Charles Muwanga Foundation for Intellectualisation of African Vernaculars

Bisangiddwa ku Wikipedia

"Charles Muwanga Foundation for Intellectualisation of African vernaculars" kawefube wa Ssekalowooleza Muwanga agenderera okulaba nga Olulimi Oluganda luyitimuka mu magezi ag'ekikugu gonna mu masomo ag'enjawulo.

Kawefube ono yava mu kunoonyereza kwa mwami Muwanga Charles n'akizuula nti tewali nsonga lwaki abaddugavu tetusobola kugunjaawo bigambo ebirimu amakulu agali mu bigambo by'Olungereza eby'ekibalangulo oba essomakubaza ne sayansi.

Muwanga agamba nti kye tulina okusooka okukola kwe kuvaamu endowooza nti ebigambo bya sayansi n'ekibalangulo(essomakubala) tulina kubyewola bwewozi ! Tulowooza nti bwe tugunjawwo ebigambo nga tweyambisa ebigambo bye tulina mu nnimi zaffe nga Oluganda , amakulu gaabyo gaba tegavaayo!Okwo kwebuzaabuza na kwewabya kubanga n'ebyolungereza ebyekikugu bye tukozesa tetwasooka kunnyonnyoka butegeerekefu bwabyo , wabula twasooka kubikwata bukusu n'ensonjola zaabyo.

Ekikulu si kigambo wabula amakulu gaakyo amekusifu agakyawula ku birala. Omunyankole agamba "shitama" okutegeeza "okutuula" mu Luganda kyokka Omuganda bwaba ayogera Olunyankole kino tekimwesittaza kuba aba akimanyi nti mu Lunyankole "okushitama si kusitama wabula kutuula.

Omusoga bwagamba nti twenda President Mulala aba tategeeza nti Pulesidenti aliko tebakyamwagala wabula aba ategeeza nti twagala pulesudenti omu yekka. Omuganda bw'ayiga okwogera Olusoga kino atandika okukimanya nti mu Lusoga "kirala" kitegeeza "kimu", si kintu eky'enjawulo nga bwe kri mu Luganda.

Tweyunge ku kaweefube wa Muwanga okuzimba oluganda olw'ekikugu mu sayansi , ekibalangulo ne tekinologiya nga tugoberera ebiwandiiko bye .

Muwanga yatandikawo IALI okulaba nga ennimi zonna endala eza Uganda ne Africa zikulaakulana nga Oluganda ye lweyekwatiddemu nga ekyokulabirako!!