbulwa kwe kwajja n’obukwakkulizo obukakali obwamukugira ennyo okutambula, era n'sibirwa mu maka ge mu Kampala ne Disitulikiti y’e Wakiso saako n’okumugaana okukyalira obusinga bwe mu bitundu bye Rwenzori okumala ebbanga lye yamala ng’awozesebwa. [9] Enkola nga tebannaba kuwozesebwa yalwawo nnyo okumala emyaka. [10]

Okwejjerezebwa n'okuddayo mu lubiri

[kyusa | kolera mu edit source]

Nga 13 Ogwomukaaga 2023, mu nkulaakulana ey’amaanyi, Ssabawaabi wa gavumenti (DPP) yayimiriza emisango gyonna egyali givunaanibwa Omusinga Mumbere ne banne 217 bwe baali bavunaanibwa. DPP yayanjula ekiwandiiko kya nolle prosequi eri ekitongole ky’ensi yonna ekivunaanyizibwa ku bumenyi bw’amateeka mu kkooti enkulu, nga aggyayo omusango gw’eggwanga mu butongole nga tewadde nsonga ya lujjudde mu bujjuvu. [11]

Oluvannyuma lw’okumwejjeereza, obukwakkulizo bwe obw’okweyimirirwa bwaggyibwawo. Oluvannyuma lw’okugonjoola enteekateeka z’okutereeza mu byokwerinda ne gavumenti, Mumbere yakomawo mu butongole mu businga bwe e Kasese nga 4 Ogwekkumi 2023, n’amaliriza emyaka kumpi musanvu gy’ayali amaze mu buwanganguse. [12]

Ebimukwatako eby'omunda

[kyusa | kolera mu edit source]

Mumbere mufumbo eri Agnes Ithungu Asiimawe, nga ye Nyabakhole wa Rwenzururu. [13] Balina abaana basatu okuli Omulangira Charles Nyamutswa n'omumbejja Vickie Michelle Kibanzanga Muganda we, Christopher Kibanzanga, munnabyabufuzi wa Uganda omututumufu era aweereza ng'omubaka mu Paalamenti era nga minisita mu gavumenti. [14]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://www.newvision.co.ug/articledetails/1133261
  2. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/state-drops-all-charges-against-mumbere-217-royal-guards-4268616
  3. 1 2 https://www.sfgate.com/news/article/Ex-nurse-s-aide-in-U-S-leads-Uganda-kingdom-3214232.php
  4. https://www.theeastafrican.co.ke/tea/magazine/the-return-of-rwenzururu-the-kingdom-of-the-hills-1296848
  5. http://news.bbc.co.uk/1/hi/world/africa/8315615.stm
  6. https://www.reuters.com/article/idUKKBN13N0N7/
  7. "Archive copy". Archived from the original on 2016-12-24. Retrieved 2025-08-04.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  8. "Archive copy". Archived from the original on 2017-12-07. Retrieved 2025-08-04.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  9. http://www.monitor.co.ug/News/National/Still-prisoner-king-Mumbere-Rwenzururu/688334-3943400-x5sg63z/index.html
  10. https://nilepost.co.ug/2021/02/05/court-sets-trial-date-for-omusinga-mumbere/
  11. https://www.ntv.co.ug/ug/news/national/dpp-withdraws-charges-against-omusinga-mumbere-and-his-subjects-4268710
  12. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/tears-jubilation-as-king-mumbere-returns-to-rwenzori-4391696
  13. https://www.newvision.co.ug/articledetails/1218729
  14. https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/people-power/bakonzo-cry-foul-as-army-s-rwenzori-operation-bites-1647794